Check out the new design

Übersetzung der Bedeutungen von dem heiligen Quran - Die Übersetzung in Luganda - Afrikanisches Institut für Entwicklung * - Übersetzungen


Übersetzung der Bedeutungen Surah / Kapitel: Al-Kahf   Vers:
وَكَذَٰلِكَ أَعۡثَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ لِيَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ لَا رَيۡبَ فِيهَآ إِذۡ يَتَنَٰزَعُونَ بَيۡنَهُمۡ أَمۡرَهُمۡۖ فَقَالُواْ ٱبۡنُواْ عَلَيۡهِم بُنۡيَٰنٗاۖ رَّبُّهُمۡ أَعۡلَمُ بِهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ غَلَبُواْ عَلَىٰٓ أَمۡرِهِمۡ لَنَتَّخِذَنَّ عَلَيۡهِم مَّسۡجِدٗا
21 . Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti.
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
سَيَقُولُونَ ثَلَٰثَةٞ رَّابِعُهُمۡ كَلۡبُهُمۡ وَيَقُولُونَ خَمۡسَةٞ سَادِسُهُمۡ كَلۡبُهُمۡ رَجۡمَۢا بِٱلۡغَيۡبِۖ وَيَقُولُونَ سَبۡعَةٞ وَثَامِنُهُمۡ كَلۡبُهُمۡۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ بِعِدَّتِهِم مَّا يَعۡلَمُهُمۡ إِلَّا قَلِيلٞۗ فَلَا تُمَارِ فِيهِمۡ إِلَّا مِرَآءٗ ظَٰهِرٗا وَلَا تَسۡتَفۡتِ فِيهِم مِّنۡهُمۡ أَحَدٗا
22 . (Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe yamukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okugyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okugyako okuwakana okwokungulu era tewebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako.
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
وَلَا تَقُولَنَّ لِشَاْيۡءٍ إِنِّي فَاعِلٞ ذَٰلِكَ غَدًا
23 . Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze ngenda kukikola enkya.
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ وَٱذۡكُر رَّبَّكَ إِذَا نَسِيتَ وَقُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَهۡدِيَنِ رَبِّي لِأَقۡرَبَ مِنۡ هَٰذَا رَشَدٗا
24 . Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange).
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
وَلَبِثُواْ فِي كَهۡفِهِمۡ ثَلَٰثَ مِاْئَةٖ سِنِينَ وَٱزۡدَادُواْ تِسۡعٗا
25 . Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumi bisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi).
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
قُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثُواْۖ لَهُۥ غَيۡبُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ أَبۡصِرۡ بِهِۦ وَأَسۡمِعۡۚ مَا لَهُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَلِيّٖ وَلَا يُشۡرِكُ فِي حُكۡمِهِۦٓ أَحَدٗا
26 . Gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, yekka y'amanyi ebyekusifu by'omu ggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba kwe n'okuwulira kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina nga oggyeko yye (Katonda) mutaasa. Era mu kusalawo kwe teyeegatta na muntu mulala yenna ( wabula bulijjo asalawo yekka).
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
وَٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِن كِتَابِ رَبِّكَۖ لَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِهِۦ وَلَن تَجِدَ مِن دُونِهِۦ مُلۡتَحَدٗا
27 . Era soma ebyo ebyassibwa gyoli nga bya mu kitabo kya Mukama omulabiriziwo tewali akyusa bigambobye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe.
Arabische Interpretationen von dem heiligen Quran:
 
Übersetzung der Bedeutungen Surah / Kapitel: Al-Kahf
Suren/ Kapiteln Liste Nummer der Seite
 
Übersetzung der Bedeutungen von dem heiligen Quran - Die Übersetzung in Luganda - Afrikanisches Institut für Entwicklung - Übersetzungen

Von dem Afrikanischen Institut für Entwicklung.

Schließen