prev

Al Maedah

next

1 : 5

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَوۡفُواْ بِٱلۡعُقُودِۚ أُحِلَّتۡ لَكُم بَهِيمَةُ ٱلۡأَنۡعَٰمِ إِلَّا مَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ غَيۡرَ مُحِلِّي ٱلصَّيۡدِ وَأَنتُمۡ حُرُمٌۗ إِنَّ ٱللَّهَ يَحۡكُمُ مَا يُرِيدُ

Abange mmwe Abakkiriza mutuukirizenga endagaano, mukkirizibwa okulya ennyama y’ebisolo ebiriibwa byonna okuggyako ebinaabasomerwa, ate nga temukkirizibwa kuyigga nga muli mu mizizo gya (Hijja oba Umurah) mazima Allah asalawo ky'aba ayagadde. info
التفاسير: |

2 : 5

يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُحِلُّواْ شَعَٰٓئِرَ ٱللَّهِ وَلَا ٱلشَّهۡرَ ٱلۡحَرَامَ وَلَا ٱلۡهَدۡيَ وَلَا ٱلۡقَلَٰٓئِدَ وَلَآ ءَآمِّينَ ٱلۡبَيۡتَ ٱلۡحَرَامَ يَبۡتَغُونَ فَضۡلٗا مِّن رَّبِّهِمۡ وَرِضۡوَٰنٗاۚ وَإِذَا حَلَلۡتُمۡ فَٱصۡطَادُواْۚ وَلَا يَجۡرِمَنَّكُمۡ شَنَـَٔانُ قَوۡمٍ أَن صَدُّوكُمۡ عَنِ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ أَن تَعۡتَدُواْۘ وَتَعَاوَنُواْ عَلَى ٱلۡبِرِّ وَٱلتَّقۡوَىٰۖ وَلَا تَعَاوَنُواْ عَلَى ٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡعُدۡوَٰنِۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ

Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Allah byeyabalambikira nti biri Haraamu, era nga bwe mutaasanye kukyusa myezi gya mizizo ne mugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo ly'ebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga za birabo, wadde abantu abagenda okulambula Ennyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda Waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Allah, mazima Allah Muyitirivu Wa bibonerezo. info
التفاسير: |
prev

Al Maedah

next
:
0:00 0:00