Fassarar Ma'anonin Alqura'ni - Fassara da yaren Luganiyanci - Cibiyar Africa don ci gaba * - Teburin Bayani kan wasu Fassarori


Fassarar Ma'anoni Sura: Suratu Al'ahzab   Aya:

Al Ahzaab

يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ ٱتَّقِ ٱللَّهَ وَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقِينَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا
1 . Owange gwe Nabbi, tya Katonda era togondera abakaafiiri n'abannafunsi, mazima Katonda bulijjo mumanyi nnyo mugoba nsonga.
Tafsiran larabci:
وَٱتَّبِعۡ مَا يُوحَىٰٓ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا
2 . Era goberera ebyo ebitumwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala bye mukola.
Tafsiran larabci:
وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا
3 . Era weekwate ku Katonda, Katonda amala okuba nga gweweekwatako.
Tafsiran larabci:
مَّا جَعَلَ ٱللَّهُ لِرَجُلٖ مِّن قَلۡبَيۡنِ فِي جَوۡفِهِۦۚ وَمَا جَعَلَ أَزۡوَٰجَكُمُ ٱلَّٰٓـِٔي تُظَٰهِرُونَ مِنۡهُنَّ أُمَّهَٰتِكُمۡۚ وَمَا جَعَلَ أَدۡعِيَآءَكُمۡ أَبۡنَآءَكُمۡۚ ذَٰلِكُمۡ قَوۡلُكُم بِأَفۡوَٰهِكُمۡۖ وَٱللَّهُ يَقُولُ ٱلۡحَقَّ وَهُوَ يَهۡدِي ٱلسَّبِيلَ
4 . Katonda tateekanga munda wa muntu mitima ebiri, era bakyala ba mmwe abo be mulayira obuteegatta nabo Katonda tabafuulanga ba Maama ba mmwe, olw'okuba nti muba mugambye nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyammwe, era abaana be mufuula abaana ba mmwe (nga si mmwe mu bazaala) tabafuula baana ba mmwe, ebyo mmwe bigambo byammwe bye mwogera obwogezi n'emimwa gya mmwe. Era Katonda ayogera mazima, era yye y'alaga e kkubo (erisaana okukwata).
Tafsiran larabci:
ٱدۡعُوهُمۡ لِأٓبَآئِهِمۡ هُوَ أَقۡسَطُ عِندَ ٱللَّهِۚ فَإِن لَّمۡ تَعۡلَمُوٓاْ ءَابَآءَهُمۡ فَإِخۡوَٰنُكُمۡ فِي ٱلدِّينِ وَمَوَٰلِيكُمۡۚ وَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٞ فِيمَآ أَخۡطَأۡتُم بِهِۦ وَلَٰكِن مَّا تَعَمَّدَتۡ قُلُوبُكُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمًا
5 . Mubateekenga ku ba kitaabwe, ekyo kye kituufu ewa Katonda, bwe muba temumanyi ba kitaabwe (mu bayite baganda ba mmwe) anti baganda ba mmwe mu ddiini, era bannammwe (mu ddiini) era temulina kibi mu ekyo kye mukola mu butanwa, naye (ekibavunaanwa) kyekyo emitima gya mmwe gye kiba gikoze mu bugenderevu, era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
Tafsiran larabci:
ٱلنَّبِيُّ أَوۡلَىٰ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ مِنۡ أَنفُسِهِمۡۖ وَأَزۡوَٰجُهُۥٓ أُمَّهَٰتُهُمۡۗ وَأُوْلُواْ ٱلۡأَرۡحَامِ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلَىٰ بِبَعۡضٖ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُهَٰجِرِينَ إِلَّآ أَن تَفۡعَلُوٓاْ إِلَىٰٓ أَوۡلِيَآئِكُم مَّعۡرُوفٗاۚ كَانَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَسۡطُورٗا
6 . Nabbi abakkiriza gwe basaanira okuwa e kitiibwa okusinga bo bennyini, era bakyalabe baba ba Maama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwe kityo bwe kiri mu kitabo kya Katonda, okusinga bwe bandibadde eri abakkiriza n'abaasenguka, okugyako nga mukoledde ba nnammwe eky'obuntu bulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo.
Tafsiran larabci:
وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مِيثَٰقَهُمۡ وَمِنكَ وَمِن نُّوحٖ وَإِبۡرَٰهِيمَ وَمُوسَىٰ وَعِيسَى ٱبۡنِ مَرۡيَمَۖ وَأَخَذۡنَا مِنۡهُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا
7 . Era jjukira bwe twakozesa ba Nabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibrahim, ne ku Musa ne ku Isa Mutabani wa Mariam, era twabakozesa e ndagaano nga nzito.
Tafsiran larabci:
لِّيَسۡـَٔلَ ٱلصَّٰدِقِينَ عَن صِدۡقِهِمۡۚ وَأَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا
8 . Olwo nno (Katonda) alyoke abuuze abakkiriza ab'amazima ku mazima gaabwe, era yateekerateekera abakaafiiri e bibonerezo ebiruma.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ جَآءَتۡكُمۡ جُنُودٞ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِيحٗا وَجُنُودٗا لَّمۡ تَرَوۡهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرًا
9 . Abange mmwe abakkiriza, mujjukire ebyengera bya Katonda bye yabagonnomolako amagye lwe gaabalumba, ne tubasindikira kibuyaga n'amagye ge mutaalaba, era bulijjo Katonda alabira ddala bye mukola.
Tafsiran larabci:
إِذۡ جَآءُوكُم مِّن فَوۡقِكُمۡ وَمِنۡ أَسۡفَلَ مِنكُمۡ وَإِذۡ زَاغَتِ ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَبَلَغَتِ ٱلۡقُلُوبُ ٱلۡحَنَاجِرَ وَتَظُنُّونَ بِٱللَّهِ ٱلظُّنُونَا۠
10 . Mujjukire bwe baabajjira nga bayitira engulu ne mmanga wa mmwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malokooli, nemulowooza ku Katonda ebirowoozo ebyenjawulo.
Tafsiran larabci:
هُنَالِكَ ٱبۡتُلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَزُلۡزِلُواْ زِلۡزَالٗا شَدِيدٗا
11 . Nga muli mu mbeera eyo, abakkiriza baagezesebwa ne bakankanyizibwa olukankana olw'amaanyi.
Tafsiran larabci:
وَإِذۡ يَقُولُ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ مَّا وَعَدَنَا ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥٓ إِلَّا غُرُورٗا
12 . Era mujjukire abannanfusi n'abo abaalina obulwadde mu mitima gyaabwe bwe baagamba nti Katonda n’omubakawe tebaatulagaanya wabula (baatulagaanya) bya kutuguyaaguya.
Tafsiran larabci:
وَإِذۡ قَالَت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ يَٰٓأَهۡلَ يَثۡرِبَ لَا مُقَامَ لَكُمۡ فَٱرۡجِعُواْۚ وَيَسۡتَـٔۡذِنُ فَرِيقٞ مِّنۡهُمُ ٱلنَّبِيَّ يَقُولُونَ إِنَّ بُيُوتَنَا عَوۡرَةٞ وَمَا هِيَ بِعَوۡرَةٍۖ إِن يُرِيدُونَ إِلَّا فِرَارٗا
13 . Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka.
Tafsiran larabci:
وَلَوۡ دُخِلَتۡ عَلَيۡهِم مِّنۡ أَقۡطَارِهَا ثُمَّ سُئِلُواْ ٱلۡفِتۡنَةَ لَأٓتَوۡهَا وَمَا تَلَبَّثُواْ بِهَآ إِلَّا يَسِيرٗا
14 . Era singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (e kibuga) oluvanyuma ne basabwa bakaafuwale (era balwanyise abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okugyako kaseera katono.
Tafsiran larabci:
وَلَقَدۡ كَانُواْ عَٰهَدُواْ ٱللَّهَ مِن قَبۡلُ لَا يُوَلُّونَ ٱلۡأَدۡبَٰرَۚ وَكَانَ عَهۡدُ ٱللَّهِ مَسۡـُٔولٗا
15 . Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Katonda nti tebagenda kukyuka kukubayo mabega (ne badduka mu lutalo), era bulijjo e ndagaano ya Katonda ebuuzibwako (okulaba oba etuukiriziddwa).
Tafsiran larabci:
قُل لَّن يَنفَعَكُمُ ٱلۡفِرَارُ إِن فَرَرۡتُم مِّنَ ٱلۡمَوۡتِ أَوِ ٱلۡقَتۡلِ وَإِذٗا لَّا تُمَتَّعُونَ إِلَّا قَلِيلٗا
16 . Bagambe (gwe Muhammad) bwe muba nga mudduse kufa oba kuttibwa, okudduka tekuyinza kubagasa era ne bwe muba nga mudduse temugenda kuweebwa kweyagala okugyako akaseera katono.
Tafsiran larabci:
قُلۡ مَن ذَا ٱلَّذِي يَعۡصِمُكُم مِّنَ ٱللَّهِ إِنۡ أَرَادَ بِكُمۡ سُوٓءًا أَوۡ أَرَادَ بِكُمۡ رَحۡمَةٗۚ وَلَا يَجِدُونَ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا
17 . Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya ku Katonda singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, era bulijjo okugyako Katonda tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa.
Tafsiran larabci:
۞ قَدۡ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ ٱلۡمُعَوِّقِينَ مِنكُمۡ وَٱلۡقَآئِلِينَ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ هَلُمَّ إِلَيۡنَاۖ وَلَا يَأۡتُونَ ٱلۡبَأۡسَ إِلَّا قَلِيلًا
18 . Mazima Katonda amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammad (s.a.w.), era tebaagala kugenda ku lutalo okugyako kitono.
Tafsiran larabci:
أَشِحَّةً عَلَيۡكُمۡۖ فَإِذَا جَآءَ ٱلۡخَوۡفُ رَأَيۡتَهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ تَدُورُ أَعۡيُنُهُمۡ كَٱلَّذِي يُغۡشَىٰ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَإِذَا ذَهَبَ ٱلۡخَوۡفُ سَلَقُوكُم بِأَلۡسِنَةٍ حِدَادٍ أَشِحَّةً عَلَى ٱلۡخَيۡرِۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَمۡ يُؤۡمِنُواْ فَأَحۡبَطَ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا
19 . Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo.
Tafsiran larabci:
يَحۡسَبُونَ ٱلۡأَحۡزَابَ لَمۡ يَذۡهَبُواْۖ وَإِن يَأۡتِ ٱلۡأَحۡزَابُ يَوَدُّواْ لَوۡ أَنَّهُم بَادُونَ فِي ٱلۡأَعۡرَابِ يَسۡـَٔلُونَ عَنۡ أَنۢبَآئِكُمۡۖ وَلَوۡ كَانُواْ فِيكُم مَّا قَٰتَلُوٓاْ إِلَّا قَلِيلٗا
20 . (Abannanfusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfusi bandyegombye singa bbo babeera mu ba nnamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okugyako kitono.
Tafsiran larabci:
لَّقَدۡ كَانَ لَكُمۡ فِي رَسُولِ ٱللَّهِ أُسۡوَةٌ حَسَنَةٞ لِّمَن كَانَ يَرۡجُواْ ٱللَّهَ وَٱلۡيَوۡمَ ٱلۡأٓخِرَ وَذَكَرَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا
21 . Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Katonda nga amutendereza.
Tafsiran larabci:
وَلَمَّا رَءَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلۡأَحۡزَابَ قَالُواْ هَٰذَا مَا وَعَدَنَا ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَصَدَقَ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥۚ وَمَا زَادَهُمۡ إِلَّآ إِيمَٰنٗا وَتَسۡلِيمٗا
22 . Abakkiriza bwe baamala okulaba amagye g'omukago baagamba nti kino kyekyo Katonda n'omubakawe kye baatulagaanyisa, era Katonda n'omubakawe bayogera mazima, era (bwe baalaba) amagye g'omulabe tebaabongera okugyako obukkiriza n'okwewa Katonda.
Tafsiran larabci:
مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ رِجَالٞ صَدَقُواْ مَا عَٰهَدُواْ ٱللَّهَ عَلَيۡهِۖ فَمِنۡهُم مَّن قَضَىٰ نَحۡبَهُۥ وَمِنۡهُم مَّن يَنتَظِرُۖ وَمَا بَدَّلُواْ تَبۡدِيلٗا
23 . Mu bakkiriza mulimu abasajja abaatuukiriza ekyo kye baaweerako Katonda obweyamu (bwe baagamba nti bwe tulisisinkana omulabe bugenda ku twefuka), kale nno mu bo mulimu eyatuukiriza obweyamubwe nga bwe mulimu akyalindirira era tebakyusangako (ku ekyo) kukyusa kwonna.
Tafsiran larabci:
لِّيَجۡزِيَ ٱللَّهُ ٱلصَّٰدِقِينَ بِصِدۡقِهِمۡ وَيُعَذِّبَ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ إِن شَآءَ أَوۡ يَتُوبَ عَلَيۡهِمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا
24 . Olwo nno Katonda alyoke asasule abaatuukiriza amazima olwa mazima gaabwe, era abonereze abannanfusi bwaliba ayagadde, oba akkirize okwenenya kwa bwe(bwe baliba beenenyezza) mazima Katonda bulijjo musonyiyi nnyo musaasizi.
Tafsiran larabci:
وَرَدَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِغَيۡظِهِمۡ لَمۡ يَنَالُواْ خَيۡرٗاۚ وَكَفَى ٱللَّهُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلۡقِتَالَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ قَوِيًّا عَزِيزٗا
25 . Era Katonda yazzaayo abo abaakaafuwala n'obusungu bwa bwe, tebalina kalungi kebaafuna, era Katonda yamalira abakkiriza olutalo, era bulijjo Katonda wa maanyi nantakubwa ku mukono.
Tafsiran larabci:
وَأَنزَلَ ٱلَّذِينَ ظَٰهَرُوهُم مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن صَيَاصِيهِمۡ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَ فَرِيقٗا تَقۡتُلُونَ وَتَأۡسِرُونَ فَرِيقٗا
26 . Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo).
Tafsiran larabci:
وَأَوۡرَثَكُمۡ أَرۡضَهُمۡ وَدِيَٰرَهُمۡ وَأَمۡوَٰلَهُمۡ وَأَرۡضٗا لَّمۡ تَطَـُٔوهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا
27 . Era naasikiza mmwe e bibanja byaabwe n'amaka gaabwe ne mmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mutatuukangamu, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّأَزۡوَٰجِكَ إِن كُنتُنَّ تُرِدۡنَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتَهَا فَتَعَالَيۡنَ أُمَتِّعۡكُنَّ وَأُسَرِّحۡكُنَّ سَرَاحٗا جَمِيلٗا
28 . Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo nti: bwe muba mwagala bulamu bw'ansi na birungi byaayo, kale mujje mbasibirire (mbawe e birungi bye mwagala) era mbate oluta olulungi.
Tafsiran larabci:
وَإِن كُنتُنَّ تُرِدۡنَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَ فَإِنَّ ٱللَّهَ أَعَدَّ لِلۡمُحۡسِنَٰتِ مِنكُنَّ أَجۡرًا عَظِيمٗا
29 . Naye bwe muba nga mwagala Katonda n'omubakawe, ne nyumba ey'enkomerero mazima Katonda yateekerateekera abakola obulungi mu mmwe, e mpeera e nsuffu.
Tafsiran larabci:
يَٰنِسَآءَ ٱلنَّبِيِّ مَن يَأۡتِ مِنكُنَّ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖ يُضَٰعَفۡ لَهَا ٱلۡعَذَابُ ضِعۡفَيۡنِۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا
30 . Abange mmwe abakyala ba Nabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, wekikakasibwa nti yakikoze, e kibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nabbi) era ekyo kyangu ku Katonda.
Tafsiran larabci:
۞ وَمَن يَقۡنُتۡ مِنكُنَّ لِلَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَتَعۡمَلۡ صَٰلِحٗا نُّؤۡتِهَآ أَجۡرَهَا مَرَّتَيۡنِ وَأَعۡتَدۡنَا لَهَا رِزۡقٗا كَرِيمٗا
31 . N'oyo yenna mu mmwe (baka Nabbi) agondera Katonda n’omubakawe naakola emirimu emirungi tumuwa empeeraye emirundi ebiri, era twamutegekera riziki eweesa ekitiibwa.
Tafsiran larabci:
يَٰنِسَآءَ ٱلنَّبِيِّ لَسۡتُنَّ كَأَحَدٖ مِّنَ ٱلنِّسَآءِ إِنِ ٱتَّقَيۡتُنَّۚ فَلَا تَخۡضَعۡنَ بِٱلۡقَوۡلِ فَيَطۡمَعَ ٱلَّذِي فِي قَلۡبِهِۦ مَرَضٞ وَقُلۡنَ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا
32 . Abange baka Nabbi temufaanana bakyala balala, bwe muba mutidde Katonda kale temugonzanga enjogera olwo nno naakwatibwa amaddu oyo alina obulwadde mu mutima gwe, era (buli lwe mwogera) mwogere ebigambo eby'ensa.
Tafsiran larabci:
وَقَرۡنَ فِي بُيُوتِكُنَّ وَلَا تَبَرَّجۡنَ تَبَرُّجَ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِ ٱلۡأُولَىٰۖ وَأَقِمۡنَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتِينَ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِعۡنَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُذۡهِبَ عَنكُمُ ٱلرِّجۡسَ أَهۡلَ ٱلۡبَيۡتِ وَيُطَهِّرَكُمۡ تَطۡهِيرٗا
33 . Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala.
Tafsiran larabci:
وَٱذۡكُرۡنَ مَا يُتۡلَىٰ فِي بُيُوتِكُنَّ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱلۡحِكۡمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ لَطِيفًا خَبِيرًا
34 . Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu bigambo bya Katonda n’ebigambo eby'amagezi (Hadith za Nabbi), mazima bulijjo Katonda akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako.
Tafsiran larabci:
إِنَّ ٱلۡمُسۡلِمِينَ وَٱلۡمُسۡلِمَٰتِ وَٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡقَٰنِتَٰتِ وَٱلصَّٰدِقِينَ وَٱلصَّٰدِقَٰتِ وَٱلصَّٰبِرِينَ وَٱلصَّٰبِرَٰتِ وَٱلۡخَٰشِعِينَ وَٱلۡخَٰشِعَٰتِ وَٱلۡمُتَصَدِّقِينَ وَٱلۡمُتَصَدِّقَٰتِ وَٱلصَّٰٓئِمِينَ وَٱلصَّٰٓئِمَٰتِ وَٱلۡحَٰفِظِينَ فُرُوجَهُمۡ وَٱلۡحَٰفِظَٰتِ وَٱلذَّٰكِرِينَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱلذَّٰكِرَٰتِ أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمٗا
35 . Mazima abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Katonda n’abakazi abasinza Katonda, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Katonda n’abakazi abagondera Katonda, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Katonda n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Katonda yabategekera ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
Tafsiran larabci:
وَمَا كَانَ لِمُؤۡمِنٖ وَلَا مُؤۡمِنَةٍ إِذَا قَضَى ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥٓ أَمۡرًا أَن يَكُونَ لَهُمُ ٱلۡخِيَرَةُ مِنۡ أَمۡرِهِمۡۗ وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلٗا مُّبِينٗا
36 . Tekigwanirangako omukkiriza omusajja oba omukkiriza omukazi, Katonda n’omubaka we okumala okusalawo ekintu ate bo nebaba nga balina okwesalirawo ku nsonga yaabwe ate nga oyo yenna ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu.
Tafsiran larabci:
وَإِذۡ تَقُولُ لِلَّذِيٓ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ وَأَنۡعَمۡتَ عَلَيۡهِ أَمۡسِكۡ عَلَيۡكَ زَوۡجَكَ وَٱتَّقِ ٱللَّهَ وَتُخۡفِي فِي نَفۡسِكَ مَا ٱللَّهُ مُبۡدِيهِ وَتَخۡشَى ٱلنَّاسَ وَٱللَّهُ أَحَقُّ أَن تَخۡشَىٰهُۖ فَلَمَّا قَضَىٰ زَيۡدٞ مِّنۡهَا وَطَرٗا زَوَّجۡنَٰكَهَا لِكَيۡ لَا يَكُونَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ حَرَجٞ فِيٓ أَزۡوَٰجِ أَدۡعِيَآئِهِمۡ إِذَا قَضَوۡاْ مِنۡهُنَّ وَطَرٗاۚ وَكَانَ أَمۡرُ ٱللَّهِ مَفۡعُولٗا
37 . Jjukira bwe wagamba oyo Katonda gwe yawa ekyengera (n'asiramuka) naawe n'omuwa ekyengera (eky'okumuggya mu buddu) nti beera ne mukyalawo (toyawukana naye) era tya Katonda , ate ggwe nookweka mu mwoyo gwo ekyo Katonda kyanassa mu bbanga, n'oba nga otya abantu ate nga Katonda y'asinga okusaanira okuba nga gwotya, olwo nno Zaidi bwe yamala okumala obwetaavu (bwe) ku ye, twamukufumbiza olw'ensonga nti waleme kubaawo kuwulira bubi mu bakkiriza kuwasa baka baana baabwe (be batazaalira ddala) wabula bo be bayita obuyisi abaana baabwe. Wonna webaba bamalidde kye beetaaga ku bo, (nebaba nga tebakyabaagala nebabawa talaka) nga bulijjo ekiragiro kya Katonda kiteekwa kussibwa mu nkola.
Tafsiran larabci:
مَّا كَانَ عَلَى ٱلنَّبِيِّ مِنۡ حَرَجٖ فِيمَا فَرَضَ ٱللَّهُ لَهُۥۖ سُنَّةَ ٱللَّهِ فِي ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلُۚ وَكَانَ أَمۡرُ ٱللَّهِ قَدَرٗا مَّقۡدُورًا
38 . Tekisaanira Nabbi kuwulira bubi ku ekyo Katonda kyaba amusaliddewo, eyo y'enkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiba kyagerwa ekyasalibwawo edda.
Tafsiran larabci:
ٱلَّذِينَ يُبَلِّغُونَ رِسَٰلَٰتِ ٱللَّهِ وَيَخۡشَوۡنَهُۥ وَلَا يَخۡشَوۡنَ أَحَدًا إِلَّا ٱللَّهَۗ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ حَسِيبٗا
39 . (Obutaba na nkenyera nga Katonda amaze okusalawo y'enkola ya) abo abasaasaanya obubaka bwa Katonda era nebamutya nebaba nga tebatya kintu kyonna okugyako Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda y'agenda okubala.
Tafsiran larabci:
مَّا كَانَ مُحَمَّدٌ أَبَآ أَحَدٖ مِّن رِّجَالِكُمۡ وَلَٰكِن رَّسُولَ ٱللَّهِ وَخَاتَمَ ٱلنَّبِيِّـۧنَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا
40 . Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Katonda, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ ذِكۡرٗا كَثِيرٗا
41 . Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Katonda nga mumwogerako nnyo.
Tafsiran larabci:
وَسَبِّحُوهُ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلًا
42 . Era mumutendereze enkya n’olweggulo.
Tafsiran larabci:
هُوَ ٱلَّذِي يُصَلِّي عَلَيۡكُمۡ وَمَلَٰٓئِكَتُهُۥ لِيُخۡرِجَكُم مِّنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۚ وَكَانَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ رَحِيمٗا
43 . Yye yooyo abasaasira nga ne ba Malayika be babasabira, abe nga abaggya mu bizikiza mudde eri ekitangaala. Era bulijjo musaasizi eri abakkiriza.
Tafsiran larabci:
تَحِيَّتُهُمۡ يَوۡمَ يَلۡقَوۡنَهُۥ سَلَٰمٞۚ وَأَعَدَّ لَهُمۡ أَجۡرٗا كَرِيمٗا
44 . Salaamu kye kiriba ekiramuso kya bwe (okuva ewa Katonda) olunaku lwe balimusisinkana, era yabategekera empeera ennungi.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِنَّآ أَرۡسَلۡنَٰكَ شَٰهِدٗا وَمُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا
45 . Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakutuma nga oli mujulizi, era nga owa amawulire ag'essanyu, era nga owa amawuire agalabula.
Tafsiran larabci:
وَدَاعِيًا إِلَى ٱللَّهِ بِإِذۡنِهِۦ وَسِرَاجٗا مُّنِيرٗا
46 . Era nga okoowoola (abantu) okudda eri Katonda ku lwe'kiragirokye era nga oli ttaala emulisa.
Tafsiran larabci:
وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ بِأَنَّ لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ فَضۡلٗا كَبِيرٗا
47 . Era sanyusa abakkiriza nti mazima bagenda kufuna okuva eri Katonda ebirungi ebisuffu.
Tafsiran larabci:
وَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَدَعۡ أَذَىٰهُمۡ وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا
48 . Era togondera abakaafiiri n'abannanfusi era tofa ku binyiizo bya bwe era weekwate bulijjo ku Katonda, anti amala okuba nga ye mukuumi.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نَكَحۡتُمُ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ طَلَّقۡتُمُوهُنَّ مِن قَبۡلِ أَن تَمَسُّوهُنَّ فَمَا لَكُمۡ عَلَيۡهِنَّ مِنۡ عِدَّةٖ تَعۡتَدُّونَهَاۖ فَمَتِّعُوهُنَّ وَسَرِّحُوهُنَّ سَرَاحٗا جَمِيلٗا
49 . Abange mmwe abakkiriza bwe muwasanga abakyala abakkiriza ate nemubata nga temunnabakwatako (nga temunnatuuka gye bali), temubalinaako Idda zebatuula (nga tebannafumbirwa basajja balala), olwo nno mubasibirire ekyo ekibasanyusa era mubaleke oluleka olulungi.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ إِنَّآ أَحۡلَلۡنَا لَكَ أَزۡوَٰجَكَ ٱلَّٰتِيٓ ءَاتَيۡتَ أُجُورَهُنَّ وَمَا مَلَكَتۡ يَمِينُكَ مِمَّآ أَفَآءَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ وَبَنَاتِ عَمِّكَ وَبَنَاتِ عَمَّٰتِكَ وَبَنَاتِ خَالِكَ وَبَنَاتِ خَٰلَٰتِكَ ٱلَّٰتِي هَاجَرۡنَ مَعَكَ وَٱمۡرَأَةٗ مُّؤۡمِنَةً إِن وَهَبَتۡ نَفۡسَهَا لِلنَّبِيِّ إِنۡ أَرَادَ ٱلنَّبِيُّ أَن يَسۡتَنكِحَهَا خَالِصَةٗ لَّكَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۗ قَدۡ عَلِمۡنَا مَا فَرَضۡنَا عَلَيۡهِمۡ فِيٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ وَمَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ لِكَيۡلَا يَكُونَ عَلَيۡكَ حَرَجٞۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا
50 . Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakukkiriza okuba ne bakyala bo abo bewawa amahare gaabwe, n'abo bonna omukono gwo ogwa ddyo begufuga nga bajjira mu ebyo Katonda byaba akuwadde mu ntalo nga (eminyago), era twakukkiriza bawala ba Kitaawo omuto ne bawala ba ba sengabo, ne bawala ba Kojja wo ne bawala ba Maama bo abato (baganda ba nnyoko), abo abaasenguka naawe, nabwekityo omukyala yenna omukkiriza bwaba nga yeewadde Nabbi, Nabbi n'aba nga ayagadde okumuwasa ekyo nga kikyo wekka, so ssi abakkiriza abasigadde. Mazima tumanyi ebyo bye twabalaalikako (bo) ku bikwata ku bakyala baabwe n'abo emikono gya bwe egya ddyo begifuga, olwo nno obe nga towulira buzibu. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
Tafsiran larabci:
۞ تُرۡجِي مَن تَشَآءُ مِنۡهُنَّ وَتُـٔۡوِيٓ إِلَيۡكَ مَن تَشَآءُۖ وَمَنِ ٱبۡتَغَيۡتَ مِمَّنۡ عَزَلۡتَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكَۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن تَقَرَّ أَعۡيُنُهُنَّ وَلَا يَحۡزَنَّ وَيَرۡضَيۡنَ بِمَآ ءَاتَيۡتَهُنَّ كُلُّهُنَّۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا فِي قُلُوبِكُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَلِيمٗا
51 . Olindiriza oyo gwoba oyagadde ku bo ate nootwala oyo gwoba oyagadde ate oyo gwoba osazeewo mu abo boolindirizza tolina kibi (singa oba osazeewo noomutwala) ekyo kye kitandikirwako mu kutebenkeza amaaso gaabwe ne batanakuwala era bonna nebasiima ebyo byoba obawadde, era Katonda amanyi ebyo ebiri mu mitima gya mmwe, anti bilijjo Katonda mumanyi nnyo wa kisa.
Tafsiran larabci:
لَّا يَحِلُّ لَكَ ٱلنِّسَآءُ مِنۢ بَعۡدُ وَلَآ أَن تَبَدَّلَ بِهِنَّ مِنۡ أَزۡوَٰجٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَكَ حُسۡنُهُنَّ إِلَّا مَا مَلَكَتۡ يَمِينُكَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ رَّقِيبٗا
52 . Tokkirizibwa bakyala balala oluvanyuma lw'abo (boolina) wadde okubawaanyisaamu abakyala abalala, obulungi bwabwe ne bwe bukusanyusa butya okugyako abo omukono gwo ogwa ddyo begufuga, era bulijjo Katonda mulondoozi wa buli kintu.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَدۡخُلُواْ بُيُوتَ ٱلنَّبِيِّ إِلَّآ أَن يُؤۡذَنَ لَكُمۡ إِلَىٰ طَعَامٍ غَيۡرَ نَٰظِرِينَ إِنَىٰهُ وَلَٰكِنۡ إِذَا دُعِيتُمۡ فَٱدۡخُلُواْ فَإِذَا طَعِمۡتُمۡ فَٱنتَشِرُواْ وَلَا مُسۡتَـٔۡنِسِينَ لِحَدِيثٍۚ إِنَّ ذَٰلِكُمۡ كَانَ يُؤۡذِي ٱلنَّبِيَّ فَيَسۡتَحۡيِۦ مِنكُمۡۖ وَٱللَّهُ لَا يَسۡتَحۡيِۦ مِنَ ٱلۡحَقِّۚ وَإِذَا سَأَلۡتُمُوهُنَّ مَتَٰعٗا فَسۡـَٔلُوهُنَّ مِن وَرَآءِ حِجَابٖۚ ذَٰلِكُمۡ أَطۡهَرُ لِقُلُوبِكُمۡ وَقُلُوبِهِنَّۚ وَمَا كَانَ لَكُمۡ أَن تُؤۡذُواْ رَسُولَ ٱللَّهِ وَلَآ أَن تَنكِحُوٓاْ أَزۡوَٰجَهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦٓ أَبَدًاۚ إِنَّ ذَٰلِكُمۡ كَانَ عِندَ ٱللَّهِ عَظِيمًا
53 . Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga e nyumba za Nabbi okugyako nga mukkiriziddwa okugenda okulya (ate) nga temulinda kuyiisibwa kwa mmere, bwe mumala okulya olwo nno musaasaane era temutwalirizibwanga emboozi, mazima ekyo kibadde kinyiiza Nabbi ate nga abakwatirwa ensonyi so nga Katonda takwatibwa nsonyi kwogera mazima, era (bakyala ba Nabbi) bwe mubaako ekintu kye mubasaba mukibasabire mabega wa lutimbe, ekyo nno kyekisinga obutukuvu eri emitima gya mmwe n'emitima gyabwe. Tekibagwanira mmwe okunyiiza omubaka wa Katonda era tekibagwanira kuwasa bakyalabe oluvanyumalwe (nga ekiragiro kino) kya lubeerera. Mazima ekikolwa ekyo kinene ewa Katonda.
Tafsiran larabci:
إِن تُبۡدُواْ شَيۡـًٔا أَوۡ تُخۡفُوهُ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا
54 . Kamube nga mwolesezza ekintu oba nga mukikwese mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala ekifa ku buli kintu.
Tafsiran larabci:
لَّا جُنَاحَ عَلَيۡهِنَّ فِيٓ ءَابَآئِهِنَّ وَلَآ أَبۡنَآئِهِنَّ وَلَآ إِخۡوَٰنِهِنَّ وَلَآ أَبۡنَآءِ إِخۡوَٰنِهِنَّ وَلَآ أَبۡنَآءِ أَخَوَٰتِهِنَّ وَلَا نِسَآئِهِنَّ وَلَا مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُنَّۗ وَٱتَّقِينَ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدًا
55 . (Bakyala ba Nabbi) tebalina kibi (obuteebikka) nga bali ne ba kitaabwe, wadde abaana baabwe wadde bannyinaabwe, wadde abaana ba bannyinaabwe, wadde abakyala nga bbo, wadde emikono gyabwe egya ddyo begifuga, bateekeddwa okutya Katonda, mazima Katonda bulijjo aba buli kintu kyonna wekikolerwa.
Tafsiran larabci:
إِنَّ ٱللَّهَ وَمَلَٰٓئِكَتَهُۥ يُصَلُّونَ عَلَى ٱلنَّبِيِّۚ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ صَلُّواْ عَلَيۡهِ وَسَلِّمُواْ تَسۡلِيمًا
56 . Mazima Katonda neba Malayikabe basaasira Nabbi, abange mmwe abakkiriza mumusabirenga era mumulamuse olulamusa (olumuwa ekitiibwa).
Tafsiran larabci:
إِنَّ ٱلَّذِينَ يُؤۡذُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَأَعَدَّ لَهُمۡ عَذَابٗا مُّهِينٗا
57 . Mazima abo abanyiiza Katonda n’omubakawe, Katonda yabakolimira ku nsi ne ku nkomerero era naabategekera ebibonerezo ebinyoomesa.
Tafsiran larabci:
وَٱلَّذِينَ يُؤۡذُونَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ بِغَيۡرِ مَا ٱكۡتَسَبُواْ فَقَدِ ٱحۡتَمَلُواْ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا
58 . Ate abo abanyiiza abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi awatali kintu kye bakoze, mazima baba beetisse okutemerera n'ekibi eky'olwatu.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّأَزۡوَٰجِكَ وَبَنَاتِكَ وَنِسَآءِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ يُدۡنِينَ عَلَيۡهِنَّ مِن جَلَٰبِيبِهِنَّۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن يُعۡرَفۡنَ فَلَا يُؤۡذَيۡنَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا
59 . Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo ne bawalabo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti ba kitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.
Tafsiran larabci:
۞ لَّئِن لَّمۡ يَنتَهِ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡمُرۡجِفُونَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ لَنُغۡرِيَنَّكَ بِهِمۡ ثُمَّ لَا يُجَاوِرُونَكَ فِيهَآ إِلَّا قَلِيلٗا
60 . Abannanfusi n'abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abasaasaanya kalebule mu Madinah bwe banaaba tebeekomyeko tujja kukusobozesa okubakolako, n'ekinaddako tebagenda kuddayo kubeera naawe mu kyo okugyako ekiseera kitono.
Tafsiran larabci:
مَّلۡعُونِينَۖ أَيۡنَمَا ثُقِفُوٓاْ أُخِذُواْ وَقُتِّلُواْ تَقۡتِيلٗا
61 . Bakolimirwa, wonna webasangibwa bakwatibwa nebattibwa olutta.
Tafsiran larabci:
سُنَّةَ ٱللَّهِ فِي ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلُۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّةِ ٱللَّهِ تَبۡدِيلٗا
62 . (Tebasaasirwa) ekyo ye nkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye, ate toyinza kusanga kukyuka mu nkola ya Katonda.
Tafsiran larabci:
يَسۡـَٔلُكَ ٱلنَّاسُ عَنِ ٱلسَّاعَةِۖ قُلۡ إِنَّمَا عِلۡمُهَا عِندَ ٱللَّهِۚ وَمَا يُدۡرِيكَ لَعَلَّ ٱلسَّاعَةَ تَكُونُ قَرِيبًا
63 . Abantu bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero bagambe nti: mazima okumanyibwa kwalwo kuli eri Katonda, ye omanya otya oba olunaku lw'enkomerero luli kumpi!.
Tafsiran larabci:
إِنَّ ٱللَّهَ لَعَنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَأَعَدَّ لَهُمۡ سَعِيرًا
64 . Mazima Katonda yakolimira abakaafiiri era naabategekera omuliro Sai-ir.
Tafsiran larabci:
خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ لَّا يَجِدُونَ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا
65 . Baakutuula mu gwo bugenderevu, tebagenda kufuna wa mukwano oba omutaasa.
Tafsiran larabci:
يَوۡمَ تُقَلَّبُ وُجُوهُهُمۡ فِي ٱلنَّارِ يَقُولُونَ يَٰلَيۡتَنَآ أَطَعۡنَا ٱللَّهَ وَأَطَعۡنَا ٱلرَّسُولَا۠
66 . Ku lunaku ebyenyi byabwe lwe birikyusibwakyusibwa mu muliro nga bagamba nti zitusanze singa twagondera Katonda era netugondera omubaka.
Tafsiran larabci:
وَقَالُواْ رَبَّنَآ إِنَّآ أَطَعۡنَا سَادَتَنَا وَكُبَرَآءَنَا فَأَضَلُّونَا ٱلسَّبِيلَا۠
67 . Era ne bagamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe twagondera abakulembeze baffe n'abatutumufu mu ffe, olwo nno nebatubuza ekkubo.
Tafsiran larabci:
رَبَّنَآ ءَاتِهِمۡ ضِعۡفَيۡنِ مِنَ ٱلۡعَذَابِ وَٱلۡعَنۡهُمۡ لَعۡنٗا كَبِيرٗا
68 . Ayi Mukama omulabirizi waffe bawe ebibonerezo byabwe nga bibaziddwamu emirundi ebiri era obakolimire olukolimira olunene.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ ءَاذَوۡاْ مُوسَىٰ فَبَرَّأَهُ ٱللَّهُ مِمَّا قَالُواْۚ وَكَانَ عِندَ ٱللَّهِ وَجِيهٗا
69 . Abange mmwe abakkiriza temubeeranga abo abaanyiiiza Musa (bwe baagamba nti aliko obulemu ku mubirigwe obumugaana okunaaba naffe) wabula Katonda yamutukuza ku ekyo kye baagamba era bulijjo wa kitiibwa ewa Katonda.
Tafsiran larabci:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَقُولُواْ قَوۡلٗا سَدِيدٗا
70 . Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mwogere ebigambo ebituufu.
Tafsiran larabci:
يُصۡلِحۡ لَكُمۡ أَعۡمَٰلَكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡۗ وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَقَدۡ فَازَ فَوۡزًا عَظِيمًا
71 . Ajja kubalongooseza emirimu gya mmwe era abasonyiwe ebyonoono bya mmwe, era bulijjo omuntu agondera Katonda n’omubakawe aba yeesiimye olwesiima olusuffu.
Tafsiran larabci:
إِنَّا عَرَضۡنَا ٱلۡأَمَانَةَ عَلَى ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡجِبَالِ فَأَبَيۡنَ أَن يَحۡمِلۡنَهَا وَأَشۡفَقۡنَ مِنۡهَا وَحَمَلَهَا ٱلۡإِنسَٰنُۖ إِنَّهُۥ كَانَ ظَلُومٗا جَهُولٗا
72 . Mazima ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye nebigaana okubwetikka nebibwesamba, ye omuntu naabwetikka (naatatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi.
Tafsiran larabci:
لِّيُعَذِّبَ ٱللَّهُ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱلۡمُنَٰفِقَٰتِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ وَٱلۡمُشۡرِكَٰتِ وَيَتُوبَ ٱللَّهُ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمَۢا
73 . Olwo nno Katonda alyoke abe nga abonereza abannanfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n’abasajja abagatta ku Katonda ebintu ebirala n’abakazi abagatta ku Katonda ebintu ebirala, era abe nga asonyiwa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi. Era bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa muyitirivu wa kusaasira.
Tafsiran larabci:
 
Fassarar Ma'anoni Sura: Suratu Al'ahzab
Teburin Jerin Sunayen Surori Lambar shafi
 
Fassarar Ma'anonin Alqura'ni - Fassara da yaren Luganiyanci - Cibiyar Africa don ci gaba - Teburin Bayani kan wasu Fassarori

Fassarar Maanonin Al-qurani maigirma zuwa yaren Lugandiyya, fassarar wani gungun mutane daga Cibiyar Africa to ci gaba

Rufewa