Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Al-Kahf   Ayah:
ٱلۡمَالُ وَٱلۡبَنُونَ زِينَةُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ أَمَلٗا
46 . Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَيَوۡمَ نُسَيِّرُ ٱلۡجِبَالَ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ بَارِزَةٗ وَحَشَرۡنَٰهُمۡ فَلَمۡ نُغَادِرۡ مِنۡهُمۡ أَحَدٗا
47 . Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَعُرِضُواْ عَلَىٰ رَبِّكَ صَفّٗا لَّقَدۡ جِئۡتُمُونَا كَمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةِۭۚ بَلۡ زَعَمۡتُمۡ أَلَّن نَّجۡعَلَ لَكُم مَّوۡعِدٗا
48 . Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ فَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُشۡفِقِينَ مِمَّا فِيهِ وَيَقُولُونَ يَٰوَيۡلَتَنَا مَالِ هَٰذَا ٱلۡكِتَٰبِ لَا يُغَادِرُ صَغِيرَةٗ وَلَا كَبِيرَةً إِلَّآ أَحۡصَىٰهَاۚ وَوَجَدُواْ مَا عَمِلُواْ حَاضِرٗاۗ وَلَا يَظۡلِمُ رَبُّكَ أَحَدٗا
49 . Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ كَانَ مِنَ ٱلۡجِنِّ فَفَسَقَ عَنۡ أَمۡرِ رَبِّهِۦٓۗ أَفَتَتَّخِذُونَهُۥ وَذُرِّيَّتَهُۥٓ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِي وَهُمۡ لَكُمۡ عَدُوُّۢۚ بِئۡسَ لِلظَّٰلِمِينَ بَدَلٗا
50 . Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebamuvunnamira okugyako Ibuliisu (Sitane) eyali owo mu Majinni olwo nno naayawukana ku kiragiro kya Mukama omulabiriziwe, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezaddelye abataasa ba mmwe (nze) Katonda nemunvaako ate nga bo balabe ba mmwe, nga okwo kuwanyisiganya kubi abeeyisa obubi kwebakola.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ مَّآ أَشۡهَدتُّهُمۡ خَلۡقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَا خَلۡقَ أَنفُسِهِمۡ وَمَا كُنتُ مُتَّخِذَ ٱلۡمُضِلِّينَ عَضُدٗا
51 . Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَيَوۡمَ يَقُولُ نَادُواْ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُمۡ فَدَعَوۡهُمۡ فَلَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُمۡ وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُم مَّوۡبِقٗا
52 . Era (mufumiitirize) olunaku (Katonda) lwalibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo ba katonda) olwo nno bali bayita nebatabaanukula era netussa wakati waabwe ekibaawula.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَرَءَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ٱلنَّارَ فَظَنُّوٓاْ أَنَّهُم مُّوَاقِعُوهَا وَلَمۡ يَجِدُواْ عَنۡهَا مَصۡرِفٗا
53 . Aboonoonyi baliraba omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kufuna buwonero bwonna ku gwo.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Al-Kahf
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close