Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Al-Mu’minūn   Ayah:
أَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَكُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ
105 . Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالُواْ رَبَّنَا غَلَبَتۡ عَلَيۡنَا شِقۡوَتُنَا وَكُنَّا قَوۡمٗا ضَآلِّينَ
106 . Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula.
Arabic explanations of the Qur’an:
رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا مِنۡهَا فَإِنۡ عُدۡنَا فَإِنَّا ظَٰلِمُونَ
107 . Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ ٱخۡسَـُٔواْ فِيهَا وَلَا تُكَلِّمُونِ
108 . Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّهُۥ كَانَ فَرِيقٞ مِّنۡ عِبَادِي يَقُولُونَ رَبَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّٰحِمِينَ
109 . Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَٱتَّخَذۡتُمُوهُمۡ سِخۡرِيًّا حَتَّىٰٓ أَنسَوۡكُمۡ ذِكۡرِي وَكُنتُم مِّنۡهُمۡ تَضۡحَكُونَ
110 . Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنِّي جَزَيۡتُهُمُ ٱلۡيَوۡمَ بِمَا صَبَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ
111 . Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَٰلَ كَمۡ لَبِثۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ عَدَدَ سِنِينَ
112 . (Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka?
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖ فَسۡـَٔلِ ٱلۡعَآدِّينَ
113 . Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَٰلَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ لَّوۡ أَنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
114 . Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَفَحَسِبۡتُمۡ أَنَّمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ عَبَثٗا وَأَنَّكُمۡ إِلَيۡنَا لَا تُرۡجَعُونَ
115 . Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡكَرِيمِ
116 . Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَن يَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ لَا بُرۡهَٰنَ لَهُۥ بِهِۦ فَإِنَّمَا حِسَابُهُۥ عِندَ رَبِّهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ
117 . Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقُل رَّبِّ ٱغۡفِرۡ وَٱرۡحَمۡ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّٰحِمِينَ
118 . Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Al-Mu’minūn
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close