Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Institution for Development * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Al-Qasas   Ayah:

Al Kaswas

طسٓمٓ
1 . Twaa Siin Miim.
Arabic explanations of the Qur’an:
تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ
2 . Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola.
Arabic explanations of the Qur’an:
نَتۡلُواْ عَلَيۡكَ مِن نَّبَإِ مُوسَىٰ وَفِرۡعَوۡنَ بِٱلۡحَقِّ لِقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ
3 . Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ فِرۡعَوۡنَ عَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلَ أَهۡلَهَا شِيَعٗا يَسۡتَضۡعِفُ طَآئِفَةٗ مِّنۡهُمۡ يُذَبِّحُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَيَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ
4 . Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَنُرِيدُ أَن نَّمُنَّ عَلَى ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنَجۡعَلَهُمۡ أَئِمَّةٗ وَنَجۡعَلَهُمُ ٱلۡوَٰرِثِينَ
5 . Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَنُمَكِّنَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنُرِيَ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَجُنُودَهُمَا مِنۡهُم مَّا كَانُواْ يَحۡذَرُونَ
6 . Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Firaawo ne Hamana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَرۡضِعِيهِۖ فَإِذَا خِفۡتِ عَلَيۡهِ فَأَلۡقِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ وَلَا تَخَافِي وَلَا تَحۡزَنِيٓۖ إِنَّا رَآدُّوهُ إِلَيۡكِ وَجَاعِلُوهُ مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
7 . Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَٱلۡتَقَطَهُۥٓ ءَالُ فِرۡعَوۡنَ لِيَكُونَ لَهُمۡ عَدُوّٗا وَحَزَنًاۗ إِنَّ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَجُنُودَهُمَا كَانُواْ خَٰطِـِٔينَ
8 . Abantu ba Firaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era eky'okunakuwala. Mazima Firaawo ne Hamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَتِ ٱمۡرَأَتُ فِرۡعَوۡنَ قُرَّتُ عَيۡنٖ لِّي وَلَكَۖ لَا تَقۡتُلُوهُ عَسَىٰٓ أَن يَنفَعَنَآ أَوۡ نَتَّخِذَهُۥ وَلَدٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ
9 . Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَصۡبَحَ فُؤَادُ أُمِّ مُوسَىٰ فَٰرِغًاۖ إِن كَادَتۡ لَتُبۡدِي بِهِۦ لَوۡلَآ أَن رَّبَطۡنَا عَلَىٰ قَلۡبِهَا لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
10 . Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَتۡ لِأُخۡتِهِۦ قُصِّيهِۖ فَبَصُرَتۡ بِهِۦ عَن جُنُبٖ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ
11 . (Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ وَحَرَّمۡنَا عَلَيۡهِ ٱلۡمَرَاضِعَ مِن قَبۡلُ فَقَالَتۡ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰٓ أَهۡلِ بَيۡتٖ يَكۡفُلُونَهُۥ لَكُمۡ وَهُمۡ لَهُۥ نَٰصِحُونَ
12 . Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَرَدَدۡنَٰهُ إِلَىٰٓ أُمِّهِۦ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَ وَلِتَعۡلَمَ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ
13 . Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُۥ وَٱسۡتَوَىٰٓ ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ
14 . (Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَدَخَلَ ٱلۡمَدِينَةَ عَلَىٰ حِينِ غَفۡلَةٖ مِّنۡ أَهۡلِهَا فَوَجَدَ فِيهَا رَجُلَيۡنِ يَقۡتَتِلَانِ هَٰذَا مِن شِيعَتِهِۦ وَهَٰذَا مِنۡ عَدُوِّهِۦۖ فَٱسۡتَغَٰثَهُ ٱلَّذِي مِن شِيعَتِهِۦ عَلَى ٱلَّذِي مِنۡ عَدُوِّهِۦ فَوَكَزَهُۥ مُوسَىٰ فَقَضَىٰ عَلَيۡهِۖ قَالَ هَٰذَا مِنۡ عَمَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّهُۥ عَدُوّٞ مُّضِلّٞ مُّبِينٞ
15 . (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ رَبِّ إِنِّي ظَلَمۡتُ نَفۡسِي فَٱغۡفِرۡ لِي فَغَفَرَ لَهُۥٓۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ
16 . (Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ رَبِّ بِمَآ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ فَلَنۡ أَكُونَ ظَهِيرٗا لِّلۡمُجۡرِمِينَ
17 . Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَأَصۡبَحَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُ فَإِذَا ٱلَّذِي ٱسۡتَنصَرَهُۥ بِٱلۡأَمۡسِ يَسۡتَصۡرِخُهُۥۚ قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰٓ إِنَّكَ لَغَوِيّٞ مُّبِينٞ
18 . Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa naamugamba nti: mazima ggwe mulumbaganyi ow'olwatu.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَلَمَّآ أَنۡ أَرَادَ أَن يَبۡطِشَ بِٱلَّذِي هُوَ عَدُوّٞ لَّهُمَا قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ أَتُرِيدُ أَن تَقۡتُلَنِي كَمَا قَتَلۡتَ نَفۡسَۢا بِٱلۡأَمۡسِۖ إِن تُرِيدُ إِلَّآ أَن تَكُونَ جَبَّارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا تُرِيدُ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ
19 . Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَجَآءَ رَجُلٞ مِّنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّ ٱلۡمَلَأَ يَأۡتَمِرُونَ بِكَ لِيَقۡتُلُوكَ فَٱخۡرُجۡ إِنِّي لَكَ مِنَ ٱلنَّٰصِحِينَ
20 . Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَخَرَجَ مِنۡهَا خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُۖ قَالَ رَبِّ نَجِّنِي مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ
21 . Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَمَّا تَوَجَّهَ تِلۡقَآءَ مَدۡيَنَ قَالَ عَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يَهۡدِيَنِي سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ
22 . Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti nsaba Mukama omulabirizi wange annungamye ku kkubo ettuufu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَمَّا وَرَدَ مَآءَ مَدۡيَنَ وَجَدَ عَلَيۡهِ أُمَّةٗ مِّنَ ٱلنَّاسِ يَسۡقُونَ وَوَجَدَ مِن دُونِهِمُ ٱمۡرَأَتَيۡنِ تَذُودَانِۖ قَالَ مَا خَطۡبُكُمَاۖ قَالَتَا لَا نَسۡقِي حَتَّىٰ يُصۡدِرَ ٱلرِّعَآءُۖ وَأَبُونَا شَيۡخٞ كَبِيرٞ
23 . Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَسَقَىٰ لَهُمَا ثُمَّ تَوَلَّىٰٓ إِلَى ٱلظِّلِّ فَقَالَ رَبِّ إِنِّي لِمَآ أَنزَلۡتَ إِلَيَّ مِنۡ خَيۡرٖ فَقِيرٞ
24 . Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَجَآءَتۡهُ إِحۡدَىٰهُمَا تَمۡشِي عَلَى ٱسۡتِحۡيَآءٖ قَالَتۡ إِنَّ أَبِي يَدۡعُوكَ لِيَجۡزِيَكَ أَجۡرَ مَا سَقَيۡتَ لَنَاۚ فَلَمَّا جَآءَهُۥ وَقَصَّ عَلَيۡهِ ٱلۡقَصَصَ قَالَ لَا تَخَفۡۖ نَجَوۡتَ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ
25 . (Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَتۡ إِحۡدَىٰهُمَا يَٰٓأَبَتِ ٱسۡتَـٔۡجِرۡهُۖ إِنَّ خَيۡرَ مَنِ ٱسۡتَـٔۡجَرۡتَ ٱلۡقَوِيُّ ٱلۡأَمِينُ
26 . (Omuwala) omu naagamba nti owange Taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye wa maanyi omwesigwa
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ إِنِّيٓ أُرِيدُ أَنۡ أُنكِحَكَ إِحۡدَى ٱبۡنَتَيَّ هَٰتَيۡنِ عَلَىٰٓ أَن تَأۡجُرَنِي ثَمَٰنِيَ حِجَجٖۖ فَإِنۡ أَتۡمَمۡتَ عَشۡرٗا فَمِنۡ عِندِكَۖ وَمَآ أُرِيدُ أَنۡ أَشُقَّ عَلَيۡكَۚ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ
27 . (Kitaawe wa Bawala) naagamba nti mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza e kkumi ekyo kiri gyoli, wabula saagala ku kukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ ذَٰلِكَ بَيۡنِي وَبَيۡنَكَۖ أَيَّمَا ٱلۡأَجَلَيۡنِ قَضَيۡتُ فَلَا عُدۡوَٰنَ عَلَيَّۖ وَٱللَّهُ عَلَىٰ مَا نَقُولُ وَكِيلٞ
28 . (Musa) naagamba nti ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze njakuba sivunaanwa, era Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ فَلَمَّا قَضَىٰ مُوسَى ٱلۡأَجَلَ وَسَارَ بِأَهۡلِهِۦٓ ءَانَسَ مِن جَانِبِ ٱلطُّورِ نَارٗاۖ قَالَ لِأَهۡلِهِ ٱمۡكُثُوٓاْ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا لَّعَلِّيٓ ءَاتِيكُم مِّنۡهَا بِخَبَرٍ أَوۡ جَذۡوَةٖ مِّنَ ٱلنَّارِ لَعَلَّكُمۡ تَصۡطَلُونَ
29 . Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَلَمَّآ أَتَىٰهَا نُودِيَ مِن شَٰطِيِٕ ٱلۡوَادِ ٱلۡأَيۡمَنِ فِي ٱلۡبُقۡعَةِ ٱلۡمُبَٰرَكَةِ مِنَ ٱلشَّجَرَةِ أَن يَٰمُوسَىٰٓ إِنِّيٓ أَنَا ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
30 . Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lwe'kisenyi olwa ddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Katonda Omulabirizi w'ebitonde.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَنۡ أَلۡقِ عَصَاكَۚ فَلَمَّا رَءَاهَا تَهۡتَزُّ كَأَنَّهَا جَآنّٞ وَلَّىٰ مُدۡبِرٗا وَلَمۡ يُعَقِّبۡۚ يَٰمُوسَىٰٓ أَقۡبِلۡ وَلَا تَخَفۡۖ إِنَّكَ مِنَ ٱلۡأٓمِنِينَ
31 . Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe.
Arabic explanations of the Qur’an:
ٱسۡلُكۡ يَدَكَ فِي جَيۡبِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٖ وَٱضۡمُمۡ إِلَيۡكَ جَنَاحَكَ مِنَ ٱلرَّهۡبِۖ فَذَٰنِكَ بُرۡهَٰنَانِ مِن رَّبِّكَ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ
32 . Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalokyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukonogwo ku kifubakyo. Obwo nno bwombiriri bwe bubonero okuva eri Katondawo bwotwalira Firaawo n'abakungube, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ رَبِّ إِنِّي قَتَلۡتُ مِنۡهُمۡ نَفۡسٗا فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ
33 . (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَخِي هَٰرُونُ هُوَ أَفۡصَحُ مِنِّي لِسَانٗا فَأَرۡسِلۡهُ مَعِيَ رِدۡءٗا يُصَدِّقُنِيٓۖ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ
34 . Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ سَنَشُدُّ عَضُدَكَ بِأَخِيكَ وَنَجۡعَلُ لَكُمَا سُلۡطَٰنٗا فَلَا يَصِلُونَ إِلَيۡكُمَا بِـَٔايَٰتِنَآۚ أَنتُمَا وَمَنِ ٱتَّبَعَكُمَا ٱلۡغَٰلِبُونَ
35 . Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَلَمَّا جَآءَهُم مُّوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَا بَيِّنَٰتٖ قَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّفۡتَرٗى وَمَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ
36 . Musa bwe yabajjira n'obubonero bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino tekiri okugyako okuba e ddogo e jjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَ مُوسَىٰ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ مِنۡ عِندِهِۦ وَمَن تَكُونُ لَهُۥ عَٰقِبَةُ ٱلدَّارِۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّٰلِمُونَ
37 . Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَأُ مَا عَلِمۡتُ لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرِي فَأَوۡقِدۡ لِي يَٰهَٰمَٰنُ عَلَى ٱلطِّينِ فَٱجۡعَل لِّي صَرۡحٗا لَّعَلِّيٓ أَطَّلِعُ إِلَىٰٓ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُۥ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ
38 . Ate Firaawo naagamba nti: abange mmwe abakungu ssibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaan nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱسۡتَكۡبَرَ هُوَ وَجُنُودُهُۥ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ إِلَيۡنَا لَا يُرۡجَعُونَ
39 . Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggyerye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gye tuli.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَأَخَذۡنَٰهُ وَجُنُودَهُۥ فَنَبَذۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلظَّٰلِمِينَ
40 . Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلنَّارِۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا يُنصَرُونَ
41 . Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَتۡبَعۡنَٰهُمۡ فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا لَعۡنَةٗۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ هُم مِّنَ ٱلۡمَقۡبُوحِينَ
42 . Era twabagobereza e kikolimo mu nsi muno nga ne ku lunaku lw'enkomerero bbo be balifuulibwa abalabika obubi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ مِنۢ بَعۡدِ مَآ أَهۡلَكۡنَا ٱلۡقُرُونَ ٱلۡأُولَىٰ بَصَآئِرَ لِلنَّاسِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لَّعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ
43 . Mazima twawa Musa e kitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulungamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ ٱلۡغَرۡبِيِّ إِذۡ قَضَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَى ٱلۡأَمۡرَ وَمَا كُنتَ مِنَ ٱلشَّٰهِدِينَ
44 . Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَٰكِنَّآ أَنشَأۡنَا قُرُونٗا فَتَطَاوَلَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡعُمُرُۚ وَمَا كُنتَ ثَاوِيٗا فِيٓ أَهۡلِ مَدۡيَنَ تَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَا وَلَٰكِنَّا كُنَّا مُرۡسِلِينَ
45 . Naye mazima ffe twasibulawo e mirembe ebbanga neriyitawo ddene (era nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'eMadiyana n'oba nga obasomera ebigambo byaffe naye mazima ffe bulijjo tubadde tutuma ababaka.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ ٱلطُّورِ إِذۡ نَادَيۡنَا وَلَٰكِن رَّحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوۡمٗا مَّآ أَتَىٰهُم مِّن نَّذِيرٖ مِّن قَبۡلِكَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ
46 . Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَوۡلَآ أَن تُصِيبَهُم مُّصِيبَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ فَيَقُولُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ وَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
47 . (Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ate nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe singa watutumira omubaka ne tugoberera ebigambobyo era ne tubeera mu bakkiriza.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ مِنۡ عِندِنَا قَالُواْ لَوۡلَآ أُوتِيَ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ مُوسَىٰٓۚ أَوَلَمۡ يَكۡفُرُواْ بِمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ مِن قَبۡلُۖ قَالُواْ سِحۡرَانِ تَظَٰهَرَا وَقَالُوٓاْ إِنَّا بِكُلّٖ كَٰفِرُونَ
48 . Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ فَأۡتُواْ بِكِتَٰبٖ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ هُوَ أَهۡدَىٰ مِنۡهُمَآ أَتَّبِعۡهُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
49 . Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَإِن لَّمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَكَ فَٱعۡلَمۡ أَنَّمَا يَتَّبِعُونَ أَهۡوَآءَهُمۡۚ وَمَنۡ أَضَلُّ مِمَّنِ ٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ بِغَيۡرِ هُدٗى مِّنَ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ
50 . Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwa bwe, era ani mubuze okusinga oyo agoberera okwagalakwe okutaliiko kulungamya kuva wa Katonda, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ وَلَقَدۡ وَصَّلۡنَا لَهُمُ ٱلۡقَوۡلَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ
51 . Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira.
Arabic explanations of the Qur’an:
ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِهِۦ هُم بِهِۦ يُؤۡمِنُونَ
52 . Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَإِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦٓ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّنَآ إِنَّا كُنَّا مِن قَبۡلِهِۦ مُسۡلِمِينَ
53 . Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu.
Arabic explanations of the Qur’an:
أُوْلَٰٓئِكَ يُؤۡتَوۡنَ أَجۡرَهُم مَّرَّتَيۡنِ بِمَا صَبَرُواْ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ
54 . Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَإِذَا سَمِعُواْ ٱللَّغۡوَ أَعۡرَضُواْ عَنۡهُ وَقَالُواْ لَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡ لَا نَبۡتَغِي ٱلۡجَٰهِلِينَ
55 . Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّكَ لَا تَهۡدِي مَنۡ أَحۡبَبۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ
56 . Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالُوٓاْ إِن نَّتَّبِعِ ٱلۡهُدَىٰ مَعَكَ نُتَخَطَّفۡ مِنۡ أَرۡضِنَآۚ أَوَلَمۡ نُمَكِّن لَّهُمۡ حَرَمًا ءَامِنٗا يُجۡبَىٰٓ إِلَيۡهِ ثَمَرَٰتُ كُلِّ شَيۡءٖ رِّزۡقٗا مِّن لَّدُنَّا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ
57 . Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةِۭ بَطِرَتۡ مَعِيشَتَهَاۖ فَتِلۡكَ مَسَٰكِنُهُمۡ لَمۡ تُسۡكَن مِّنۢ بَعۡدِهِمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ وَكُنَّا نَحۡنُ ٱلۡوَٰرِثِينَ
58 . Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا كَانَ رَبُّكَ مُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ حَتَّىٰ يَبۡعَثَ فِيٓ أُمِّهَا رَسُولٗا يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۚ وَمَا كُنَّا مُهۡلِكِي ٱلۡقُرَىٰٓ إِلَّا وَأَهۡلُهَا ظَٰلِمُونَ
59 . Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَآ أُوتِيتُم مِّن شَيۡءٖ فَمَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتُهَاۚ وَمَا عِندَ ٱللَّهِ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
60 . Buli kintu kye muweebwa bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kw'ayo. So ng'ate ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera!.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَفَمَن وَعَدۡنَٰهُ وَعۡدًا حَسَنٗا فَهُوَ لَٰقِيهِ كَمَن مَّتَّعۡنَٰهُ مَتَٰعَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ هُوَ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ مِنَ ٱلۡمُحۡضَرِينَ
61 . Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ
62 . Era bategeeze olunaku (Katonda) lwali bakoowoola naagamba nti baliwa be mwangattangako.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ ٱلَّذِينَ حَقَّ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَوۡلُ رَبَّنَا هَٰٓؤُلَآءِ ٱلَّذِينَ أَغۡوَيۡنَآ أَغۡوَيۡنَٰهُمۡ كَمَا غَوَيۡنَاۖ تَبَرَّأۡنَآ إِلَيۡكَۖ مَا كَانُوٓاْ إِيَّانَا يَعۡبُدُونَ
63 . Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, abo bbo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesamudde netwemalira ku ggwe. Baali tebasinza ffe.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقِيلَ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ فَدَعَوۡهُمۡ فَلَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُمۡ وَرَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۚ لَوۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ يَهۡتَدُونَ
64 . Baligambibwa nti: muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalungama.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ مَاذَآ أَجَبۡتُمُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
65 . Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَعَمِيَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلۡأَنۢبَآءُ يَوۡمَئِذٖ فَهُمۡ لَا يَتَسَآءَلُونَ
66 . Ku lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bbo tebagenda kwewuunaganya.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَأَمَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَعَسَىٰٓ أَن يَكُونَ مِنَ ٱلۡمُفۡلِحِينَ
67 . Naye oyo eyeenenya, nakkiriza naakola e mirimu e mirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَرَبُّكَ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُ وَيَخۡتَارُۗ مَا كَانَ لَهُمُ ٱلۡخِيَرَةُۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ
68 . Mukama Omulabiriziwo atonda kyaba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, yasukkuluma Katonda era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَرَبُّكَ يَعۡلَمُ مَا تُكِنُّ صُدُورُهُمۡ وَمَا يُعۡلِنُونَ
69 . Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَهُوَ ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ لَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأُولَىٰ وَٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
70 . Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلَّيۡلَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِضِيَآءٍۚ أَفَلَا تَسۡمَعُونَ
71 . Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira!.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلنَّهَارَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِلَيۡلٖ تَسۡكُنُونَ فِيهِۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ
72 . Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba!.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمِن رَّحۡمَتِهِۦ جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
73 . Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ
74 . Era (bategeeze) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti baliwa abo bemwangattangako bemwagambanga.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَنَزَعۡنَا مِن كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدٗا فَقُلۡنَا هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ فَعَلِمُوٓاْ أَنَّ ٱلۡحَقَّ لِلَّهِ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ
75 . Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi ba mmwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Katonda, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ إِنَّ قَٰرُونَ كَانَ مِن قَوۡمِ مُوسَىٰ فَبَغَىٰ عَلَيۡهِمۡۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡكُنُوزِ مَآ إِنَّ مَفَاتِحَهُۥ لَتَنُوٓأُ بِٱلۡعُصۡبَةِ أُوْلِي ٱلۡقُوَّةِ إِذۡ قَالَ لَهُۥ قَوۡمُهُۥ لَا تَفۡرَحۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَرِحِينَ
76 . Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱبۡتَغِ فِيمَآ ءَاتَىٰكَ ٱللَّهُ ٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَۖ وَلَا تَنسَ نَصِيبَكَ مِنَ ٱلدُّنۡيَاۖ وَأَحۡسِن كَمَآ أَحۡسَنَ ٱللَّهُ إِلَيۡكَۖ وَلَا تَبۡغِ ٱلۡفَسَادَ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُفۡسِدِينَ
77 . Noonya e nyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era teweerabiranga omugabogwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Katonda bwa kukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima Katonda tayagala boonoonyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمٍ عِندِيٓۚ أَوَلَمۡ يَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَهۡلَكَ مِن قَبۡلِهِۦ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مَنۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُ قُوَّةٗ وَأَكۡثَرُ جَمۡعٗاۚ وَلَا يُسۡـَٔلُ عَن ذُنُوبِهِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ
78 . (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).
Arabic explanations of the Qur’an:
فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ فِي زِينَتِهِۦۖ قَالَ ٱلَّذِينَ يُرِيدُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا يَٰلَيۡتَ لَنَا مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ قَٰرُونُ إِنَّهُۥ لَذُو حَظٍّ عَظِيمٖ
79 . (Olwo nno Karuna) yafuluma (naagenda) awali abantube nga ali mu byambalobye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Karuna mazima yye wa mukisa munene.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَيۡلَكُمۡ ثَوَابُ ٱللَّهِ خَيۡرٞ لِّمَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗاۚ وَلَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ٱلصَّٰبِرُونَ
80 . Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَخَسَفۡنَا بِهِۦ وَبِدَارِهِ ٱلۡأَرۡضَ فَمَا كَانَ لَهُۥ مِن فِئَةٖ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُنتَصِرِينَ
81 . Olwo nno netulagira ettaka nelimumira n'enyumba ye teyalina kabinja k'abantu baamutaasa awatali Katonda era teyali wa mu bayinza kwetaasa.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَصۡبَحَ ٱلَّذِينَ تَمَنَّوۡاْ مَكَانَهُۥ بِٱلۡأَمۡسِ يَقُولُونَ وَيۡكَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُۖ لَوۡلَآ أَن مَّنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا لَخَسَفَ بِنَاۖ وَيۡكَأَنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ
82 . Abo abeegomba e mbeeraye olunaku lwa jjo, baatuuka okugamba nti weewaawo ddala Katonda ayanjuluza riziki kwoyo gwaba ayagadde mu baddube era nga bwasobola okugifunza. Singa Katonda teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira yye abaffe tokiraba nti abakaafiiri tebayinza kutuuka ku buwanguzi.
Arabic explanations of the Qur’an:
تِلۡكَ ٱلدَّارُ ٱلۡأٓخِرَةُ نَجۡعَلُهَا لِلَّذِينَ لَا يُرِيدُونَ عُلُوّٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فَسَادٗاۚ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلۡمُتَّقِينَ
83 . Eyo e nyumba ey'enkomerero (e jjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abatya Katonda.
Arabic explanations of the Qur’an:
مَن جَآءَ بِٱلۡحَسَنَةِ فَلَهُۥ خَيۡرٞ مِّنۡهَاۖ وَمَن جَآءَ بِٱلسَّيِّئَةِ فَلَا يُجۡزَى ٱلَّذِينَ عَمِلُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
84 . Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa e kirungi e kikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okugyako ebyo bye baakola.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ ٱلَّذِي فَرَضَ عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لَرَآدُّكَ إِلَىٰ مَعَادٖۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ مَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ وَمَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
85 . Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا كُنتَ تَرۡجُوٓاْ أَن يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبُ إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۖ فَلَا تَكُونَنَّ ظَهِيرٗا لِّلۡكَٰفِرِينَ
86 . Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَا يَصُدُّنَّكَ عَنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بَعۡدَ إِذۡ أُنزِلَتۡ إِلَيۡكَۖ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ
87 . Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۘ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ كُلُّ شَيۡءٍ هَالِكٌ إِلَّا وَجۡهَهُۥۚ لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
88 . Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Al-Qasas
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Institution for Development - Translations’ Index

Translation of the Quran meanings into Luganda by African Institution for Development

close