Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Institution for Development * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Fātir   Ayah:

Faatwir

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ فَاطِرِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ جَاعِلِ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ رُسُلًا أُوْلِيٓ أَجۡنِحَةٖ مَّثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۚ يَزِيدُ فِي ٱلۡخَلۡقِ مَا يَشَآءُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
1 . Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
Arabic explanations of the Qur’an:
مَّا يَفۡتَحِ ٱللَّهُ لِلنَّاسِ مِن رَّحۡمَةٖ فَلَا مُمۡسِكَ لَهَاۖ وَمَا يُمۡسِكۡ فَلَا مُرۡسِلَ لَهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ
2 . Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
Arabic explanations of the Qur’an:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡۚ هَلۡ مِنۡ خَٰلِقٍ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ
3 . Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كُذِّبَتۡ رُسُلٞ مِّن قَبۡلِكَۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ
4 . Bwe bakulimbisa mazima ababaka baalimbisibwa oluberyeberyelwo, era nga bulijjo ewa Katonda ensonga zonna gyezizzibwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِٱللَّهِ ٱلۡغَرُورُ
5 . Abange mmwe abantu mazima endagaano ya Katonda ya mazima, obulamu bwensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibajjanga ku Katonda.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لَكُمۡ عَدُوّٞ فَٱتَّخِذُوهُ عَدُوًّاۚ إِنَّمَا يَدۡعُواْ حِزۡبَهُۥ لِيَكُونُواْ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ
6 . Mazima Sitane mulabe wa mmwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiinakye balyoke babeere mu bantu bo mu muliro Sa-iri.
Arabic explanations of the Qur’an:
ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٌ
7 . Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَفَمَن زُيِّنَ لَهُۥ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ فَرَءَاهُ حَسَنٗاۖ فَإِنَّ ٱللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۖ فَلَا تَذۡهَبۡ نَفۡسُكَ عَلَيۡهِمۡ حَسَرَٰتٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا يَصۡنَعُونَ
8 . Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱللَّهُ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ ٱلرِّيَٰحَ فَتُثِيرُ سَحَابٗا فَسُقۡنَٰهُ إِلَىٰ بَلَدٖ مَّيِّتٖ فَأَحۡيَيۡنَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۚ كَذَٰلِكَ ٱلنُّشُورُ
9 . Katonda yooyo asindika empewo nezitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) netunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno netuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba).
Arabic explanations of the Qur’an:
مَن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡعِزَّةَ فَلِلَّهِ ٱلۡعِزَّةُ جَمِيعًاۚ إِلَيۡهِ يَصۡعَدُ ٱلۡكَلِمُ ٱلطَّيِّبُ وَٱلۡعَمَلُ ٱلصَّٰلِحُ يَرۡفَعُهُۥۚ وَٱلَّذِينَ يَمۡكُرُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٞۖ وَمَكۡرُ أُوْلَٰٓئِكَ هُوَ يَبُورُ
10 . Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱللَّهُ خَلَقَكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ جَعَلَكُمۡ أَزۡوَٰجٗاۚ وَمَا تَحۡمِلُ مِنۡ أُنثَىٰ وَلَا تَضَعُ إِلَّا بِعِلۡمِهِۦۚ وَمَا يُعَمَّرُ مِن مُّعَمَّرٖ وَلَا يُنقَصُ مِنۡ عُمُرِهِۦٓ إِلَّا فِي كِتَٰبٍۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ
11 . Era Katonda yabakola (mmwe) nga abajja mu ttaka oluvanyuma abajja mu mazzi agazaala oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡبَحۡرَانِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ سَآئِغٞ شَرَابُهُۥ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞۖ وَمِن كُلّٖ تَأۡكُلُونَ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُونَ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ فِيهِ مَوَاخِرَ لِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
12 . Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza.
Arabic explanations of the Qur’an:
يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡ لَهُ ٱلۡمُلۡكُۚ وَٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ مَا يَمۡلِكُونَ مِن قِطۡمِيرٍ
13 . Ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere oyo nno ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe nannyini buyinza bwonna ate abo bemusaba abatali yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِن تَدۡعُوهُمۡ لَا يَسۡمَعُواْ دُعَآءَكُمۡ وَلَوۡ سَمِعُواْ مَا ٱسۡتَجَابُواْ لَكُمۡۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكۡفُرُونَ بِشِرۡكِكُمۡۚ وَلَا يُنَبِّئُكَ مِثۡلُ خَبِيرٖ
14 . Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwa mmwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga oyo amanyi ekintu nemunda waakyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ أَنتُمُ ٱلۡفُقَرَآءُ إِلَى ٱللَّهِۖ وَٱللَّهُ هُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ
15 . Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Katonda ate yye Katonda y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ وَيَأۡتِ بِخَلۡقٖ جَدِيدٖ
16 . (N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubajjawo naaleeta ebitonde ebipya.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ بِعَزِيزٖ
17 . Era ekyo ku Katonda si kinene.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰۚ وَإِن تَدۡعُ مُثۡقَلَةٌ إِلَىٰ حِمۡلِهَا لَا يُحۡمَلۡ مِنۡهُ شَيۡءٞ وَلَوۡ كَانَ ذَا قُرۡبَىٰٓۗ إِنَّمَا تُنذِرُ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَمَن تَزَكَّىٰ فَإِنَّمَا يَتَزَكَّىٰ لِنَفۡسِهِۦۚ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ
18 . Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ
19 . Era muzibe n'alaba tebenkana.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَا ٱلظُّلُمَٰتُ وَلَا ٱلنُّورُ
20 . Wadde ebizikiza n'ekitangaala.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَا ٱلظِّلُّ وَلَا ٱلۡحَرُورُ
21 . Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَحۡيَآءُ وَلَا ٱلۡأَمۡوَٰتُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُسۡمِعُ مَن يَشَآءُۖ وَمَآ أَنتَ بِمُسۡمِعٖ مَّن فِي ٱلۡقُبُورِ
22 . Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنۡ أَنتَ إِلَّا نَذِيرٌ
23 . Ggwe toli okugyako okuba omutiisa.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّآ أَرۡسَلۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ بَشِيرٗا وَنَذِيرٗاۚ وَإِن مِّنۡ أُمَّةٍ إِلَّا خَلَا فِيهَا نَذِيرٞ
24 . Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu bonna okugyako nga omutiisa yabatuukamu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَبِٱلزُّبُرِ وَبِٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُنِيرِ
25 . Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza.
Arabic explanations of the Qur’an:
ثُمَّ أَخَذۡتُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ
26 . Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦ ثَمَرَٰتٖ مُّخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهَاۚ وَمِنَ ٱلۡجِبَالِ جُدَدُۢ بِيضٞ وَحُمۡرٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهَا وَغَرَابِيبُ سُودٞ
27 . Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمِنَ ٱلنَّاسِ وَٱلدَّوَآبِّ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ مُخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ كَذَٰلِكَۗ إِنَّمَا يَخۡشَى ٱللَّهَ مِنۡ عِبَادِهِ ٱلۡعُلَمَٰٓؤُاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ غَفُورٌ
28 . Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ ٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ كِتَٰبَ ٱللَّهِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ يَرۡجُونَ تِجَٰرَةٗ لَّن تَبُورَ
29 . Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba.
Arabic explanations of the Qur’an:
لِيُوَفِّيَهُمۡ أُجُورَهُمۡ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ غَفُورٞ شَكُورٞ
30 . Ate alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungibye anti mazima yye, musonyiyi nnyo omwebaza.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ هُوَ ٱلۡحَقُّ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِعِبَادِهِۦ لَخَبِيرُۢ بَصِيرٞ
31 . N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
ثُمَّ أَوۡرَثۡنَا ٱلۡكِتَٰبَ ٱلَّذِينَ ٱصۡطَفَيۡنَا مِنۡ عِبَادِنَاۖ فَمِنۡهُمۡ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ وَمِنۡهُم مُّقۡتَصِدٞ وَمِنۡهُمۡ سَابِقُۢ بِٱلۡخَيۡرَٰتِ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡكَبِيرُ
32 . Oluvanyuma twasikiza ekitabo abo be twalondoba mu baddu baffe olwo nno nemuba mu bo eyeeyisa obubi yennyini nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Katonda obwo nno bwe bulungi obusuffu.
Arabic explanations of the Qur’an:
جَنَّٰتُ عَدۡنٖ يَدۡخُلُونَهَا يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَلُؤۡلُؤٗاۖ وَلِبَاسُهُمۡ فِيهَا حَرِيرٞ
33 . (Nga) z'ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne Luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya Sirik.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالُواْ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِيٓ أَذۡهَبَ عَنَّا ٱلۡحَزَنَۖ إِنَّ رَبَّنَا لَغَفُورٞ شَكُورٌ
34 . Era ne bagamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama omulabirizi waffe musonyiyi nnyo era yeebaza.
Arabic explanations of the Qur’an:
ٱلَّذِيٓ أَحَلَّنَا دَارَ ٱلۡمُقَامَةِ مِن فَضۡلِهِۦ لَا يَمَسُّنَا فِيهَا نَصَبٞ وَلَا يَمَسُّنَا فِيهَا لُغُوبٞ
35 . Oyo atutadde mu nyumba ey'olubeerera nga kugaba kwe ennaku ssi yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukwako kukoowa.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ نَارُ جَهَنَّمَ لَا يُقۡضَىٰ عَلَيۡهِمۡ فَيَمُوتُواْ وَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُم مِّنۡ عَذَابِهَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي كُلَّ كَفُورٖ
36 . Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَهُمۡ يَصۡطَرِخُونَ فِيهَا رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا غَيۡرَ ٱلَّذِي كُنَّا نَعۡمَلُۚ أَوَلَمۡ نُعَمِّرۡكُم مَّا يَتَذَكَّرُ فِيهِ مَن تَذَكَّرَ وَجَآءَكُمُ ٱلنَّذِيرُۖ فَذُوقُواْ فَمَا لِلظَّٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٍ
37 . Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ ٱللَّهَ عَٰلِمُ غَيۡبِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ
38 . Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi mazima ddala yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
Arabic explanations of the Qur’an:
هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَكُمۡ خَلَٰٓئِفَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ فَمَن كَفَرَ فَعَلَيۡهِ كُفۡرُهُۥۖ وَلَا يَزِيدُ ٱلۡكَٰفِرِينَ كُفۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ إِلَّا مَقۡتٗاۖ وَلَا يَزِيدُ ٱلۡكَٰفِرِينَ كُفۡرُهُمۡ إِلَّا خَسَارٗا
39 . Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo akaafuwala obukaafiiri bwe bukosa yye, era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okukyayibwa era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera okugyako okufaafaaganirwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ شُرَكَآءَكُمُ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُواْ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ لَهُمۡ شِرۡكٞ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ أَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ كِتَٰبٗا فَهُمۡ عَلَىٰ بَيِّنَتٖ مِّنۡهُۚ بَلۡ إِن يَعِدُ ٱلظَّٰلِمُونَ بَعۡضُهُم بَعۡضًا إِلَّا غُرُورًا
40 . Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okugyako ebigayaaza.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ إِنَّ ٱللَّهَ يُمۡسِكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ أَن تَزُولَاۚ وَلَئِن زَالَتَآ إِنۡ أَمۡسَكَهُمَا مِنۡ أَحَدٖ مِّنۢ بَعۡدِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ حَلِيمًا غَفُورٗا
41 . Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe anti mazima yye wa kisa musonyiyi nnyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَئِن جَآءَهُمۡ نَذِيرٞ لَّيَكُونُنَّ أَهۡدَىٰ مِنۡ إِحۡدَى ٱلۡأُمَمِۖ فَلَمَّا جَآءَهُمۡ نَذِيرٞ مَّا زَادَهُمۡ إِلَّا نُفُورًا
42 . (Abakaafiiri be Makkah) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulungamu okusinga (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammad) bwe yabajjira tekyabongera okugyako okwesamba (omubaka).
Arabic explanations of the Qur’an:
ٱسۡتِكۡبَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَكۡرَ ٱلسَّيِّيِٕۚ وَلَا يَحِيقُ ٱلۡمَكۡرُ ٱلسَّيِّئُ إِلَّا بِأَهۡلِهِۦۚ فَهَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا سُنَّتَ ٱلۡأَوَّلِينَۚ فَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ ٱللَّهِ تَبۡدِيلٗاۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ ٱللَّهِ تَحۡوِيلًا
43 . (Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَكَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُعۡجِزَهُۥ مِن شَيۡءٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَلِيمٗا قَدِيرٗا
44 . Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَوۡ يُؤَاخِذُ ٱللَّهُ ٱلنَّاسَ بِمَا كَسَبُواْ مَا تَرَكَ عَلَىٰ ظَهۡرِهَا مِن دَآبَّةٖ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗىۖ فَإِذَا جَآءَ أَجَلُهُمۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِعِبَادِهِۦ بَصِيرَۢا
45 . Singa Katonda yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko za bwe bwe zituuka (buli muntu nazzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Katonda bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddube.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Fātir
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Institution for Development - Translations’ Index

Translation of the Quran meanings into Luganda by African Institution for Development

close