Check out the new design

Traducción de los significados del Sagrado Corán - Traducción al idioma luganda - Fundación Africana para el Desarrollo * - Índice de traducciones


Traducción de significados Capítulo: Ar-Ra'd   Versículo:
لَهُۥ دَعۡوَةُ ٱلۡحَقِّۚ وَٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ لَا يَسۡتَجِيبُونَ لَهُم بِشَيۡءٍ إِلَّا كَبَٰسِطِ كَفَّيۡهِ إِلَى ٱلۡمَآءِ لِيَبۡلُغَ فَاهُ وَمَا هُوَ بِبَٰلِغِهِۦۚ وَمَا دُعَآءُ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ
14. Okusaba okutuufu kwolekezebwa yye, bo abo abasaba atali yye tebasobola kubaanukula ku kintu kyonna, okugyako okuba nga omuntu agolodde ebibatu bye eri amazzi agaleete eri omumwa gwe naye nga tasobola kugatuuka. Era tekuli okusaba kwa bakaafiiri okugyako okubeera mu bubuze.
Las Exégesis Árabes:
وَلِلَّهِۤ يَسۡجُدُۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ طَوۡعٗا وَكَرۡهٗا وَظِلَٰلُهُم بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ۩
15. Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bivunnamira Katonda mu kwagala oba mu kukakibwa nga n'ebisikirize bya byo ku makya n'olweggulo (bikola bityo).
Las Exégesis Árabes:
قُلۡ مَن رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ قُلِ ٱللَّهُۚ قُلۡ أَفَٱتَّخَذۡتُم مِّن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ لَا يَمۡلِكُونَ لِأَنفُسِهِمۡ نَفۡعٗا وَلَا ضَرّٗاۚ قُلۡ هَلۡ يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ أَمۡ هَلۡ تَسۡتَوِي ٱلظُّلُمَٰتُ وَٱلنُّورُۗ أَمۡ جَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ خَلَقُواْ كَخَلۡقِهِۦ فَتَشَٰبَهَ ٱلۡخَلۡقُ عَلَيۡهِمۡۚ قُلِ ٱللَّهُ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖ وَهُوَ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّٰرُ
16. Gamba (Ggwe Muhammad) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Katonda ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Katonda bamussaako ababeezi nga batonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Katonda ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa.
Las Exégesis Árabes:
أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَسَالَتۡ أَوۡدِيَةُۢ بِقَدَرِهَا فَٱحۡتَمَلَ ٱلسَّيۡلُ زَبَدٗا رَّابِيٗاۖ وَمِمَّا يُوقِدُونَ عَلَيۡهِ فِي ٱلنَّارِ ٱبۡتِغَآءَ حِلۡيَةٍ أَوۡ مَتَٰعٖ زَبَدٞ مِّثۡلُهُۥۚ كَذَٰلِكَ يَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡحَقَّ وَٱلۡبَٰطِلَۚ فَأَمَّا ٱلزَّبَدُ فَيَذۡهَبُ جُفَآءٗۖ وَأَمَّا مَا يَنفَعُ ٱلنَّاسَ فَيَمۡكُثُ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ كَذَٰلِكَ يَضۡرِبُ ٱللَّهُ ٱلۡأَمۡثَالَ
17. Atonnyesa enkuba okuva waggulu, amazzi negakulukutira mu nsenyi okusinziira ku bunene bwazo, Mukama naaleeta ebisejja nga bibimbye ate ekifaananyi ekirala ebintu bye bakumako omuliro olw'okwagala okufunamu eby'okwewunda oba eby'okukozesa, mu kukola ekyo namwo muvaamu ebisejja nga biri, bwa tyo Katonda bwa lambika amazima n'obwonoonefu wabula byo ebisejja bifuuka kasasiro, wabula kyo ekigasa abantu kisigala mu ttaka. Bwa tyo Katonda bwakuba ebifaananyi.
Las Exégesis Árabes:
لِلَّذِينَ ٱسۡتَجَابُواْ لِرَبِّهِمُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَٱلَّذِينَ لَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُۥ لَوۡ أَنَّ لَهُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا وَمِثۡلَهُۥ مَعَهُۥ لَٱفۡتَدَوۡاْ بِهِۦٓۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ سُوٓءُ ٱلۡحِسَابِ وَمَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ
18. Abo abanaayanukula Mukama omulabirizi waabwe balina okufuna obulungi, naye abo abataamwanukule ebiri mu nsi yonna ne bwe byandibadde bya bwe nga balina n'ebirala ebibifaanana awamu nabiri bandyenunudde nabyo (ku lunaku lw'enkomerero), abonno balifuna okubalibwa okubi era omuliro Jahannama bwe buliba obuddo bwa bwe era bwe buliri obusinga obubi.
Las Exégesis Árabes:
 
Traducción de significados Capítulo: Ar-Ra'd
Índice de Capítulos Número de página
 
Traducción de los significados del Sagrado Corán - Traducción al idioma luganda - Fundación Africana para el Desarrollo - Índice de traducciones

Emitido por la Fundación Africana para el Desarrollo.

Cerrar