next

Al-Mujadala

prev

external-link copy
1 : 58

قَدۡ سَمِعَ ٱللَّهُ قَوۡلَ ٱلَّتِي تُجَٰدِلُكَ فِي زَوۡجِهَا وَتَشۡتَكِيٓ إِلَى ٱللَّهِ وَٱللَّهُ يَسۡمَعُ تَحَاوُرَكُمَآۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٌ

Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba. info
التفاسير: |

external-link copy
2 : 58

ٱلَّذِينَ يُظَٰهِرُونَ مِنكُم مِّن نِّسَآئِهِم مَّا هُنَّ أُمَّهَٰتِهِمۡۖ إِنۡ أُمَّهَٰتُهُمۡ إِلَّا ٱلَّٰٓـِٔي وَلَدۡنَهُمۡۚ وَإِنَّهُمۡ لَيَقُولُونَ مُنكَرٗا مِّنَ ٱلۡقَوۡلِ وَزُورٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٞ

Abo bonna mu mmwe abagamba bakyala baabwe nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyabwe (abo be bakigamba) tebabangako ba maama baabwe. Ba maama baabwe beebo ababazaala. (mu kwogera batyo) mazima bbo boogera ekigambo ekibi. Mu kiseera kye kimu nga kigunje. Wabula mazima ddala Katonda alekera era asonyiwa. info
التفاسير: |

external-link copy
3 : 58

وَٱلَّذِينَ يُظَٰهِرُونَ مِن نِّسَآئِهِمۡ ثُمَّ يَعُودُونَ لِمَا قَالُواْ فَتَحۡرِيرُ رَقَبَةٖ مِّن قَبۡلِ أَن يَتَمَآسَّاۚ ذَٰلِكُمۡ تُوعَظُونَ بِهِۦۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ

Abo bonna abazira bakazi baabwe olw'okulayira nti kubo balinga bannyaabwe ate oluvanyuma nebaddayo eri ekyo kye baali balayiridde (oyo akikola) ateekwa okuta omuddu nga tannaba kuddayo kulabagana namukyalawe. Ekyo nno kyemuteekwa okukola, anti Allah amanyi nnyo byonna byemukola. info
التفاسير: |

external-link copy
4 : 58

فَمَن لَّمۡ يَجِدۡ فَصِيَامُ شَهۡرَيۡنِ مُتَتَابِعَيۡنِ مِن قَبۡلِ أَن يَتَمَآسَّاۖ فَمَن لَّمۡ يَسۡتَطِعۡ فَإِطۡعَامُ سِتِّينَ مِسۡكِينٗاۚ ذَٰلِكَ لِتُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۚ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِۗ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٌ

Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Allah n'omubakawe, ago mateeka ga Allah era bulijjo abawakanya amateeka g'a Allah, n'abawakanya eddiini ya Allah bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير: |

external-link copy
5 : 58

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُحَآدُّونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ كُبِتُواْ كَمَا كُبِتَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ وَقَدۡ أَنزَلۡنَآ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖۚ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٞ مُّهِينٞ

Mazima abo abawakanya Allah n'omubakawe baswavu nga abaabasooka bwe baaswazibwa, ate nga twassa amateeka agannyonnyola (Haraamu ne Halaal) naye abo abagawakanya bajja kutuukibwako ebibonerezo ebigenda okubanyoomesa. info
التفاسير: |

external-link copy
6 : 58

يَوۡمَ يَبۡعَثُهُمُ ٱللَّهُ جَمِيعٗا فَيُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوٓاْۚ أَحۡصَىٰهُ ٱللَّهُ وَنَسُوهُۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ

Olunaku Allah lwalibazuukiza bonna n'ababuulira ebyo byebaakola, Allah yabikunganya n'abikomekkereza. So ng'ate bbo baabyerabira. Bulijjo Allah mujulizi ku buli kintu. info
التفاسير: |
next

Al-Mujadala

prev