next

Al Maedah

prev

1 : 6

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ ٱلظُّلُمَٰتِ وَٱلنُّورَۖ ثُمَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ يَعۡدِلُونَ

Ebitendo byonna ebirungi bya Allah Oyo eyatonda e ggulu omusanvu n'ensi n’assaawo ebizikiza n'ekitangaala, wabula abo abaajeemera Mukama Omulabirizi Waabwe bava ku mazima. info
التفاسير: |

2 : 6

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن طِينٖ ثُمَّ قَضَىٰٓ أَجَلٗاۖ وَأَجَلٞ مُّسَمًّى عِندَهُۥۖ ثُمَّ أَنتُمۡ تَمۡتَرُونَ

Yye yooyo (Allah) eyabatonda nga abaggya mu ttaka, oluvannyuma n'asalawo buli omu mu mmwe ebbanga ly'anaawangaala, ate n'assaawo ebbanga eddala eggere erimanyiddwa Yye Yekka, ensi lw'erikoma. Ate oluvannyuma mmwe mubuusabuusa. info
التفاسير: |

3 : 6

وَهُوَ ٱللَّهُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ يَعۡلَمُ سِرَّكُمۡ وَجَهۡرَكُمۡ وَيَعۡلَمُ مَا تَكۡسِبُونَ

Era Yye, Ye Katonda mu ggulu omusanvu n'ensi, amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanyi byonna bye mukola. info
التفاسير: |

4 : 6

وَمَا تَأۡتِيهِم مِّنۡ ءَايَةٖ مِّنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِمۡ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ

Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama Omulabirizi Waabwe kabajjira okuggyako nga bakaawukanako. info
التفاسير: |

5 : 6

فَقَدۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَسَوۡفَ يَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo ebituufu ebikwata kw'ebyo bye baajeejanga biribajjira. info
التفاسير: |

6 : 6

أَلَمۡ يَرَوۡاْ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٖ مَّكَّنَّٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَا لَمۡ نُمَكِّن لَّكُمۡ وَأَرۡسَلۡنَا ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡهِم مِّدۡرَارٗا وَجَعَلۡنَا ٱلۡأَنۡهَٰرَ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمۡ فَأَهۡلَكۡنَٰهُم بِذُنُوبِهِمۡ وَأَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قَرۡنًا ءَاخَرِينَ

Abaffe tebalaba emirembe emeka agyaliwo olubereberye lwabwe gye twazikiriza! Twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gye twawa mmwe okwegazaanyizaamu, ne tubawa egggulu okuba nga libafukirira enkuba mu bungi, ne tussaawo emigga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olw'ebibi byabwe ne tuleeta oluvannyuma lwabwe omulembe gw'abantu abalala. info
التفاسير: |

7 : 6

وَلَوۡ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ كِتَٰبٗا فِي قِرۡطَاسٖ فَلَمَسُوهُ بِأَيۡدِيهِمۡ لَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ

Singa twassa ku ggwe Ekitabo ekikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaawakanya bandigambye nti, bino temuli okuggyako ddogo lyennyini. info
التفاسير: |

8 : 6

وَقَالُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ مَلَكٞۖ وَلَوۡ أَنزَلۡنَا مَلَكٗا لَّقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ ثُمَّ لَا يُنظَرُونَ

Era ne bagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika atukakasa amazima ge, naye singa twassa Malayika ensonga yandiggweredde awo era ne batalindirizibwa. info
التفاسير: |
next

Al Maedah

prev
:
0:00 0:00