next

Al-Ma'arij

prev

1 : 70

سَأَلَ سَآئِلُۢ بِعَذَابٖ وَاقِعٖ

"Mu ngeri y'okunyomerera" omu kubawakanya Allah" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja. info
التفاسير: |

2 : 70

لِّلۡكَٰفِرِينَ لَيۡسَ لَهُۥ دَافِعٞ

Bituuke kubawakanya Allah nomubaka we nga tewali agenda kubigaana kubatuukako. info
التفاسير: |

3 : 70

مِّنَ ٱللَّهِ ذِي ٱلۡمَعَارِجِ

Nga biva eri Allah nnyini madaala agalinya muggulu. info
التفاسير: |

4 : 70

تَعۡرُجُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ وَٱلرُّوحُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٖ كَانَ مِقۡدَارُهُۥ خَمۡسِينَ أَلۡفَ سَنَةٖ

Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana emyaka emitwalo etaano (ej'okunsi). info
التفاسير: |

5 : 70

فَٱصۡبِرۡ صَبۡرٗا جَمِيلًا

Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulunji. info
التفاسير: |

6 : 70

إِنَّهُمۡ يَرَوۡنَهُۥ بَعِيدٗا

Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala. info
التفاسير: |

7 : 70

وَنَرَىٰهُ قَرِيبٗا

Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi. info
التفاسير: |

8 : 70

يَوۡمَ تَكُونُ ٱلسَّمَآءُ كَٱلۡمُهۡلِ

Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse. info
التفاسير: |

9 : 70

وَتَكُونُ ٱلۡجِبَالُ كَٱلۡعِهۡنِ

Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa. info
التفاسير: |

10 : 70

وَلَا يَسۡـَٔلُ حَمِيمٌ حَمِيمٗا

Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku nga nfe we. info
التفاسير: |
next

Al-Ma'arij

prev
:
0:00 0:00