شماره‌ى صفحه:close

20 : 75

كَلَّا بَلۡ تُحِبُّونَ ٱلۡعَاجِلَةَ

(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu. info
التفاسير: |

21 : 75

وَتَذَرُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ

Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero. info
التفاسير: |

22 : 75

وُجُوهٞ يَوۡمَئِذٖ نَّاضِرَةٌ

Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana. info
التفاسير: |

23 : 75

إِلَىٰ رَبِّهَا نَاظِرَةٞ

Bigenda kutunula kumulezi waabyo. info
التفاسير: |

24 : 75

وَوُجُوهٞ يَوۡمَئِذِۭ بَاسِرَةٞ

Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu. info
التفاسير: |

25 : 75

تَظُنُّ أَن يُفۡعَلَ بِهَا فَاقِرَةٞ

Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi. info
التفاسير: |

26 : 75

كَلَّآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلتَّرَاقِيَ

Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli (mukiseera kyokufa). info
التفاسير: |

27 : 75

وَقِيلَ مَنۡۜ رَاقٖ

Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya. info
التفاسير: |

28 : 75

وَظَنَّ أَنَّهُ ٱلۡفِرَاقُ

Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa. info
التفاسير: |

29 : 75

وَٱلۡتَفَّتِ ٱلسَّاقُ بِٱلسَّاقِ

Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe. info
التفاسير: |

30 : 75

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمَسَاقُ

Eri omulezi wo nga jaali mukutwalibwa akaseera ako. info
التفاسير: |

31 : 75

فَلَا صَدَّقَ وَلَا صَلَّىٰ

Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala. info
التفاسير: |

32 : 75

وَلَٰكِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ

Wabula yalimbisa ebigambo bya Allah nabyesamba. info
التفاسير: |

33 : 75

ثُمَّ ذَهَبَ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ يَتَمَطَّىٰٓ

Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga. info
التفاسير: |

34 : 75

أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰ

(Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi). info
التفاسير: |

35 : 75

ثُمَّ أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰٓ

Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde. info
التفاسير: |

36 : 75

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَن يُتۡرَكَ سُدًى

Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala. info
التفاسير: |

37 : 75

أَلَمۡ يَكُ نُطۡفَةٗ مِّن مَّنِيّٖ يُمۡنَىٰ

Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana. info
التفاسير: |

38 : 75

ثُمَّ كَانَ عَلَقَةٗ فَخَلَقَ فَسَوَّىٰ

Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu. info
التفاسير: |

39 : 75

فَجَعَلَ مِنۡهُ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ

Natuula okutonda okwo kwamitendera ebiri, omusajja n'omukazi. info
التفاسير: |

40 : 75

أَلَيۡسَ ذَٰلِكَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰ

Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu?!. info
التفاسير: |
next

Al-Kiyamah

prev
:
0:00 0:00