next

Al-Infitwar

prev

1 : 82

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنفَطَرَتۡ

Eggulu bwe ririba lyeyasizzaamu. info
التفاسير: |

2 : 82

وَإِذَا ٱلۡكَوَاكِبُ ٱنتَثَرَتۡ

N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana. info
التفاسير: |

3 : 82

وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ فُجِّرَتۡ

N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde. info
التفاسير: |

4 : 82

وَإِذَا ٱلۡقُبُورُ بُعۡثِرَتۡ

Ne Kabbuli (entaana) bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo). info
التفاسير: |

5 : 82

عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّا قَدَّمَتۡ وَأَخَّرَتۡ

Olwo omuntu alimanya ebyo byeyakulembeza okukola ne byeyasembyayo. info
التفاسير: |

6 : 82

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ مَا غَرَّكَ بِرَبِّكَ ٱلۡكَرِيمِ

Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukujja ku muleziwo (Katonda) Omugabi. info
التفاسير: |

7 : 82

ٱلَّذِي خَلَقَكَ فَسَوَّىٰكَ فَعَدَلَكَ

Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya. info
التفاسير: |

8 : 82

فِيٓ أَيِّ صُورَةٖ مَّا شَآءَ رَكَّبَكَ

Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera. info
التفاسير: |

9 : 82

كَلَّا بَلۡ تُكَذِّبُونَ بِٱلدِّينِ

Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero). info
التفاسير: |

10 : 82

وَإِنَّ عَلَيۡكُمۡ لَحَٰفِظِينَ

Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika). info
التفاسير: |

11 : 82

كِرَامٗا كَٰتِبِينَ

Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna byemukola) info
التفاسير: |

12 : 82

يَعۡلَمُونَ مَا تَفۡعَلُونَ

Bamanyi ebyo byonna byemukola. info
التفاسير: |

13 : 82

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٖ

Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera. info
التفاسير: |

14 : 82

وَإِنَّ ٱلۡفُجَّارَ لَفِي جَحِيمٖ

Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu. info
التفاسير: |

15 : 82

يَصۡلَوۡنَهَا يَوۡمَ ٱلدِّينِ

Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero). info
التفاسير: |

16 : 82

وَمَا هُمۡ عَنۡهَا بِغَآئِبِينَ

Tebagenda ku gwebulankanyako. info
التفاسير: |

17 : 82

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

Ki ekikumanyisa olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero). info
التفاسير: |

18 : 82

ثُمَّ مَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ

Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo). info
التفاسير: |

19 : 82

يَوۡمَ لَا تَمۡلِكُ نَفۡسٞ لِّنَفۡسٖ شَيۡـٔٗاۖ وَٱلۡأَمۡرُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ

Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. Era ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka. info
التفاسير: |
next

Al-Infitwar

prev
:
0:00 0:00