prev

Al-A'ala

next

1 : 87

سَبِّحِ ٱسۡمَ رَبِّكَ ٱلۡأَعۡلَى

Tendereza erinnya ly’omuleziwo ow'awaggulu. info
التفاسير: |

2 : 87

ٱلَّذِي خَلَقَ فَسَوَّىٰ

Oyo eyatonda n'atereeza. info
التفاسير: |

3 : 87

وَٱلَّذِي قَدَّرَ فَهَدَىٰ

Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya. info
التفاسير: |

4 : 87

وَٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلۡمَرۡعَىٰ

Oyo ameza omuddo oguliibwa ebisolo. info
التفاسير: |

5 : 87

فَجَعَلَهُۥ غُثَآءً أَحۡوَىٰ

Oluvanyuma agufuula omukalu. info
التفاسير: |

6 : 87

سَنُقۡرِئُكَ فَلَا تَنسَىٰٓ

Tujja kukusomesa (qur'an) obeere nga teweerabira. info
التفاسير: |

7 : 87

إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلۡجَهۡرَ وَمَا يَخۡفَىٰ

Okujjako ebyo Allah by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Mazima Dala yye y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama. info
التفاسير: |

8 : 87

وَنُيَسِّرُكَ لِلۡيُسۡرَىٰ

Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu. info
التفاسير: |

9 : 87

فَذَكِّرۡ إِن نَّفَعَتِ ٱلذِّكۡرَىٰ

Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa. info
التفاسير: |

10 : 87

سَيَذَّكَّرُ مَن يَخۡشَىٰ

Anaaganyulwa oyo atya Allah (Katonda). info
التفاسير: |
prev

Al-A'ala

next
:
0:00 0:00