prev

At-Twarik

next

external-link copy
1 : 86

وَٱلسَّمَآءِ وَٱلطَّارِقِ

Ndayira eggulu ne munyeenye ezirabika ekiro. info
التفاسير: |

external-link copy
2 : 86

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلطَّارِقُ

Naye omanyi emunyeenye ezirabika ekiro kye ki? info
التفاسير: |

external-link copy
3 : 86

ٱلنَّجۡمُ ٱلثَّاقِبُ

Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi. info
التفاسير: |

external-link copy
4 : 86

إِن كُلُّ نَفۡسٖ لَّمَّا عَلَيۡهَا حَافِظٞ

Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika). info
التفاسير: |

external-link copy
5 : 86

فَلۡيَنظُرِ ٱلۡإِنسَٰنُ مِمَّ خُلِقَ

Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu. info
التفاسير: |

external-link copy
6 : 86

خُلِقَ مِن مَّآءٖ دَافِقٖ

Yatondebwa ng’ajjibwa mu mazzi agasammuka mubwangu obwamanyi. info
التفاسير: |

external-link copy
7 : 86

يَخۡرُجُ مِنۢ بَيۡنِ ٱلصُّلۡبِ وَٱلتَّرَآئِبِ

Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi. info
التفاسير: |

external-link copy
8 : 86

إِنَّهُۥ عَلَىٰ رَجۡعِهِۦ لَقَادِرٞ

Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo oluvanyuma lw'okufa. info
التفاسير: |

external-link copy
9 : 86

يَوۡمَ تُبۡلَى ٱلسَّرَآئِرُ

Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa. info
التفاسير: |

external-link copy
10 : 86

فَمَا لَهُۥ مِن قُوَّةٖ وَلَا نَاصِرٖ

Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa. info
التفاسير: |

external-link copy
11 : 86

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلرَّجۡعِ

Era ndayira egulu ewava enkuba etonnya nga eddingana. info
التفاسير: |

external-link copy
12 : 86

وَٱلۡأَرۡضِ ذَاتِ ٱلصَّدۡعِ

Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza ebimera. info
التفاسير: |

external-link copy
13 : 86

إِنَّهُۥ لَقَوۡلٞ فَصۡلٞ

Mazima dala yo (qur'an) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba. info
التفاسير: |

external-link copy
14 : 86

وَمَا هُوَ بِٱلۡهَزۡلِ

Qur'an si ya lusaago. info
التفاسير: |

external-link copy
15 : 86

إِنَّهُمۡ يَكِيدُونَ كَيۡدٗا

Mazima abatakkiriza basala enkwe. info
التفاسير: |

external-link copy
16 : 86

وَأَكِيدُ كَيۡدٗا

Nange nenkola enteekateeka zange (Allah) info
التفاسير: |

external-link copy
17 : 86

فَمَهِّلِ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَمۡهِلۡهُمۡ رُوَيۡدَۢا

Abatakkiriza Allah n'omubaka we byeyajja nabyo balindirize, nange mbawadde akaseera katono. info
التفاسير: |
prev

At-Twarik

next