ترجمه‌ى معانی قرآن کریم - ترجمه‌ى لوگاندا - مؤسسه‌ى توسعه‌ى آفريقا

next

At-Twarik

prev

1 : 86

وَٱلسَّمَآءِ وَٱلطَّارِقِ

Ndayira eggulu n'emmunyeenye erabika ekiro. info
التفاسير: |

2 : 86

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلطَّارِقُ

Naye omanyi emmunyeenye erabika ekiro kye ki? info
التفاسير: |

3 : 86

ٱلنَّجۡمُ ٱلثَّاقِبُ

Y’emmunyeenye eyaka ennyo ekitangaala kyayo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi. info
التفاسير: |

4 : 86

إِن كُلُّ نَفۡسٖ لَّمَّا عَلَيۡهَا حَافِظٞ

Buli muntu yenna aliko abakuumi (Bamalayika). info
التفاسير: |

5 : 86

فَلۡيَنظُرِ ٱلۡإِنسَٰنُ مِمَّ خُلِقَ

Kale nno omuntu yaalibadde atunuulira kye yatondebwamu. info
التفاسير: |

6 : 86

خُلِقَ مِن مَّآءٖ دَافِقٖ

Yatondebwa nga aggyibwa mu mazzi agasammuka mubwangu obw'amaanyi. info
التفاسير: |

7 : 86

يَخۡرُجُ مِنۢ بَيۡنِ ٱلصُّلۡبِ وَٱلتَّرَآئِبِ

Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi. info
التفاسير: |

8 : 86

إِنَّهُۥ عَلَىٰ رَجۡعِهِۦ لَقَادِرٞ

Mazima ddala Oyo (Allah) asobolera ddala okumuzzaawo oluvannyuma lw'okufa. info
التفاسير: |

9 : 86

يَوۡمَ تُبۡلَى ٱلسَّرَآئِرُ

Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa. info
التفاسير: |

10 : 86

فَمَا لَهُۥ مِن قُوَّةٖ وَلَا نَاصِرٖ

Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna wadde omutaasa. info
التفاسير: |

11 : 86

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلرَّجۡعِ

Era ndayira eggulu ewava enkuba etonnya nga eddiŋŋana. info
التفاسير: |

12 : 86

وَٱلۡأَرۡضِ ذَاتِ ٱلصَّدۡعِ

Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza ebimera. info
التفاسير: |

13 : 86

إِنَّهُۥ لَقَوۡلٞ فَصۡلٞ

Mazima dala yo (Kulaani) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba. info
التفاسير: |

14 : 86

وَمَا هُوَ بِٱلۡهَزۡلِ

Kulaani si ya lusaago. info
التفاسير: |

15 : 86

إِنَّهُمۡ يَكِيدُونَ كَيۡدٗا

Mazima abatakkiriza basala enkwe. info
التفاسير: |

16 : 86

وَأَكِيدُ كَيۡدٗا

Nange ( Allah):ne nkola enteekateeka Zange. info
التفاسير: |

17 : 86

فَمَهِّلِ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَمۡهِلۡهُمۡ رُوَيۡدَۢا

Abatakkiriza Allah n'Omubaka We bye yajja nabyo balindirize, nange mbawadde akaseera katono. info
التفاسير: |
next

At-Twarik

prev
:
0:00 0:00