Check out the new design

Terjemahan makna Alquran Alkarim - Terjemahan Berbahasa Oluganda - Yayasan Afrika untuk Pengembangan * - Daftar isi terjemahan


Terjemahan makna Surah: An-Nūr   Ayah:
رِجَالٞ لَّا تُلۡهِيهِمۡ تِجَٰرَةٞ وَلَا بَيۡعٌ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَإِقَامِ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءِ ٱلزَّكَوٰةِ يَخَافُونَ يَوۡمٗا تَتَقَلَّبُ فِيهِ ٱلۡقُلُوبُ وَٱلۡأَبۡصَٰرُ
37 . Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.
Tafsir berbahasa Arab:
لِيَجۡزِيَهُمُ ٱللَّهُ أَحۡسَنَ مَا عَمِلُواْ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضۡلِهِۦۗ وَٱللَّهُ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ
38 . Olwo nno Katonda abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungibye, bulijjo Katonda agabirira oyo gwaba ayagadde awatali kubalirira.
Tafsir berbahasa Arab:
وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَسَرَابِۭ بِقِيعَةٖ يَحۡسَبُهُ ٱلظَّمۡـَٔانُ مَآءً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَهُۥ لَمۡ يَجِدۡهُ شَيۡـٔٗا وَوَجَدَ ٱللَّهَ عِندَهُۥ فَوَفَّىٰهُ حِسَابَهُۥۗ وَٱللَّهُ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ
39 . Bbo abo abaakaafuwala emirimu gya bwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bwatuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Katonda n'amuwa mu bujjuvu okubalibwakwe. Bulijjo Katonda mwangu mu kubala (kwe).
Tafsir berbahasa Arab:
أَوۡ كَظُلُمَٰتٖ فِي بَحۡرٖ لُّجِّيّٖ يَغۡشَىٰهُ مَوۡجٞ مِّن فَوۡقِهِۦ مَوۡجٞ مِّن فَوۡقِهِۦ سَحَابٞۚ ظُلُمَٰتُۢ بَعۡضُهَا فَوۡقَ بَعۡضٍ إِذَآ أَخۡرَجَ يَدَهُۥ لَمۡ يَكَدۡ يَرَىٰهَاۗ وَمَن لَّمۡ يَجۡعَلِ ٱللَّهُ لَهُۥ نُورٗا فَمَا لَهُۥ مِن نُّورٍ
40 . (Oba abaakaafuwala emirimu gya bwe giringa) ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Katonda gwatawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala.
Tafsir berbahasa Arab:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُسَبِّحُ لَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلطَّيۡرُ صَٰٓفَّٰتٖۖ كُلّٞ قَدۡ عَلِمَ صَلَاتَهُۥ وَتَسۡبِيحَهُۥۗ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِمَا يَفۡعَلُونَ
41 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
Tafsir berbahasa Arab:
وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ
42 . Bwa Katonda obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi, era ewa Katonda y'eri obuddo.
Tafsir berbahasa Arab:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُزۡجِي سَحَابٗا ثُمَّ يُؤَلِّفُ بَيۡنَهُۥ ثُمَّ يَجۡعَلُهُۥ رُكَامٗا فَتَرَى ٱلۡوَدۡقَ يَخۡرُجُ مِنۡ خِلَٰلِهِۦ وَيُنَزِّلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن جِبَالٖ فِيهَا مِنۢ بَرَدٖ فَيُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ وَيَصۡرِفُهُۥ عَن مَّن يَشَآءُۖ يَكَادُ سَنَا بَرۡقِهِۦ يَذۡهَبُ بِٱلۡأَبۡصَٰرِ
43 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda atambuza ebire bwamala naabikungaanya wamu oluvanyuma n'abifuula entuumu olwo n'olaba nga enkuba etonnya okuva mu byo era atonnyesa omuzira okuva waggulu mu nsozi (ez'amazzi agakutte ebitole mu bbanga) n'atuusa n'omuzira ku oyo gwaba ayagadde ate n'aguwonya oyo gwaba ayagadde. Ekitangaala ky'e kimyanso kya byo kumpi kizibe amaaso (g'abantu).
Tafsir berbahasa Arab:
 
Terjemahan makna Surah: An-Nūr
Daftar surah Nomor Halaman
 
Terjemahan makna Alquran Alkarim - Terjemahan Berbahasa Oluganda - Yayasan Afrika untuk Pengembangan - Daftar isi terjemahan

Dari Yayasan Afrika untuk Pengembangan.

Tutup