Traduzione dei Significati del Sacro Corano - Traduzione ugandese - African Foundation for Development * - Indice Traduzioni


Traduzione dei significati Sura: An-Naml   Versetto:

Al Namli

طسٓۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡقُرۡءَانِ وَكِتَابٖ مُّبِينٍ
1 . waa Siin, bino bigambo bya Kur’ani era ekitabo ekinnyonnyofu.
Esegesi in lingua araba:
هُدٗى وَبُشۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ
2 . Kya kulungamya era mawulire ga ssanyu eri abakkiriza.
Esegesi in lingua araba:
ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ يُوقِنُونَ
3 . Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka era nga bbo bakakasa olunaku lw'enkomerero.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ زَيَّنَّا لَهُمۡ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَهُمۡ يَعۡمَهُونَ
4 . Mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabalabisiza bulungi emirimu gya bwe, olwo nno bbo ne babulubuuta.
Esegesi in lingua araba:
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَهُمۡ سُوٓءُ ٱلۡعَذَابِ وَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ هُمُ ٱلۡأَخۡسَرُونَ
5 . Abo beebo abatuusibwako e bibonerezo ebizito (ng'okuttibwa) ate nga bbo ku lunaku lw'enkomerero be b'okufaafaaganirwa ennyo.
Esegesi in lingua araba:
وَإِنَّكَ لَتُلَقَّى ٱلۡقُرۡءَانَ مِن لَّدُنۡ حَكِيمٍ عَلِيمٍ
6 . Era mazima ggwe (Muhammad) oweebwa Kur’ani ng'eva (ewa Katonda) mugoba nsonga amanyi ennyo.
Esegesi in lingua araba:
إِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِأَهۡلِهِۦٓ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا سَـَٔاتِيكُم مِّنۡهَا بِخَبَرٍ أَوۡ ءَاتِيكُم بِشِهَابٖ قَبَسٖ لَّعَلَّكُمۡ تَصۡطَلُونَ
7 . Era jjukira (Musa) bwe yagamba ab'omu makage nti mazima nze nengedde omuliro (kanngendeyo) nja kubaleetera okuva we guli e kigambo oba mbaleetere ekitawuliro kibayambe okwota.
Esegesi in lingua araba:
فَلَمَّا جَآءَهَا نُودِيَ أَنۢ بُورِكَ مَن فِي ٱلنَّارِ وَمَنۡ حَوۡلَهَا وَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
8 . Naye bwe yagutuukako yakoowoolwa (naagambibwa) nti wa mukisa oyo ali mu muliro n'oyo ali emabbali waagwo, era yasukkuluma Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
Esegesi in lingua araba:
يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّهُۥٓ أَنَا ٱللَّهُ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ
9 . Owange Musa mazima nze Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
Esegesi in lingua araba:
وَأَلۡقِ عَصَاكَۚ فَلَمَّا رَءَاهَا تَهۡتَزُّ كَأَنَّهَا جَآنّٞ وَلَّىٰ مُدۡبِرٗا وَلَمۡ يُعَقِّبۡۚ يَٰمُوسَىٰ لَا تَخَفۡ إِنِّي لَا يَخَافُ لَدَيَّ ٱلۡمُرۡسَلُونَ
10 . Era suula omuggogwo, bwe yagulaba nga gwenyeenya nga gulinga akasota akatono yakyuka nadduka era nga tayagala kudda, (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange Musa totya mazima nze ababaka tebatya mu maaso gange.
Esegesi in lingua araba:
إِلَّا مَن ظَلَمَ ثُمَّ بَدَّلَ حُسۡنَۢا بَعۡدَ سُوٓءٖ فَإِنِّي غَفُورٞ رَّحِيمٞ
11 . Okugyako oyo aba yeeyisizza obubi mu bantu abalala abatali babaka oluvanyuma obubi n'abuwaanyisaamu obulungi mazima nze ndi musonyiyi nnyo musaasizi.
Esegesi in lingua araba:
وَأَدۡخِلۡ يَدَكَ فِي جَيۡبِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٖۖ فِي تِسۡعِ ءَايَٰتٍ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَقَوۡمِهِۦٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ
12 . (Era Katonda naagamba Musa nti) yingiza omukonogwo mu lugoye lwo gujja kuvaayo nga mweru, so nga si mulwadde (nga ebibiri ebyo, bumu) ku bubonero omwenda bw'otwalira Firaawo n'abantube mazima bbo bantu aboonoonyi.
Esegesi in lingua araba:
فَلَمَّا جَآءَتۡهُمۡ ءَايَٰتُنَا مُبۡصِرَةٗ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٞ مُّبِينٞ
13 . Obubonero bwaffe bwe bwabatuukako nga bulagira ddala amazima baagamba nti lino ddogo eryeyolefu.
Esegesi in lingua araba:
وَجَحَدُواْ بِهَا وَٱسۡتَيۡقَنَتۡهَآ أَنفُسُهُمۡ ظُلۡمٗا وَعُلُوّٗاۚ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُفۡسِدِينَ
14 . Nebabuwakanya mu ngeri y'okweyisa obubi n'okwekuluntaza, so nga emyoyo gya bwe gya bukkiriza, kale nno tunuulira olabe enkomerero ya boonoonyi yali etya.
Esegesi in lingua araba:
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ عِلۡمٗاۖ وَقَالَا ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي فَضَّلَنَا عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّنۡ عِبَادِهِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
15 . Era mazima twawa Dauda ne Sulaiman okumanya era ne bagamba nti atenderezebwa Katonda oyo eyatusukkulumya ku bangi mu baddube abakkiriza.
Esegesi in lingua araba:
وَوَرِثَ سُلَيۡمَٰنُ دَاوُۥدَۖ وَقَالَ يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ عُلِّمۡنَا مَنطِقَ ٱلطَّيۡرِ وَأُوتِينَا مِن كُلِّ شَيۡءٍۖ إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡمُبِينُ
16 . Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu.
Esegesi in lingua araba:
وَحُشِرَ لِسُلَيۡمَٰنَ جُنُودُهُۥ مِنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ وَٱلطَّيۡرِ فَهُمۡ يُوزَعُونَ
17 . Sulaiman naakungirwa eggyerye nga liva mu Majinni n'abantu n'ebinyonyi nga nabo batambulira ku nteekateeka eyabaweebwa.
Esegesi in lingua araba:
حَتَّىٰٓ إِذَآ أَتَوۡاْ عَلَىٰ وَادِ ٱلنَّمۡلِ قَالَتۡ نَمۡلَةٞ يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّمۡلُ ٱدۡخُلُواْ مَسَٰكِنَكُمۡ لَا يَحۡطِمَنَّكُمۡ سُلَيۡمَٰنُ وَجُنُودُهُۥ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ
18 . Okutuusa lwe baatuuka ku lusenyi lw'ensanafu, ensanafu emu kwe kugamba nti abange ba wansanafu muyingire mu bisulo bya mmwe, Sulaiman n'eggyerye tebababetenta nga nabo tebamanyi.
Esegesi in lingua araba:
فَتَبَسَّمَ ضَاحِكٗا مِّن قَوۡلِهَا وَقَالَ رَبِّ أَوۡزِعۡنِيٓ أَنۡ أَشۡكُرَ نِعۡمَتَكَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَٰلِدَيَّ وَأَنۡ أَعۡمَلَ صَٰلِحٗا تَرۡضَىٰهُ وَأَدۡخِلۡنِي بِرَحۡمَتِكَ فِي عِبَادِكَ ٱلصَّٰلِحِينَ
19 . Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, nyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengerabyo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi byosiima era ku lw'okusaasirakwo onnyingize mu baddubo abalongoofu.
Esegesi in lingua araba:
وَتَفَقَّدَ ٱلطَّيۡرَ فَقَالَ مَالِيَ لَآ أَرَى ٱلۡهُدۡهُدَ أَمۡ كَانَ مِنَ ٱلۡغَآئِبِينَ
20 . Era Sulaiman yatunula mu binyonyi naagamba nti lwaki e fulungu siriraba oba liri mu bataliiwo.
Esegesi in lingua araba:
لَأُعَذِّبَنَّهُۥ عَذَابٗا شَدِيدًا أَوۡ لَأَاْذۡبَحَنَّهُۥٓ أَوۡ لَيَأۡتِيَنِّي بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٖ
21 . Nja ku libonereza e bibonerezo ebikakali si nakindi nja ku lisala oba ssi ekyo lindeetere ensonga ennambulukufu.
Esegesi in lingua araba:
فَمَكَثَ غَيۡرَ بَعِيدٖ فَقَالَ أَحَطتُ بِمَا لَمۡ تُحِطۡ بِهِۦ وَجِئۡتُكَ مِن سَبَإِۭ بِنَبَإٖ يَقِينٍ
22 . (E fulungu) lyamala ebbanga eritaali ddene (oluvanyuma nerijja ewa Sulaiman) nerigamba nti nategedde ekintu kyotategeeranga era nkuleetedde okuva e Sabaa amawulire amakakafu.
Esegesi in lingua araba:
إِنِّي وَجَدتُّ ٱمۡرَأَةٗ تَمۡلِكُهُمۡ وَأُوتِيَتۡ مِن كُلِّ شَيۡءٖ وَلَهَا عَرۡشٌ عَظِيمٞ
23 . Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu.
Esegesi in lingua araba:
وَجَدتُّهَا وَقَوۡمَهَا يَسۡجُدُونَ لِلشَّمۡسِ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَصَدَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ فَهُمۡ لَا يَهۡتَدُونَ
24 . Namusanze (yye) n'abantube nga bavunnamira enjuba nebava ku Katonda, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe, olwo nno n'ebagya ku kkubo n'olwekyo bo tebagenda kulungama.
Esegesi in lingua araba:
أَلَّاۤ يَسۡجُدُواْۤ لِلَّهِ ٱلَّذِي يُخۡرِجُ ٱلۡخَبۡءَ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَيَعۡلَمُ مَا تُخۡفُونَ وَمَا تُعۡلِنُونَ
25 . Nebatavunnamira Katonda oyo agyayo ebyekwese mu ggulu omusanvu ne mu nsi era amanyi ebyo bye mukweka ne bye mwolesa.
Esegesi in lingua araba:
ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ۩
26 . Katonda, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.
Esegesi in lingua araba:
۞ قَالَ سَنَنظُرُ أَصَدَقۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ
27 . (Sulaiman) naagamba nti tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba.
Esegesi in lingua araba:
ٱذۡهَب بِّكِتَٰبِي هَٰذَا فَأَلۡقِهۡ إِلَيۡهِمۡ ثُمَّ تَوَلَّ عَنۡهُمۡ فَٱنظُرۡ مَاذَا يَرۡجِعُونَ
28 . Twala ebbaluwa yange eno ogibawe, bwomala baweemu akabanga olabe ki kye baddamu.
Esegesi in lingua araba:
قَالَتۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ إِنِّيٓ أُلۡقِيَ إِلَيَّ كِتَٰبٞ كَرِيمٌ
29 . (Balikiisi) bwe yafuna ebbaluwa naagamba nti abange mmwe abakungu, mazima nze mpeereddwa ebbaluwa ey'ekitiibwa.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّهُۥ مِن سُلَيۡمَٰنَ وَإِنَّهُۥ بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
30 . Mazima yyo eva wa Sulaiman era esoma nti ku lw'elinnya lya Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi omusaasizi ow'ekisa eky'enjawulo.
Esegesi in lingua araba:
أَلَّا تَعۡلُواْ عَلَيَّ وَأۡتُونِي مُسۡلِمِينَ
31 . Temunneekuluntalizaako mujje gyendi nga mukkirizza okugondera Katonda.
Esegesi in lingua araba:
قَالَتۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ أَفۡتُونِي فِيٓ أَمۡرِي مَا كُنتُ قَاطِعَةً أَمۡرًا حَتَّىٰ تَشۡهَدُونِ
32 . (Balikisi) naagamba nti abange mmwe abakungu mumpe ebirowoozo ku nsonga yange eno, sisobola kusalawo nsonga okutuusa lwe mujja gyendi (ne tukyogerako).
Esegesi in lingua araba:
قَالُواْ نَحۡنُ أُوْلُواْ قُوَّةٖ وَأُوْلُواْ بَأۡسٖ شَدِيدٖ وَٱلۡأَمۡرُ إِلَيۡكِ فَٱنظُرِي مَاذَا تَأۡمُرِينَ
33 . Nebagamba nti: ffe tuli b'amaanyi ddala era ffe mu kulwana tuli bayitirivu, naye bbwo obuyinza buli gyoli, laba ki kyolagira.
Esegesi in lingua araba:
قَالَتۡ إِنَّ ٱلۡمُلُوكَ إِذَا دَخَلُواْ قَرۡيَةً أَفۡسَدُوهَا وَجَعَلُوٓاْ أَعِزَّةَ أَهۡلِهَآ أَذِلَّةٗۚ وَكَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ
34 . (Balikisi) naagamba nti: mazima abafuzi bwe bayingira e kitundu (nga bakiwangudde buwanguzi) bakyonoona ne bafuula abantu ab'ekitiibwa mu kyo abanyoomebwa era bwe batyo bwe bakola.
Esegesi in lingua araba:
وَإِنِّي مُرۡسِلَةٌ إِلَيۡهِم بِهَدِيَّةٖ فَنَاظِرَةُۢ بِمَ يَرۡجِعُ ٱلۡمُرۡسَلُونَ
35 . Era mazima nze ngenda kubaweereza ebirabo olwo nno ninde bentumye badda na ki?.
Esegesi in lingua araba:
فَلَمَّا جَآءَ سُلَيۡمَٰنَ قَالَ أَتُمِدُّونَنِ بِمَالٖ فَمَآ ءَاتَىٰنِۦَ ٱللَّهُ خَيۡرٞ مِّمَّآ ءَاتَىٰكُمۚ بَلۡ أَنتُم بِهَدِيَّتِكُمۡ تَفۡرَحُونَ
36 . (Abaatumwa) bwe bajja ewa Sulaiman yagamba nti: munsendasenda ne mmaali (olwo nno mbaleke) ebyo Katonda bye yampa bye birungi okusinga bye yabawa, wabula mmwe musanyuukirira nnyo olw'ebirabo bya mmwe.
Esegesi in lingua araba:
ٱرۡجِعۡ إِلَيۡهِمۡ فَلَنَأۡتِيَنَّهُم بِجُنُودٖ لَّا قِبَلَ لَهُم بِهَا وَلَنُخۡرِجَنَّهُم مِّنۡهَآ أَذِلَّةٗ وَهُمۡ صَٰغِرُونَ
37 . (Sulaiman naagamba) ddayo gye bali (n'ebirabo bya bwe) tugenda kubajjira n'eggye lye batalinaako busobozi, era (ensi eyo) tujja kugibafulumyamu nga ba wansi era nga banyoomebwa.
Esegesi in lingua araba:
قَالَ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ أَيُّكُمۡ يَأۡتِينِي بِعَرۡشِهَا قَبۡلَ أَن يَأۡتُونِي مُسۡلِمِينَ
38 . (Sulaiman) naagamba nti abange mmwe abakungu ani mu mmwe andeetera namulondo ye nga tebannaba kunzijira nga bakkirizza Katonda.
Esegesi in lingua araba:
قَالَ عِفۡرِيتٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن تَقُومَ مِن مَّقَامِكَۖ وَإِنِّي عَلَيۡهِ لَقَوِيٌّ أَمِينٞ
39 . Ejinni ery'amaanyi nerigamba nti, nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifokyo, era mazima nze ku ekyo ndi wa maanyi omwesigwa.
Esegesi in lingua araba:
قَالَ ٱلَّذِي عِندَهُۥ عِلۡمٞ مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن يَرۡتَدَّ إِلَيۡكَ طَرۡفُكَۚ فَلَمَّا رَءَاهُ مُسۡتَقِرًّا عِندَهُۥ قَالَ هَٰذَا مِن فَضۡلِ رَبِّي لِيَبۡلُوَنِيٓ ءَأَشۡكُرُ أَمۡ أَكۡفُرُۖ وَمَن شَكَرَ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ رَبِّي غَنِيّٞ كَرِيمٞ
40 . (Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu kitabo kya (Katonda) naagamba nti, nze nja kugikuleetera nga eriisolyo terinnadda gyoli (nga tonnatemya), bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti, kino kya mu birungi bya Mukama omulabirizi wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza yebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Mukama omulabirizi wange talina kye yeetaaga, mugabi nnyo.
Esegesi in lingua araba:
قَالَ نَكِّرُواْ لَهَا عَرۡشَهَا نَنظُرۡ أَتَهۡتَدِيٓ أَمۡ تَكُونُ مِنَ ٱلَّذِينَ لَا يَهۡتَدُونَ
41 . (Sulaiman) naagamba nti mukyusekyuse nnamulondoye tulabe anaasobola okugimanya oba anaabeera mu batasobola kugimanya.
Esegesi in lingua araba:
فَلَمَّا جَآءَتۡ قِيلَ أَهَٰكَذَا عَرۡشُكِۖ قَالَتۡ كَأَنَّهُۥ هُوَۚ وَأُوتِينَا ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهَا وَكُنَّا مُسۡلِمِينَ
42 . (Balikiisi) bwe yajja naagambibwa nti: eyo ye namulondoyo? naagamba nti mazima eringa yeeyo, (Sulaiman) naagamba nti: twaweebwa okumanya (Katonda) oluberyeberye lw'omukyala ono nga tanajja era tubadde basiraamu.
Esegesi in lingua araba:
وَصَدَّهَا مَا كَانَت تَّعۡبُدُ مِن دُونِ ٱللَّهِۖ إِنَّهَا كَانَتۡ مِن قَوۡمٖ كَٰفِرِينَ
43 . Ekyamugaana (omukyala ono okubeera omusiraamu bye) ebyo bye yali asinza nga alese Katonda ali omu, mazima yye (balikiisi) yali ava mu bantu abakaafiiri.
Esegesi in lingua araba:
قِيلَ لَهَا ٱدۡخُلِي ٱلصَّرۡحَۖ فَلَمَّا رَأَتۡهُ حَسِبَتۡهُ لُجَّةٗ وَكَشَفَتۡ عَن سَاقَيۡهَاۚ قَالَ إِنَّهُۥ صَرۡحٞ مُّمَرَّدٞ مِّن قَوَارِيرَۗ قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي ظَلَمۡتُ نَفۡسِي وَأَسۡلَمۡتُ مَعَ سُلَيۡمَٰنَ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
44 . Naagambibwa nti: yingira olubiri (amatiribona) olwo bwe yalaba olubiri naalulabanga amayengo g'amazzi naabikkula ku ntumbweze zombiriri (olw'okutya amazzi) (Sulaiman) naamugamba nti mazima lwo lubiri (olujja lwa lwo) lwakolebwa mu birawuli nga wansi w'ebirawuli waliyo amazzi, (Balikiisi) naagamba nti Mukama omulabirizi wange, mazima nze mbadde neeyisa bubi (kaakano) nsiramuse nga ngoberera Sulaiman ku lwa Mukama omulabirizi w'ebitonde.
Esegesi in lingua araba:
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰ ثَمُودَ أَخَاهُمۡ صَٰلِحًا أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ فَإِذَا هُمۡ فَرِيقَانِ يَخۡتَصِمُونَ
45 . Era mazima twatuma eri abantu b'ekika kya Thamud muganda waabwe Swaleh nti musinze Katonda ali omu, ekyaddirira abantu abo kwe kubaamu ebibinja bibiri ebikaayagana, (ekya bakkiriza n'abatakkiriza).
Esegesi in lingua araba:
قَالَ يَٰقَوۡمِ لِمَ تَسۡتَعۡجِلُونَ بِٱلسَّيِّئَةِ قَبۡلَ ٱلۡحَسَنَةِۖ لَوۡلَا تَسۡتَغۡفِرُونَ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ
46 . (Swaleh) naagamba nti abange mmwe abantu bange, lwaki musaba Katonda ekibi ng'ate temunnasaba kirungi, kale nno singa musaba Katonda okubasonyiwa mube nga musaasirwa.
Esegesi in lingua araba:
قَالُواْ ٱطَّيَّرۡنَا بِكَ وَبِمَن مَّعَكَۚ قَالَ طَٰٓئِرُكُمۡ عِندَ ٱللَّهِۖ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ تُفۡتَنُونَ
47 . Nebagamba nti tujja kufuna ebizibu ku lulwo ne ku lw'abo abali naawe. (Swaleh) naagamba nti omugabo gwa mmwe mu birungi oba mu bizibu biri eri Katonda, wabula mmwe muli abantu abalabankanyizibwa.
Esegesi in lingua araba:
وَكَانَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ تِسۡعَةُ رَهۡطٖ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ
48 . Mu kibuga kya bwe mwalimu abasajja mwenda nga boonoonyi mu nsi nga tebalongoosa.
Esegesi in lingua araba:
قَالُواْ تَقَاسَمُواْ بِٱللَّهِ لَنُبَيِّتَنَّهُۥ وَأَهۡلَهُۥ ثُمَّ لَنَقُولَنَّ لِوَلِيِّهِۦ مَا شَهِدۡنَا مَهۡلِكَ أَهۡلِهِۦ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ
49 . Nebagamba (bannaabwe) mulayire Katonda nti tujja kumuteega ekiro tumutte n'abantube. (bwe tunaamala okumutta) tujja kugambira ddala eri oyo yenna amulinako obuvunaanyizibwa nti: tetwabaddewo nga omuntu waabwe attibwa era mazima twogera mazima.
Esegesi in lingua araba:
وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا وَمَكَرۡنَا مَكۡرٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ
50 . Ne bakola e nkwe ez'okutta (Swaleh n'abantube) naffe ne tuzaanukula e nkwe ez'okumuwonya nabo nga tebamanyi.
Esegesi in lingua araba:
فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ مَكۡرِهِمۡ أَنَّا دَمَّرۡنَٰهُمۡ وَقَوۡمَهُمۡ أَجۡمَعِينَ
51 . Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna.
Esegesi in lingua araba:
فَتِلۡكَ بُيُوتُهُمۡ خَاوِيَةَۢ بِمَا ظَلَمُوٓاْۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ
52 . Olwo nno amayumba gaabwe gaalekebwa ttayo olw'enneeyisa yaabwe embi, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abantu abamanyi.
Esegesi in lingua araba:
وَأَنجَيۡنَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَكَانُواْ يَتَّقُونَ
53 . Twawonya abo abakkiriza ate nga baali batya Katonda.
Esegesi in lingua araba:
وَلُوطًا إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ أَتَأۡتُونَ ٱلۡفَٰحِشَةَ وَأَنتُمۡ تُبۡصِرُونَ
54 . Era (jjukira omubaka waffe) Luutu bwe yagamba abantube nti: mukola ekikolwa eky'obuwemu nga mulabira ddala!.
Esegesi in lingua araba:
أَئِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلرِّجَالَ شَهۡوَةٗ مِّن دُونِ ٱلنِّسَآءِۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ تَجۡهَلُونَ
55 . Mazima mmwe obwagazi bwa mmwe mubukola ku basajja ne mulekawo abakazi, wabula mmwe muli abantu abakola ebikolwa eby'obubuyabuya.
Esegesi in lingua araba:
۞ فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ أَخۡرِجُوٓاْ ءَالَ لُوطٖ مِّن قَرۡيَتِكُمۡۖ إِنَّهُمۡ أُنَاسٞ يَتَطَهَّرُونَ
56 . Tekwali okwanukula kw'abantube okugyako okugamba obugambi nti, muwanganguse abantu abali ne Luutu nga mu baggya mu kitundu kya mmwe anti mazima bbo bantu abeetwala okuba abatukuvu.
Esegesi in lingua araba:
فَأَنجَيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ إِلَّا ٱمۡرَأَتَهُۥ قَدَّرۡنَٰهَا مِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ
57 . Olwo nno ne tumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe twamugerera (twamulamulira okubeera) mu b'okuzikirira.
Esegesi in lingua araba:
وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرٗاۖ فَسَآءَ مَطَرُ ٱلۡمُنذَرِينَ
58 . Netubafukirira e nkuba, n'eba nkuba mbi nnyo (eyafukirirwa) abantu abaalabubwa.
Esegesi in lingua araba:
قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ وَسَلَٰمٌ عَلَىٰ عِبَادِهِ ٱلَّذِينَ ٱصۡطَفَىٰٓۗ ءَآللَّهُ خَيۡرٌ أَمَّا يُشۡرِكُونَ
59 . (Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti okutenderezebwa okujjuvu kwa Katonda era nti emirembe gibeere ku baddube abo beyawa enkizo (ey'okutuusa obubaka bwe eri abantu), abaffe Katonda omutonzi y'asinga obulungi oba ebyo bye bamugattako!.
Esegesi in lingua araba:
أَمَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَأَنزَلَ لَكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَنۢبَتۡنَا بِهِۦ حَدَآئِقَ ذَاتَ بَهۡجَةٖ مَّا كَانَ لَكُمۡ أَن تُنۢبِتُواْ شَجَرَهَآۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ بَلۡ هُمۡ قَوۡمٞ يَعۡدِلُونَ
60 . Abaffe ani yatonda eggulu n'ensi, era n'abatonyeseza okuva waggulu amazzi, ne tumeza nago amalimiro agalabika obulungi, tekibangako mu mikono gyamwe okumeza emiti gyago. Ate oluvanyuma lw'ekyo wabaawo watya ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, wabula (ekibakozesa ekyo) lwa kuba nti bo bantu abenkanya Katonda n'ebintu ebirala.
Esegesi in lingua araba:
أَمَّن جَعَلَ ٱلۡأَرۡضَ قَرَارٗا وَجَعَلَ خِلَٰلَهَآ أَنۡهَٰرٗا وَجَعَلَ لَهَا رَوَٰسِيَ وَجَعَلَ بَيۡنَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ حَاجِزًاۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ
61 . Abaffe ani oyo eyassaawo ensi nga nteefu naagissaamu e migga, naagiwa ensozi (nga nkondo) n'assa wakati w'ennyanja e bbiri (ey'omunnyu ne etali) ekyayawula (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! wabula (ekibakozesa ekyo) lwakuba nti abasinga obungi mu bo tebamanyi.
Esegesi in lingua araba:
أَمَّن يُجِيبُ ٱلۡمُضۡطَرَّ إِذَا دَعَاهُ وَيَكۡشِفُ ٱلسُّوٓءَ وَيَجۡعَلُكُمۡ خُلَفَآءَ ٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ
62 . Abaffe ani oyo ayanukula ali mu buzibu bwaba amusabye, era naggyawo akabi, era naabafuula abasigire mu nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! mujjukira kitono.
Esegesi in lingua araba:
أَمَّن يَهۡدِيكُمۡ فِي ظُلُمَٰتِ ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَمَن يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦٓۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ تَعَٰلَى ٱللَّهُ عَمَّا يُشۡرِكُونَ
63 . Abaffe ani oyo abalaga ekkubo mu bizikiza by'olukalu ne nnyanja era ani oyo asindika e mpewo nga zireeta essanyu (e nkuba) nga liva mu mikono gy'okusaasirakwe (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda!, Katonda musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.
Esegesi in lingua araba:
أَمَّن يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ وَمَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۗ أَءِلَٰهٞ مَّعَ ٱللَّهِۚ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
64 . Abaffe ani oyo atandikawo e bitonde ate nga agenda kubizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) era ani abagabirira (mmwe) okuva waggulu ne ku nsi (ate oluvanyuma lw'ekyo) wasobola okubaawo ekisinzibwa kyonna nga kigattibwa ku Katonda! bagambe nti muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga muli ba mazima.
Esegesi in lingua araba:
قُل لَّا يَعۡلَمُ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ ٱلۡغَيۡبَ إِلَّا ٱللَّهُۚ وَمَا يَشۡعُرُونَ أَيَّانَ يُبۡعَثُونَ
65 . Bagambe nti abali mu ggulu omusanvu n'ensi tewali amanyi byekusifu okugyako Katonda, (era n'olwekyo) tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa.
Esegesi in lingua araba:
بَلِ ٱدَّٰرَكَ عِلۡمُهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ مِّنۡهَاۖ بَلۡ هُم مِّنۡهَا عَمُونَ
66 . Wabula (ekibuuzo kiri nti) okumanya kwa bwe kwamalayo byonna okutuusa ku lunaku lw'enkomerero (olwo nno babe nga bakubuuza okuzuukira kulibaawo ddi) wabula (ekituufu kiri nti) bo ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero bali mu kubuusabuusa, wabula (si ekyo kyokka) bo bamuzibe ku bikwata ku lunaku olwo.
Esegesi in lingua araba:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا تُرَٰبٗا وَءَابَآؤُنَآ أَئِنَّا لَمُخۡرَجُونَ
67 . Abo abaakaafuwala bagamba nti bwe tulimala okufuuka ettaka ne bakadde baffe ate tulijjibwayo.
Esegesi in lingua araba:
لَقَدۡ وُعِدۡنَا هَٰذَا نَحۡنُ وَءَابَآؤُنَا مِن قَبۡلُ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ
68 . Mazima ffe ne bakadde baffe okuva edda kino kizze kitulagaanyisibwa (nga tewali kibaawo, n'olwekyo) bino tebiri okugyako nfumo z'abaakulembera.
Esegesi in lingua araba:
قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ
69 . Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe ngeriki enkomerero ya boonoonyi bwe yali.
Esegesi in lingua araba:
وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَلَا تَكُن فِي ضَيۡقٖ مِّمَّا يَمۡكُرُونَ
70 . Tonakuwala ku lwabwe era towulira bubi olw'enkwe ze basala.
Esegesi in lingua araba:
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
71 . Era bagamba nti endagaano eyo erituuka ddi bwe muba nga mwogera mazima.
Esegesi in lingua araba:
قُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ رَدِفَ لَكُم بَعۡضُ ٱلَّذِي تَسۡتَعۡجِلُونَ
72 . Bagambe nti, si kulwa nga musemberedde ebimu ku ebyo bye musaba okubatuukako mu bwangu.
Esegesi in lingua araba:
وَإِنَّ رَبَّكَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَشۡكُرُونَ
73 . Era mazima Mukama omulabiriziwo ajjudde ebirungi byagabira abantu, naye abasinga obungi mu bo tebeebaza.
Esegesi in lingua araba:
وَإِنَّ رَبَّكَ لَيَعۡلَمُ مَا تُكِنُّ صُدُورُهُمۡ وَمَا يُعۡلِنُونَ
74 . Era mazima Mukama omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bya bwe bye bikweka n'ebyo bye bakola mu lwatu.
Esegesi in lingua araba:
وَمَا مِنۡ غَآئِبَةٖ فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٍ
75 . Era tewali kyekusifu kyonna mu ggulu ne munsi wabula nga nakyo Kiri mu kitabo ekiraga buli kimu.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ يَقُصُّ عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ أَكۡثَرَ ٱلَّذِي هُمۡ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ
76 . Mazima Kur’ani eno etegeeza abaana ba Israil ebisinga obungi ebyo bye baawukanamu.
Esegesi in lingua araba:
وَإِنَّهُۥ لَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ
77 . Era mazima yyo bulungamu na kusaasira eri abakkiriza.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُم بِحُكۡمِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ
78 . Era Mukama omulabiriziwo alitaawulula wakati wa bwe nga abalamula, era yye ye nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.
Esegesi in lingua araba:
فَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۖ إِنَّكَ عَلَى ٱلۡحَقِّ ٱلۡمُبِينِ
79 . N'olwekyo (ggwe Muhammad) weekwate ku Katonda, mazima ggwe oli ku mazima ameeyolefu.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ
80 . (Awamu n'ekyo) mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza ba kiggala okukoowoola, kasita bakyuka nebakubayo amabega.
Esegesi in lingua araba:
وَمَآ أَنتَ بِهَٰدِي ٱلۡعُمۡيِ عَن ضَلَٰلَتِهِمۡۖ إِن تُسۡمِعُ إِلَّا مَن يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُم مُّسۡلِمُونَ
81 . Era ggwe tosobola kulungamya ba muzibe noobaggya ku bubuze bwa bwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe era abo be beewaayo ewa Katonda.
Esegesi in lingua araba:
۞ وَإِذَا وَقَعَ ٱلۡقَوۡلُ عَلَيۡهِمۡ أَخۡرَجۡنَا لَهُمۡ دَآبَّةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ تُكَلِّمُهُمۡ أَنَّ ٱلنَّاسَ كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا لَا يُوقِنُونَ
82 . Ekigambo bwe kiribagwaako tugenda kubaggyirayo ensolo okuva mu ttaka eyogere nabo, anti mazima abantu baali tebakakasa bigambo byaffe.
Esegesi in lingua araba:
وَيَوۡمَ نَحۡشُرُ مِن كُلِّ أُمَّةٖ فَوۡجٗا مِّمَّن يُكَذِّبُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُمۡ يُوزَعُونَ
83 . Era babuulire olunaku lwe tulikungaanya mu buli kibiina kya bantu akabinja mu abo abalimbisa ebigambo byaffe, nabo nno nga bawalulwa mu miteeko.
Esegesi in lingua araba:
حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُو قَالَ أَكَذَّبۡتُم بِـَٔايَٰتِي وَلَمۡ تُحِيطُواْ بِهَا عِلۡمًا أَمَّاذَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ
84 . Okutuusa nga bazze (mu maaso ga Katonda) aligamba nti: mwalimbisa ebigambo byange so ng'ate temwabimanya mu bujjuvu bwabyo, kaakati mwakoleranga kuki?.
Esegesi in lingua araba:
وَوَقَعَ ٱلۡقَوۡلُ عَلَيۡهِم بِمَا ظَلَمُواْ فَهُمۡ لَا يَنطِقُونَ
85 . Olwo ekigambo (eky'okubonerezebwa) ne kibakakataako (olw'ebyo bye beeyisaamu obubi ne kiba nti tebagenda kwatula.
Esegesi in lingua araba:
أَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ لِيَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ
86 . Abaffe tebalaba nti mazima ffe twateekawo ekiro babe nga bakiwummuliramu, era (ne tuteekawo) obudde obw'emisana nga butangaala (babe nga bakoleramu emirimu egibayimirizaawo) mazima mu ekyo mulimu o bubonero eri abantu abakkiriza.
Esegesi in lingua araba:
وَيَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِ فَفَزِعَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۚ وَكُلٌّ أَتَوۡهُ دَٰخِرِينَ
87 . Era (babuulire) olunaku engombe lwe lifuuyibwa, alitya oyo yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi okugyako oyo Katonda gwaliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomwa.
Esegesi in lingua araba:
وَتَرَى ٱلۡجِبَالَ تَحۡسَبُهَا جَامِدَةٗ وَهِيَ تَمُرُّ مَرَّ ٱلسَّحَابِۚ صُنۡعَ ٱللَّهِ ٱلَّذِيٓ أَتۡقَنَ كُلَّ شَيۡءٍۚ إِنَّهُۥ خَبِيرُۢ بِمَا تَفۡعَلُونَ
88 . Oliraba ensozi ze waalirowoozezza nti ziyimiridde ziriba zidduka ng'okudduka kw'ebire, okwo kwe kukola kwa Katonda oyo eyakola buli kintu mu nkola e singa okuba eya waggulu, mazima yye amanyidde ddala ebyo bye mukola.
Esegesi in lingua araba:
مَن جَآءَ بِٱلۡحَسَنَةِ فَلَهُۥ خَيۡرٞ مِّنۡهَا وَهُم مِّن فَزَعٖ يَوۡمَئِذٍ ءَامِنُونَ
89 . Oyo yenna alijja n'ekirungi agenda kuweebwa ekirungi ekikisingako, era bbo baliba mirembe ku ntiisa y'olunaku olwo.
Esegesi in lingua araba:
وَمَن جَآءَ بِٱلسَّيِّئَةِ فَكُبَّتۡ وُجُوهُهُمۡ فِي ٱلنَّارِ هَلۡ تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ
90 . N'oyo alijja n'ekibi ebyenyi byabwe bigenda kuvumbikibwa mu muliro, abaffe mulisasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّمَآ أُمِرۡتُ أَنۡ أَعۡبُدَ رَبَّ هَٰذِهِ ٱلۡبَلۡدَةِ ٱلَّذِي حَرَّمَهَا وَلَهُۥ كُلُّ شَيۡءٖۖ وَأُمِرۡتُ أَنۡ أَكُونَ مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ
91 . Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima nalagirwa okuba nga nsinza Mukama omulabirizi w'ekibuga kino (Makkah) oyo eyakifuula e ky'emizizo era buli kintu kyonna kikye era nnalagirwa okubeera mu beewa ewa Katonda.
Esegesi in lingua araba:
وَأَنۡ أَتۡلُوَاْ ٱلۡقُرۡءَانَۖ فَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهۡتَدِي لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن ضَلَّ فَقُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ
92 . (Era nnalagirwa) okuba nga nsoma Kur’ani, kale nno oyo yenna alungama alungama ku lulwe, ate oyo abula, bagambe nti mazima nze ndi wa mu batiisa.
Esegesi in lingua araba:
وَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ سَيُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ فَتَعۡرِفُونَهَاۚ وَمَا رَبُّكَ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
93 . Era gamba nti buli kitendo kyonna kya Mukama Katonda ajja kubalaga obubonerobwe muli bumanya (ng'ate tebukyabagasa) Mukama omulabiriziwo tabangako atafaayo ku ebyo bye mukola.
Esegesi in lingua araba:
 
Traduzione dei significati Sura: An-Naml
Indice delle Sure Numero di pagina
 
Traduzione dei Significati del Sacro Corano - Traduzione ugandese - African Foundation for Development - Indice Traduzioni

Traduzione dei significati del Nobile Corano in lingua ugandese, a cura del team della African Foundation for Development.

Chiudi