Traduzione dei Significati del Sacro Corano - Traduzione ugandese - African Foundation for Development * - Indice Traduzioni


Traduzione dei significati Sura: Luqmân   Versetto:

Lukman

الٓمٓ
1 . Alif Laam Miim
Esegesi in lingua araba:
تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡحَكِيمِ
2 . Ebyo bigambo eby'ekitabo ekijjudde amagezi.
Esegesi in lingua araba:
هُدٗى وَرَحۡمَةٗ لِّلۡمُحۡسِنِينَ
3 . Nga bulungamu era kusaasira eri abalongoosa.
Esegesi in lingua araba:
ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ يُوقِنُونَ
4 . Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka, nabo nga bakakasa olunaku lw'enkomerero.
Esegesi in lingua araba:
أُوْلَٰٓئِكَ عَلَىٰ هُدٗى مِّن رَّبِّهِمۡۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ
5 . Abo bali ku bulungamu okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe era abo bbo be b'okwesiima.
Esegesi in lingua araba:
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَشۡتَرِي لَهۡوَ ٱلۡحَدِيثِ لِيُضِلَّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَيَتَّخِذَهَا هُزُوًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ
6 . Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku kkubo lya Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga ebigambo (bya Katonda) abifuula bya lusaago, abo nno balina e bibonerezo ebinyoomesa.
Esegesi in lingua araba:
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا وَلَّىٰ مُسۡتَكۡبِرٗا كَأَن لَّمۡ يَسۡمَعۡهَا كَأَنَّ فِيٓ أُذُنَيۡهِ وَقۡرٗاۖ فَبَشِّرۡهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٍ
7 . Ebigambo byaffe bwe biba bimusomeddwa akyuka nga yeekuza, n'aba nga atabiwulidde amatuuge negaba nga agalimu envumbo, kale musanyuse n'ebibonerezo ebiruma ennyo.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّٰتُ ٱلنَّعِيمِ
8 . Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezijjudde e byengera.
Esegesi in lingua araba:
خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٗاۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ
9 . Baakutuula muzo obugenderevu, nga eyo ye ndagaano ya Katonda ey'amazima, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
Esegesi in lingua araba:
خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ بِغَيۡرِ عَمَدٖ تَرَوۡنَهَاۖ وَأَلۡقَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِكُمۡ وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَآبَّةٖۚ وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجٖ كَرِيمٍ
10 . Yatonda eggulu omusanvu awatali mpagi zemulaba, ate nassa mu nsi ensozi ennywevu ereme kubayuuza, ate n'asaasaanya mu yo, buli kika kya kitambula, era netussa okuva waggulu amazzi ne tumeza mu yo mu buli mitindo ebiri ebiri (ebimera) eby'omugaso omusuffu.
Esegesi in lingua araba:
هَٰذَا خَلۡقُ ٱللَّهِ فَأَرُونِي مَاذَا خَلَقَ ٱلَّذِينَ مِن دُونِهِۦۚ بَلِ ٱلظَّٰلِمُونَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
11 . Okwo kwe kutonda kwa Katonda, kale mundage abo abatali yye bye batonda. Wabula (ekituufu kiri nti) abeeyisa obubi bali mu bubuze obweyolefu.
Esegesi in lingua araba:
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا لُقۡمَٰنَ ٱلۡحِكۡمَةَ أَنِ ٱشۡكُرۡ لِلَّهِۚ وَمَن يَشۡكُرۡ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٞ
12 . Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo.
Esegesi in lingua araba:
وَإِذۡ قَالَ لُقۡمَٰنُ لِٱبۡنِهِۦ وَهُوَ يَعِظُهُۥ يَٰبُنَيَّ لَا تُشۡرِكۡ بِٱللَّهِۖ إِنَّ ٱلشِّرۡكَ لَظُلۡمٌ عَظِيمٞ
13 . Era jjukira Lukman bwe yagamba Mutabaniwe bw eyali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Katonda ekintu ekirala mazima okugatta ku Katonda ekintu ekirala kwe kweyisa obubi okubi ennyo.
Esegesi in lingua araba:
وَوَصَّيۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ بِوَٰلِدَيۡهِ حَمَلَتۡهُ أُمُّهُۥ وَهۡنًا عَلَىٰ وَهۡنٖ وَفِصَٰلُهُۥ فِي عَامَيۡنِ أَنِ ٱشۡكُرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيۡكَ إِلَيَّ ٱلۡمَصِيرُ
14 . Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti neebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo.
Esegesi in lingua araba:
وَإِن جَٰهَدَاكَ عَلَىٰٓ أَن تُشۡرِكَ بِي مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٞ فَلَا تُطِعۡهُمَاۖ وَصَاحِبۡهُمَا فِي ٱلدُّنۡيَا مَعۡرُوفٗاۖ وَٱتَّبِعۡ سَبِيلَ مَنۡ أَنَابَ إِلَيَّۚ ثُمَّ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ
15 . Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvanyuma gyendi yeeri obuddo bwa mmwe olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga.
Esegesi in lingua araba:
يَٰبُنَيَّ إِنَّهَآ إِن تَكُ مِثۡقَالَ حَبَّةٖ مِّنۡ خَرۡدَلٖ فَتَكُن فِي صَخۡرَةٍ أَوۡ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ أَوۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَأۡتِ بِهَا ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٞ
16 . Owange Mutabani wange mazima kyo (e kikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bwempeke ya Khardali, keebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba e nsi, Katonda agenda kukireeta (asasule e yakikola) mazima Katonda amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo.
Esegesi in lingua araba:
يَٰبُنَيَّ أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ وَأۡمُرۡ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَٱنۡهَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَآ أَصَابَكَۖ إِنَّ ذَٰلِكَ مِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ
17 . Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu.
Esegesi in lingua araba:
وَلَا تُصَعِّرۡ خَدَّكَ لِلنَّاسِ وَلَا تَمۡشِ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَحًاۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ مُخۡتَالٖ فَخُورٖ
18 . Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Katonda tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize.
Esegesi in lingua araba:
وَٱقۡصِدۡ فِي مَشۡيِكَ وَٱغۡضُضۡ مِن صَوۡتِكَۚ إِنَّ أَنكَرَ ٱلۡأَصۡوَٰتِ لَصَوۡتُ ٱلۡحَمِيرِ
19 . Pima entambulayo (tosaayirira ate totambula nga nawolovu) kakkanya e ddoboozilyo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi.
Esegesi in lingua araba:
أَلَمۡ تَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَأَسۡبَغَ عَلَيۡكُمۡ نِعَمَهُۥ ظَٰهِرَةٗ وَبَاطِنَةٗۗ وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ
20 . Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo.
Esegesi in lingua araba:
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱتَّبِعُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ قَالُواْ بَلۡ نَتَّبِعُ مَا وَجَدۡنَا عَلَيۡهِ ءَابَآءَنَآۚ أَوَلَوۡ كَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ يَدۡعُوهُمۡ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ
21 . Bwe baba bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa bagamba nti nedda tugoberera ebyo bye twasangako bakadde baffe, naye abaffe (balemera ku ekyo) newaakubadde Sitane ebakoowoola kudda eri omuliro Sairi (bamala gagoberera).
Esegesi in lingua araba:
۞ وَمَن يُسۡلِمۡ وَجۡهَهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِ وَهُوَ مُحۡسِنٞ فَقَدِ ٱسۡتَمۡسَكَ بِٱلۡعُرۡوَةِ ٱلۡوُثۡقَىٰۗ وَإِلَى ٱللَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ
22 . Yye, omuntu awaayo ekyenyikye ewa Katonda era nga mulongoosa, mazima aba yeekutte ku muguwa omunywevu era ewa Katonda yeeri enkomerero y'ebigambo.
Esegesi in lingua araba:
وَمَن كَفَرَ فَلَا يَحۡزُنكَ كُفۡرُهُۥٓۚ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ فَنُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ
23 . Oyo yenna akaafuwala, okukaafuwalakwe tekukunakuwaza gye tuli yeeri obuddo bwabwe, olwo nno tulibategeeza bye baakola. Mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
Esegesi in lingua araba:
نُمَتِّعُهُمۡ قَلِيلٗا ثُمَّ نَضۡطَرُّهُمۡ إِلَىٰ عَذَابٍ غَلِيظٖ
24 . Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito.
Esegesi in lingua araba:
وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ
25 . Singa obadde obabuzizza nti: ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Katonda. Wabula abasinga obungi ku bo tebamanyi.
Esegesi in lingua araba:
لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ
26 . Bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Katonda yye y'atalina kye yetaaga (era) atenderezebwa.
Esegesi in lingua araba:
وَلَوۡ أَنَّمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن شَجَرَةٍ أَقۡلَٰمٞ وَٱلۡبَحۡرُ يَمُدُّهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦ سَبۡعَةُ أَبۡحُرٖ مَّا نَفِدَتۡ كَلِمَٰتُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
27 . Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
Esegesi in lingua araba:
مَّا خَلۡقُكُمۡ وَلَا بَعۡثُكُمۡ إِلَّا كَنَفۡسٖ وَٰحِدَةٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٌ
28 . Okutondebwa kwa mmwe n'okuzuukira kwa mmwe tekuli okugyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Katonda awulira nnyo alabira ddala.
Esegesi in lingua araba:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِيٓ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى وَأَنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ
29 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu budde obw'emisana, ate naayingiza obudde obw'emisana mu kiro era naagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kigenda kudduka okutuusa ku kiseera ekigere, era mazima Katonda amanyidde ddala bye mukola.
Esegesi in lingua araba:
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِ ٱلۡبَٰطِلُ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ
30 . Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa.
Esegesi in lingua araba:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِنِعۡمَتِ ٱللَّهِ لِيُرِيَكُم مِّنۡ ءَايَٰتِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ
31 . Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza.
Esegesi in lingua araba:
وَإِذَا غَشِيَهُم مَّوۡجٞ كَٱلظُّلَلِ دَعَوُاْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ فَلَمَّا نَجَّىٰهُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ فَمِنۡهُم مُّقۡتَصِدٞۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا كُلُّ خَتَّارٖ كَفُورٖ
32 . (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri.
Esegesi in lingua araba:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمۡ وَٱخۡشَوۡاْ يَوۡمٗا لَّا يَجۡزِي وَالِدٌ عَن وَلَدِهِۦ وَلَا مَوۡلُودٌ هُوَ جَازٍ عَن وَالِدِهِۦ شَيۡـًٔاۚ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِٱللَّهِ ٱلۡغَرُورُ
33 . Abange mmwe abantu mutye Mukama omulabirizi wa mmwe era mutye olunaku omuzadde lwataligasa mwanawe wadde omwana okuba nti yye y'aligasa mukaddewe ekintu kyonna, mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kale nno obulamu bw'ensi tebubabulankanyanga era ebirabankanya tebibaggyanga ku Katonda.
Esegesi in lingua araba:
إِنَّ ٱللَّهَ عِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلسَّاعَةِ وَيُنَزِّلُ ٱلۡغَيۡثَ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلۡأَرۡحَامِۖ وَمَا تَدۡرِي نَفۡسٞ مَّاذَا تَكۡسِبُ غَدٗاۖ وَمَا تَدۡرِي نَفۡسُۢ بِأَيِّ أَرۡضٖ تَمُوتُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٌ خَبِيرُۢ
34 . Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo.
Esegesi in lingua araba:
 
Traduzione dei significati Sura: Luqmân
Indice delle Sure Numero di pagina
 
Traduzione dei Significati del Sacro Corano - Traduzione ugandese - African Foundation for Development - Indice Traduzioni

Traduzione dei significati del Nobile Corano in lingua ugandese, a cura del team della African Foundation for Development.

Chiudi