prev

Al A’raf

next

1 : 7

الٓمٓصٓ

Alif Laam Miim Swaad info
التفاسير: |

2 : 7

كِتَٰبٌ أُنزِلَ إِلَيۡكَ فَلَا يَكُن فِي صَدۡرِكَ حَرَجٞ مِّنۡهُ لِتُنذِرَ بِهِۦ وَذِكۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ

Kino Kitabo ekyassibwa gy'oli, tekisaanye kukuleetera nkenyera, obatiise nakyo era nga kya kwebuulirira eri Abakkiriza. info
التفاسير: |

3 : 7

ٱتَّبِعُواْ مَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُم مِّن رَّبِّكُمۡ وَلَا تَتَّبِعُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَۗ قَلِيلٗا مَّا تَذَكَّرُونَ

Mugoberere ebyo ebyassibwa gye muli nga biva ewa Mukama Omulabirizi Wammwe, naye temugobereranga abalala, wabula mujjukira kitono. info
التفاسير: |

4 : 7

وَكَم مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَا فَجَآءَهَا بَأۡسُنَا بَيَٰتًا أَوۡ هُمۡ قَآئِلُونَ

Ebitundu bimeka bye twazikiriza! Ebibonerezo Byaffe ne bibatuukako ekiro, nga beebasse oba ne bibatuukako emisana nga bawumuddeko. info
التفاسير: |

5 : 7

فَمَا كَانَ دَعۡوَىٰهُمۡ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَآ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ

Ebibonerezo Byaffe bwe byabajjira tebaalina kyakwogera okuggyako okugamba nti, mazima ddala tubadde tweyisa bubi. info
التفاسير: |

6 : 7

فَلَنَسۡـَٔلَنَّ ٱلَّذِينَ أُرۡسِلَ إِلَيۡهِمۡ وَلَنَسۡـَٔلَنَّ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

Tugenda kubuuliza ddala abo abaatumirwa era nga bwe tugenda okubuuliza ddala abaatumwa. info
التفاسير: |

7 : 7

فَلَنَقُصَّنَّ عَلَيۡهِم بِعِلۡمٖۖ وَمَا كُنَّا غَآئِبِينَ

Tugenda kubattottolerera ddala olw'okumanya (Kwaffe), anti tetubulangawo. info
التفاسير: |

8 : 7

وَٱلۡوَزۡنُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّۚ فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

Okupima ku Lunaku olwo kugenda kubeera kwa bwenkanya. Oyo yenna aliba n'ebipimo bye ne bizitowa, abo nno be bagenda okuba abawanguzi. info
التفاسير: |

9 : 7

وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُم بِمَا كَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَظۡلِمُونَ

Ate oyo yenna aliba n'ebipimwa bye ne biwewuka abo nno beebo abalifiiriza emyoyo gyabwe okusinziira ku ngeri gye beeyisangamu obubi ku bikwata ku Bigambo Byaffe. info
التفاسير: |

10 : 7

وَلَقَدۡ مَكَّنَّٰكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلۡنَا لَكُمۡ فِيهَا مَعَٰيِشَۗ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ

Mazima twabawa obuyinza ku nsi ne tugibateeramu ebibabeezaawo (wabula) musiima kitono. info
التفاسير: |

11 : 7

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَٰكُمۡ ثُمَّ صَوَّرۡنَٰكُمۡ ثُمَّ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ لَمۡ يَكُن مِّنَ ٱلسَّٰجِدِينَ

Era mazima twabatonda mmwe, oluvannyuma twabawa ebifaananyi byammwe, oluvanyuma ne tugamba Bamalayika nti: muvunnamire Adamu, ne bavunnama okuggyako Ibuliisu (Sitaane) teyali mu baavunnama. info
التفاسير: |
prev

Al A’raf

next
:
0:00 0:00