Check out the new design

വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ * - വിവർത്തനങ്ങളുടെ സൂചിക


പരിഭാഷ അദ്ധ്യായം: റഅ്ദ്   ആയത്ത്:
۞ مَّثَلُ ٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ أُكُلُهَا دَآئِمٞ وَظِلُّهَاۚ تِلۡكَ عُقۡبَى ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْۚ وَّعُقۡبَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ٱلنَّارُ
35. Ekifaananyi kye jjana eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda (efaanana bweti) emigga gikulukutira wansi waayo, eby'okulya byamu bya lubeerera n'ekisiikirize kyamu bwe kityo, eyo y'enkomerero yaabo abatya Katonda so nga enkomerero ya bakaafiiri muliro.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَفۡرَحُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَۖ وَمِنَ ٱلۡأَحۡزَابِ مَن يُنكِرُ بَعۡضَهُۥۚ قُلۡ إِنَّمَآ أُمِرۡتُ أَنۡ أَعۡبُدَ ٱللَّهَ وَلَآ أُشۡرِكَ بِهِۦٓۚ إِلَيۡهِ أَدۡعُواْ وَإِلَيۡهِ مَـَٔابِ
36. N'abo be twawa ekitabo basanyuka olw'ekyo ekyassibwa gyoli ate mu bibiina byabwe (ebimu) mulimu abawakanya ebimu ku bye watumwa nabyo, bagambe nti nalagirwa okuba nga nsinza Katonda era mbe nga simugattako kintu kyonna, nkowoola abantu okudda gyali era gyali yeeri obuddo bwange.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ حُكۡمًا عَرَبِيّٗاۚ وَلَئِنِ ٱتَّبَعۡتَ أَهۡوَآءَهُم بَعۡدَ مَا جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَكَ مِنَ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا وَاقٖ
37. Era bwe tutyo bwe twassa Kur’ani nga esalawo ku buli kintu nga eri mu luwarabu, singa ogoberera okwagala kwa bwe oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, tolina mukuumi wadde omutaasa ku Katonda.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلٗا مِّن قَبۡلِكَ وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَذُرِّيَّةٗۚ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأۡتِيَ بِـَٔايَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ لِكُلِّ أَجَلٖ كِتَابٞ
38. Mazima twatuma ababaka bangi oluberyeberyelwo, netubawa abakyala n'ezadde, tewali Mubaka yenna yali asobola kuleeta kyamagero kyonna okugyako kulwa kukkiriza kwa Katonda. Buli ntuuko eba mpandiike ewa Katonda.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
يَمۡحُواْ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُ وَيُثۡبِتُۖ وَعِندَهُۥٓ أُمُّ ٱلۡكِتَٰبِ
39. Katonda asangulawo kyaba ayagadde, ate ebirala naabireka nga bwe yabisalawo, ekitabo ekikulu (Llawuhul – Mahfuzu) ekiwandiikibwamu ebintu byonna yakyesigaliza.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَإِن مَّا نُرِيَنَّكَ بَعۡضَ ٱلَّذِي نَعِدُهُمۡ أَوۡ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُ وَعَلَيۡنَا ٱلۡحِسَابُ
40. Oba singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tukulagaanyisa oba netukutuusa ku ntuukoyo (nga tobirabye, byonna kye kimu) ggwe kyoteekwa okukola kwe kubatuusaako obubaka, kwo okubala kuli ku ffe.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا نَأۡتِي ٱلۡأَرۡضَ نَنقُصُهَا مِنۡ أَطۡرَافِهَاۚ وَٱللَّهُ يَحۡكُمُ لَا مُعَقِّبَ لِحُكۡمِهِۦۚ وَهُوَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ
41. Abaffe tebalaba nti mazima ffe mpolampola tugenda tukendeeza ensi nga tutandikira gy'ekoma, kiri nti Katonda yasalawo tewali agobereza kigambo ku kusalawo kwe, era nga ye mwangu mu kubala.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَقَدۡ مَكَرَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَلِلَّهِ ٱلۡمَكۡرُ جَمِيعٗاۖ يَعۡلَمُ مَا تَكۡسِبُ كُلُّ نَفۡسٖۗ وَسَيَعۡلَمُ ٱلۡكُفَّٰرُ لِمَنۡ عُقۡبَى ٱلدَّارِ
42. Mazima abo abaabakulembera bakola enkwe naye nga enkwe zonna ziggwera eri Katonda, amanyi buli kyonna omuntu kyakola, abakaafiiri bagenda kumanya nti enkomerero ennungi eriba yaani.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
 
പരിഭാഷ അദ്ധ്യായം: റഅ്ദ്
സൂറത്തുകളുടെ സൂചിക പേജ് നമ്പർ
 
വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ - വിവർത്തനങ്ങളുടെ സൂചിക

ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷനിൽ നിന്ന് പ്രസിദ്ധീകരിച്ചത്.

അടക്കുക