Check out the new design

വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ * - വിവർത്തനങ്ങളുടെ സൂചിക


പരിഭാഷ അദ്ധ്യായം: ഇസ്റാഅ്   ആയത്ത്:
۞ قُلۡ كُونُواْ حِجَارَةً أَوۡ حَدِيدًا
50 . Gamba nti kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa).
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
أَوۡ خَلۡقٗا مِّمَّا يَكۡبُرُ فِي صُدُورِكُمۡۚ فَسَيَقُولُونَ مَن يُعِيدُنَاۖ قُلِ ٱلَّذِي فَطَرَكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةٖۚ فَسَيُنۡغِضُونَ إِلَيۡكَ رُءُوسَهُمۡ وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هُوَۖ قُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَكُونَ قَرِيبٗا
51 . Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwa mmwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo! Bagambe nti oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
يَوۡمَ يَدۡعُوكُمۡ فَتَسۡتَجِيبُونَ بِحَمۡدِهِۦ وَتَظُنُّونَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗا
52 . (Kigenda kubaawo) ku lunaku lwalibakoowoola nemwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okugyako akaseera katono.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَقُل لِّعِبَادِي يَقُولُواْ ٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ يَنزَغُ بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٗا مُّبِينٗا
53 . Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitane atabula wakati wa bwe anti mazima Sitane mulabe wa muntu ow'olwatu.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِكُمۡۖ إِن يَشَأۡ يَرۡحَمۡكُمۡ أَوۡ إِن يَشَأۡ يُعَذِّبۡكُمۡۚ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ وَكِيلٗا
54 . Katonda wa mmwe y'asinga okubamanya, bwayagala abasaasira, oba bwaba ayagadde ababonereza era tetukutumanga kuba nga ggwe okola ku nsonga zaabwe.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَرَبُّكَ أَعۡلَمُ بِمَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَلَقَدۡ فَضَّلۡنَا بَعۡضَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ عَلَىٰ بَعۡضٖۖ وَءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ زَبُورٗا
55 . Era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya abo abali mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima twawa ba Nabbi abamu enkizo ku bannaabwe, era twawa (Nabbi) Dauda Zaburi.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
قُلِ ٱدۡعُواْ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُم مِّن دُونِهِۦ فَلَا يَمۡلِكُونَ كَشۡفَ ٱلضُّرِّ عَنكُمۡ وَلَا تَحۡوِيلًا
56 . Bagambe nti kale musabe abo bemulowooza nti ba katonda nemuva ku ye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ يَبۡتَغُونَ إِلَىٰ رَبِّهِمُ ٱلۡوَسِيلَةَ أَيُّهُمۡ أَقۡرَبُ وَيَرۡجُونَ رَحۡمَتَهُۥ وَيَخَافُونَ عَذَابَهُۥٓۚ إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ كَانَ مَحۡذُورٗا
57 . Abo bebasaba nabo banoonya ekkubo eribatuusa ewa Mukama omulabirizi waabwe, (kaakati) ku bonna ani ow'okumpi? Era baagala okusaasirakwe era batya ebibonerezobye mazima ebibonerezo bya Mukama omulabiriziwo biteekwa okwewalibwa.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
وَإِن مِّن قَرۡيَةٍ إِلَّا نَحۡنُ مُهۡلِكُوهَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَوۡ مُعَذِّبُوهَا عَذَابٗا شَدِيدٗاۚ كَانَ ذَٰلِكَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَسۡطُورٗا
58 . Tewali kitundu kyonna (ku nsi) okugyako okuba nga tugenda kukisanyaawo nga olunaku lw'okuzuukira terunnatuuka oba tugenda kukibonereza ebibonerezo ebikakali. Ekyo kyawandiikibwa dda mu kitabo.
അറബി ഖുർആൻ വിവരണങ്ങൾ:
 
പരിഭാഷ അദ്ധ്യായം: ഇസ്റാഅ്
സൂറത്തുകളുടെ സൂചിക പേജ് നമ്പർ
 
വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ - വിവർത്തനങ്ങളുടെ സൂചിക

ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷനിൽ നിന്ന് പ്രസിദ്ധീകരിച്ചത്.

അടക്കുക