വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

prev

Saba-e

next

1 : 34

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ

Ebitendo byonna bya Allah, Nnannyini w'ebyo, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era Ebitendo byonna bibye ku nkomerero era Yye Ye Mugobansonga amanyi ennyo. info
التفاسير: |

2 : 34

يَعۡلَمُ مَا يَلِجُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا يَخۡرُجُ مِنۡهَا وَمَا يَنزِلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا يَعۡرُجُ فِيهَاۚ وَهُوَ ٱلرَّحِيمُ ٱلۡغَفُورُ

Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mulyo, era Yye Ye Musaasizi Omusonyiyi. info
التفاسير: |

3 : 34

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَا تَأۡتِينَا ٱلسَّاعَةُۖ قُلۡ بَلَىٰ وَرَبِّي لَتَأۡتِيَنَّكُمۡ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِۖ لَا يَعۡزُبُ عَنۡهُ مِثۡقَالُ ذَرَّةٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَآ أَصۡغَرُ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡبَرُ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ

Abo abaawakanya baagamba nti Enkomerero tegenda kutujjira. Bagambe nti: Nedda ndayidde Mukama Omulabirizi Wange (Enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama Omulabirizi Wange) Omumanyi W'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako ka kabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kw'ako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okuggyako nga kiri mu Kitabo ekinnyonnyofu. info
التفاسير: |

4 : 34

لِّيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ

(Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okulungi. info
التفاسير: |

5 : 34

وَٱلَّذِينَ سَعَوۡ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمٞ

Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa Ebigambo Byaffe, abo balina ebibonerezo ebirumya olw'ebyonoono (byabwe). info
التفاسير: |

6 : 34

وَيَرَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ هُوَ ٱلۡحَقَّ وَيَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ

Bo abo abaaweebwa okumanya ebyassibwa gy'oli okuva ewa Mukama Omulabirizi Wo balaba nga ge mazima era nga birunngamya eri Ekkubo lya Nnantakubwakumukono Atenderezebwa. info
التفاسير: |

7 : 34

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ هَلۡ نَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ رَجُلٖ يُنَبِّئُكُمۡ إِذَا مُزِّقۡتُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍ إِنَّكُمۡ لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍ

Abo abaawakanya (mu kujereegerera) baagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya. info
التفاسير: |
prev

Saba-e

next
:
0:00 0:00