Check out the new design

د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ * - د ژباړو فهرست (لړلیک)


د معناګانو ژباړه سورت: کهف   آیت:
وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لِلنَّاسِ مِن كُلِّ مَثَلٖۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ أَكۡثَرَ شَيۡءٖ جَدَلٗا
54 . Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kur’ani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi mazima omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka.
عربي تفسیرونه:
وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ وَيَسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّهُمۡ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمۡ سُنَّةُ ٱلۡأَوَّلِينَ أَوۡ يَأۡتِيَهُمُ ٱلۡعَذَابُ قُبُلٗا
55 . Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama omulabirizi waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu.
عربي تفسیرونه:
وَمَا نُرۡسِلُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ إِلَّا مُبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَۚ وَيُجَٰدِلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ لِيُدۡحِضُواْ بِهِ ٱلۡحَقَّۖ وَٱتَّخَذُوٓاْ ءَايَٰتِي وَمَآ أُنذِرُواْ هُزُوٗا
56 . Era tetwatuma babaka okugyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaakaafuwala bawakana mu bukyamu nga bagenderera okugyawo nabwo amazima, ebigambo byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo nebabifuula eby'olusaago.
عربي تفسیرونه:
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ فَأَعۡرَضَ عَنۡهَا وَنَسِيَ مَا قَدَّمَتۡ يَدَاهُۚ إِنَّا جَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۖ وَإِن تَدۡعُهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ فَلَن يَهۡتَدُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا
57 . Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo.
عربي تفسیرونه:
وَرَبُّكَ ٱلۡغَفُورُ ذُو ٱلرَّحۡمَةِۖ لَوۡ يُؤَاخِذُهُم بِمَا كَسَبُواْ لَعَجَّلَ لَهُمُ ٱلۡعَذَابَۚ بَل لَّهُم مَّوۡعِدٞ لَّن يَجِدُواْ مِن دُونِهِۦ مَوۡئِلٗا
58 . Ne Mukama omulabiriziwo omusonyiyi ennyo nannyini kusaasira, singa abadde waakuvunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona.
عربي تفسیرونه:
وَتِلۡكَ ٱلۡقُرَىٰٓ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ لَمَّا ظَلَمُواْ وَجَعَلۡنَا لِمَهۡلِكِهِم مَّوۡعِدٗا
59 . Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu bamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwa bwe twakuwa ekiseera kwe mwe kwalina okutuukira.
عربي تفسیرونه:
وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِفَتَىٰهُ لَآ أَبۡرَحُ حَتَّىٰٓ أَبۡلُغَ مَجۡمَعَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ أَوۡ أَمۡضِيَ حُقُبٗا
60 . Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale).
عربي تفسیرونه:
فَلَمَّا بَلَغَا مَجۡمَعَ بَيۡنِهِمَا نَسِيَا حُوتَهُمَا فَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ سَرَبٗا
61 . Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa.
عربي تفسیرونه:
 
د معناګانو ژباړه سورت: کهف
د سورتونو فهرست (لړلیک) د مخ نمبر
 
د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ - د ژباړو فهرست (لړلیک)

د افریقا پراختیایي بنسټ لخوا خپور شوی دی.

بندول