Check out the new design

د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ * - د ژباړو فهرست (لړلیک)


د معناګانو ژباړه سورت: فرقان   آیت:
وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا
56 . Era tetwakutuma okugyako nga oli omusanyusa era omutiisa.
عربي تفسیرونه:
قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍ إِلَّا مَن شَآءَ أَن يَتَّخِذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلٗا
57 . Gamba nti: (kino kye nkola) sikibasabaako mpeera (era sirina kye njagala) okugyako oyo asalawo okweteerawo ekkubo erimutwala eri Mukama omulabiriziwe.
عربي تفسیرونه:
وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡحَيِّ ٱلَّذِي لَا يَمُوتُ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِهِۦۚ وَكَفَىٰ بِهِۦ بِذُنُوبِ عِبَادِهِۦ خَبِيرًا
58 . Era weekwate ku mulamu oyo atafa, era otendereze ebitendobye. Kimala okuba nti yye amanyidde ddala ebyonoono bya baddube.
عربي تفسیرونه:
ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَسۡـَٔلۡ بِهِۦ خَبِيرٗا
59 . Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga oluvanyuma naatereera ku Arishi (Katonda) omusaasizi ow'ekisa ekingi (bwoba oyagala okumumanya) buuza abakenkufu ku bimukwatako.
عربي تفسیرونه:
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱسۡجُدُواْۤ لِلرَّحۡمَٰنِ قَالُواْ وَمَا ٱلرَّحۡمَٰنُ أَنَسۡجُدُ لِمَا تَأۡمُرُنَا وَزَادَهُمۡ نُفُورٗا۩
60 . (Abakaafiiri) bwe bagambibwa nti muvunnamire omusaasizi ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti omusaasizi ow'ekisa ekingi oyo yaani! Tumale gavunnamira oyo gwotulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini).
عربي تفسیرونه:
تَبَارَكَ ٱلَّذِي جَعَلَ فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَجَعَلَ فِيهَا سِرَٰجٗا وَقَمَرٗا مُّنِيرٗا
61 . Musukkulumu oyo eyassa mu ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era nassaamu ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala.
عربي تفسیرونه:
وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ خِلۡفَةٗ لِّمَنۡ أَرَادَ أَن يَذَّكَّرَ أَوۡ أَرَادَ شُكُورٗا
62 . Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza.
عربي تفسیرونه:
وَعِبَادُ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلَّذِينَ يَمۡشُونَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ هَوۡنٗا وَإِذَا خَاطَبَهُمُ ٱلۡجَٰهِلُونَ قَالُواْ سَلَٰمٗا
63 . Bo abaddu ba Katonda beebo abatambula ku nsi nga bakkakkamu. Abatategeera bwe boogera nabo (ebintu by'ekiyaaye) bo baddamu nti mirembe.
عربي تفسیرونه:
وَٱلَّذِينَ يَبِيتُونَ لِرَبِّهِمۡ سُجَّدٗا وَقِيَٰمٗا
64 . Era beebo kulwa Mukama omulabirizi waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala).
عربي تفسیرونه:
وَٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا ٱصۡرِفۡ عَنَّا عَذَابَ جَهَنَّمَۖ إِنَّ عَذَابَهَا كَانَ غَرَامًا
65 . Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwuguleko ebibonerezo by'omuliro Jahannama anti mazima ebibonerezo byagwo bya lubeerera.
عربي تفسیرونه:
إِنَّهَا سَآءَتۡ مُسۡتَقَرّٗا وَمُقَامٗا
66 . Mazima ggwo kifo era butuulo bubi.
عربي تفسیرونه:
وَٱلَّذِينَ إِذَآ أَنفَقُواْ لَمۡ يُسۡرِفُواْ وَلَمۡ يَقۡتُرُواْ وَكَانَ بَيۡنَ ذَٰلِكَ قَوَامٗا
67 . (Abaddu ba Katonda) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwa bwe kuli wakati w'ebyo byombi.
عربي تفسیرونه:
 
د معناګانو ژباړه سورت: فرقان
د سورتونو فهرست (لړلیک) د مخ نمبر
 
د قرآن کریم د معناګانو ژباړه - لوکندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ - د ژباړو فهرست (لړلیک)

د افریقا پراختیایي بنسټ لخوا خپور شوی دی.

بندول