next

Al-Kalam

prev

1 : 68

نٓۚ وَٱلۡقَلَمِ وَمَا يَسۡطُرُونَ

Nuuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde ekalamu nebyebajiwandiisa. info
التفاسير: |

2 : 68

مَآ أَنتَ بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ بِمَجۡنُونٖ

Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi omulezi wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu. info
التفاسير: |

3 : 68

وَإِنَّ لَكَ لَأَجۡرًا غَيۡرَ مَمۡنُونٖ

Era ddala mazima olina empeera etakutukawo. info
التفاسير: |

4 : 68

وَإِنَّكَ لَعَلَىٰ خُلُقٍ عَظِيمٖ

Era mazima ddala gwe oli kumpisa enene mubuluunji. info
التفاسير: |

5 : 68

فَسَتُبۡصِرُ وَيُبۡصِرُونَ

Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba. info
التفاسير: |

6 : 68

بِأَييِّكُمُ ٱلۡمَفۡتُونُ

Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu. info
التفاسير: |

7 : 68

إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ

Mazima omulezi wo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu. info
التفاسير: |

8 : 68

فَلَا تُطِعِ ٱلۡمُكَذِّبِينَ

Kale nno togondera abo abalimbisa. info
التفاسير: |

9 : 68

وَدُّواْ لَوۡ تُدۡهِنُ فَيُدۡهِنُونَ

Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera. info
التفاسير: |

10 : 68

وَلَا تُطِعۡ كُلَّ حَلَّافٖ مَّهِينٍ

Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa. info
التفاسير: |

11 : 68

هَمَّازٖ مَّشَّآءِۭ بِنَمِيمٖ

Omugeyi atambuza olugambo. info
التفاسير: |

12 : 68

مَّنَّاعٖ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ

Omukodo, omulumbaganyi omwononefu. info
التفاسير: |

13 : 68

عُتُلِّۭ بَعۡدَ ذَٰلِكَ زَنِيمٍ

Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi. info
التفاسير: |

14 : 68

أَن كَانَ ذَا مَالٖ وَبَنِينَ

Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana. info
التفاسير: |

15 : 68

إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda. info
التفاسير: |

16 : 68

سَنَسِمُهُۥ عَلَى ٱلۡخُرۡطُومِ

Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro. info
التفاسير: |
next

Al-Kalam

prev
:
0:00 0:00