next

Al Anifal

prev

1 : 8

يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡأَنفَالِۖ قُلِ ٱلۡأَنفَالُ لِلَّهِ وَٱلرَّسُولِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَصۡلِحُواْ ذَاتَ بَيۡنِكُمۡۖ وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ

Bakubuuza ebikwata ku minyago, gamba nti: Eminyago gy’a Allah n’Omubaka. Kale nno mutye Allah, era mulongoose enkolagana wakati wammwe, era mugondere Allah n’Omubaka We bwe muba nga muli Bakkiriza. info
التفاسير: |

2 : 8

إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَإِذَا تُلِيَتۡ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُهُۥ زَادَتۡهُمۡ إِيمَٰنٗا وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ

Mazima ddala Abakkiriza, beebo nga buli Allah lw'ayogerwako, emitima gyabwe gitya, era bwe basomerwa Ebigambo Bye pp, bibongera obukkiriza, era nga Mukama Omulabirizi Waabwe Yekka gwe beesiga. info
التفاسير: |

3 : 8

ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ

Abo abayimirizaawo esswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako. info
التفاسير: |

4 : 8

أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ حَقّٗاۚ لَّهُمۡ دَرَجَٰتٌ عِندَ رَبِّهِمۡ وَمَغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ

Abo be Bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama Omulabirizi Waabwe n'okusonyiyibwa n’okugabirirwa okuyitirivu. info
التفاسير: |

5 : 8

كَمَآ أَخۡرَجَكَ رَبُّكَ مِنۢ بَيۡتِكَ بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّ فَرِيقٗا مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ لَكَٰرِهُونَ

Kino kifaanana nga Mukama Omulabirizi Wo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe Badiri), so nga abamu mu Bakkiriza baali tebakyagadde. info
التفاسير: |

6 : 8

يُجَٰدِلُونَكَ فِي ٱلۡحَقِّ بَعۡدَ مَا تَبَيَّنَ كَأَنَّمَا يُسَاقُونَ إِلَى ٱلۡمَوۡتِ وَهُمۡ يَنظُرُونَ

Bakuwakanya ku kintu ekituufu (ky'oliko), oluvannyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, ne bafaananako abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula. info
التفاسير: |

7 : 8

وَإِذۡ يَعِدُكُمُ ٱللَّهُ إِحۡدَى ٱلطَّآئِفَتَيۡنِ أَنَّهَا لَكُمۡ وَتَوَدُّونَ أَنَّ غَيۡرَ ذَاتِ ٱلشَّوۡكَةِ تَكُونُ لَكُمۡ وَيُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُحِقَّ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَيَقۡطَعَ دَابِرَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

Mujjukire Allah lwe yabalagaanyisa okufuna ekimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja kukifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Allah ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku Biragiro Bye, era akutulire ddala. emirandira gya abakaafiiri. info
التفاسير: |

8 : 8

لِيُحِقَّ ٱلۡحَقَّ وَيُبۡطِلَ ٱلۡبَٰطِلَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ

Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala. info
التفاسير: |
next

Al Anifal

prev
:
0:00 0:00