next

Al-Bayyinah

prev

1 : 98

لَمۡ يَكُنِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ مُنفَكِّينَ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ

Abajeemu mu bantu abaweebwa ebitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde. info
التفاسير: |

2 : 98

رَسُولٞ مِّنَ ٱللَّهِ يَتۡلُواْ صُحُفٗا مُّطَهَّرَةٗ

Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (qur'an). info
التفاسير: |

3 : 98

فِيهَا كُتُبٞ قَيِّمَةٞ

Empapula ezo ezatukuzibwa zirimu amateeka amalambulukufu. info
التفاسير: |

4 : 98

وَمَا تَفَرَّقَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ

Era abantu abo abaweebwa ekitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunyonnyofu bumaze okubajjira. info
التفاسير: |

5 : 98

وَمَآ أُمِرُوٓاْ إِلَّا لِيَعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ حُنَفَآءَ وَيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَذَٰلِكَ دِينُ ٱلۡقَيِّمَةِ

So nga ate tebaalagirwa okujjako okusinza Allah yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattako kantu konna, era nga bateekwa okuyimirizaawo eswala n’okutoola Zzaka, era nga eyo y'eddiini ennambulukufu. info
التفاسير: |
next

Al-Bayyinah

prev
:
0:00 0:00