Check out the new design

Tradução dos significados do Nobre Qur’an. - Tradução para Uganda - Fundação Africana de Desenvolvimento * - Índice de tradução


Tradução dos significados Surah: Saba   Versículo:
وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا ثُمَّ يَقُولُ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ أَهَٰٓؤُلَآءِ إِيَّاكُمۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ
40 . Era mujjukire olunaku lwalibakungaanya bonna oluvanyuma naagamba ba Malayika nti: abaffe abo be baasinzanga mmwe.
Os Tafssir em língua árabe:
قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ أَنتَ وَلِيُّنَا مِن دُونِهِمۖ بَلۡ كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ٱلۡجِنَّۖ أَكۡثَرُهُم بِهِم مُّؤۡمِنُونَ
41 . Baligamba nti wasukkuluma, ggwe Mukama waffe so ssi bo. Wabula bo baasinzanga majinni, abasinga obungi gebakkiririzangamu.
Os Tafssir em língua árabe:
فَٱلۡيَوۡمَ لَا يَمۡلِكُ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٖ نَّفۡعٗا وَلَا ضَرّٗا وَنَقُولُ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ
42 . (Katonda aligamba nti) kale nno olwa leero abamu ku mmwe tebagenda kuba na busobozi kugasa bannaabwe oba okubatuusaako akabi era tuligamba abo abeeyisa obubi nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.
Os Tafssir em língua árabe:
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ قَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّا رَجُلٞ يُرِيدُ أَن يَصُدَّكُمۡ عَمَّا كَانَ يَعۡبُدُ ءَابَآؤُكُمۡ وَقَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّآ إِفۡكٞ مُّفۡتَرٗىۚ وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ
43 . Ebigambo byaffe ebinnyonnyofu bwe bibasomerwa bagamba nti tali ono okugyako musajja ayagala okubajja ku ebyo bakadde ba mmwe bye baali basinza, era nebagamba nti (Kur’ani jazze nayo) eno teri okugyako bulimba obujingirire ate bo abaakaafuwala amazima bwe gamala okubajjira bagamba nti tebiri bino okugyako ddogo ery'olwatu.
Os Tafssir em língua árabe:
وَمَآ ءَاتَيۡنَٰهُم مِّن كُتُبٖ يَدۡرُسُونَهَاۖ وَمَآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمۡ قَبۡلَكَ مِن نَّذِيرٖ
44 . (Boogera ebyo naye nga) tetubawanga bitabo nti bye basoma era nga tetubatumiranga mutiisa yenna oluberyeberye lwo.
Os Tafssir em língua árabe:
وَكَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَمَا بَلَغُواْ مِعۡشَارَ مَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ فَكَذَّبُواْ رُسُلِيۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ
45 . Era abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa (abaka baffe) ate nga (abantu b'e Makkah) tebaaweza kimu kya kkumi kye twawa bali, ate olwo nno nebalimbisa ababaka bange, naye nnababonereza ngeriki?.
Os Tafssir em língua árabe:
۞ قُلۡ إِنَّمَآ أَعِظُكُم بِوَٰحِدَةٍۖ أَن تَقُومُواْ لِلَّهِ مَثۡنَىٰ وَفُرَٰدَىٰ ثُمَّ تَتَفَكَّرُواْۚ مَا بِصَاحِبِكُم مِّن جِنَّةٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا نَذِيرٞ لَّكُم بَيۡنَ يَدَيۡ عَذَابٖ شَدِيدٖ
46 . Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Katonda babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde.
Os Tafssir em língua árabe:
قُلۡ مَا سَأَلۡتُكُم مِّنۡ أَجۡرٖ فَهُوَ لَكُمۡۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٞ
47 . Bagambe nti ssibasaba mpeera yonna (empeera yonna eri emu) nayo ya mmwe, empeera eyange teri okugyako ku Katonda yekka. Era yye ku buli kintu (abeerawo) nga kikolebwa.
Os Tafssir em língua árabe:
قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَّٰمُ ٱلۡغُيُوبِ
48 . Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange akozesa amazima najjawo obulimba amanyidde ddala ebyekusifu.
Os Tafssir em língua árabe:
 
Tradução dos significados Surah: Saba
Índice de capítulos Número de página
 
Tradução dos significados do Nobre Qur’an. - Tradução para Uganda - Fundação Africana de Desenvolvimento - Índice de tradução

Vindo da Fundação Africana de Desenvolvimento.

Fechar