Check out the new design

Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. * - Ishakiro ry'ibisobanuro


Ibisobanuro by'amagambo Isura: An Nur   Umurongo:
قُلۡ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَۖ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡهِ مَا حُمِّلَ وَعَلَيۡكُم مَّا حُمِّلۡتُمۡۖ وَإِن تُطِيعُوهُ تَهۡتَدُواْۚ وَمَا عَلَى ٱلرَّسُولِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ
54 . Bagambe nti: mugondere Katonda era mugondere omubaka, bwe bagaana mazima (Nabbi) avunaanyizibwa ku ebyo ebyamutikkibwa nga nammwe bwe muvunaanyizibwa ku ebyo ebyabatikkibwa, naye bwe mumugondera mujja kulungama, era omubaka tabanjibwa okugyako okutuusa obubaka okw'olwatu.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَيَسۡتَخۡلِفَنَّهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ كَمَا ٱسۡتَخۡلَفَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ وَلَيُمَكِّنَنَّ لَهُمۡ دِينَهُمُ ٱلَّذِي ٱرۡتَضَىٰ لَهُمۡ وَلَيُبَدِّلَنَّهُم مِّنۢ بَعۡدِ خَوۡفِهِمۡ أَمۡنٗاۚ يَعۡبُدُونَنِي لَا يُشۡرِكُونَ بِي شَيۡـٔٗاۚ وَمَن كَفَرَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ
55 . Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza mu mmwe ne bakola e mirimu emirongoofu nti ajja kubawa obuyinza mu nsi, nga bwe yawa abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe era nti ajja kubanywereza e ddiini yaabwe eyo gye yabasiimira, era oluvanyuma lw'okuwangalira mu kutya ajja kubawaanyisizaamu emirembe, babe nga bansinza nga tebangattako kintu kirala kyonna, oyo yenna akola ekimenya amateeka oluvanyuma lw'ekyo abo nno bo be boonoonyi.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ
56 . Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa.
Ibisobanuro by'icyarabu:
لَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ وَلَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ
57 . Abo abaakaafuwala tosuubira nti bayinza okulemesa (Katonda) mu nsi, obuddo bwa bwe muliro era buddo bubi ddala.
Ibisobanuro by'icyarabu:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لِيَسۡتَـٔۡذِنكُمُ ٱلَّذِينَ مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡ وَٱلَّذِينَ لَمۡ يَبۡلُغُواْ ٱلۡحُلُمَ مِنكُمۡ ثَلَٰثَ مَرَّٰتٖۚ مِّن قَبۡلِ صَلَوٰةِ ٱلۡفَجۡرِ وَحِينَ تَضَعُونَ ثِيَابَكُم مِّنَ ٱلظَّهِيرَةِ وَمِنۢ بَعۡدِ صَلَوٰةِ ٱلۡعِشَآءِۚ ثَلَٰثُ عَوۡرَٰتٖ لَّكُمۡۚ لَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ وَلَا عَلَيۡهِمۡ جُنَاحُۢ بَعۡدَهُنَّۚ طَوَّٰفُونَ عَلَيۡكُم بَعۡضُكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ
58 . Abange mmwe abakkiriza bateekeddwa okubasaba okuyingira mu biseera bya mirundi esatu abo begyafuna e mikono gya mmwe egya ddyo, n'abo abatannaba kutuuka myaka gya bukulu mu mmwe, (bwe baba nga bayingira gye muli mu biseera ebyo, nabyo) e sswala ya Subuhi nga tennatuuka, ne mu kiseera we mweyambulira engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvanyuma lw’e sswala ya Isha, (ebyo) biseera bya mmwe bisatu okubeera obwereere, nga oggyeko ebiseera ebyo, mmwe nabo temulina musango mwena wamu bwe bayingira gye muli nga tebasabye, abantu abo babeetoololeramu ng'abamu musisinkana ba nnammwe, bwatyo (Katonda) bwa bannyonnyola e bigambo anti bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
Ibisobanuro by'icyarabu:
 
Ibisobanuro by'amagambo Isura: An Nur
Urutonde rw'amasura numero y'urupapuro
 
Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. - Ishakiro ry'ibisobanuro

Byasobanuwe n'umuryango Nyafurika ushinzwe iterambere.

Gufunga