Check out the new design

قرآن کریم کے معانی کا ترجمہ - لوگندی ترجمہ - افریقی ڈیولپمنٹ آرگنائزیشن * - ترجمے کی لسٹ


معانی کا ترجمہ سورت: ھود   آیت:
وَيَٰقَوۡمِ لَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مَالًاۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِۚ وَمَآ أَنَا۠ بِطَارِدِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْۚ إِنَّهُم مُّلَٰقُواْ رَبِّهِمۡ وَلَٰكِنِّيٓ أَرَىٰكُمۡ قَوۡمٗا تَجۡهَلُونَ
29. Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi.
عربی تفاسیر:
وَيَٰقَوۡمِ مَن يَنصُرُنِي مِنَ ٱللَّهِ إِن طَرَدتُّهُمۡۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ
30. Era abange bantu bange ani ayinza okuntaasa ku Katonda bwemba mbagobye, abaffe temujjukira.
عربی تفاسیر:
وَلَآ أَقُولُ لَكُمۡ عِندِي خَزَآئِنُ ٱللَّهِ وَلَآ أَعۡلَمُ ٱلۡغَيۡبَ وَلَآ أَقُولُ إِنِّي مَلَكٞ وَلَآ أَقُولُ لِلَّذِينَ تَزۡدَرِيٓ أَعۡيُنُكُمۡ لَن يُؤۡتِيَهُمُ ٱللَّهُ خَيۡرًاۖ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا فِيٓ أَنفُسِهِمۡ إِنِّيٓ إِذٗا لَّمِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ
31. Era siyinza kubagamba (mmwe) nti nina amawanika ga Katonda, era simanyi byekusifu, sigamba nti mazima nze ndi Malayika era sigamba abo amaaso ga mmwe begatawa kitiibwa nti Katonda tagenda kubawa birungi, Katonda y'amanyidde ddala ebyo ebiri mu mitima gya bwe, n'olwekyo mazima nze nemmala nkikola ddala mbeera mu beeyisa obubi.
عربی تفاسیر:
قَالُواْ يَٰنُوحُ قَدۡ جَٰدَلۡتَنَا فَأَكۡثَرۡتَ جِدَٰلَنَا فَأۡتِنَا بِمَا تَعِدُنَآ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ
32. Nebagamba nti owange Nuhu mazima otukaayanyizza n'oyitiriza okutukaayanya, kale tutuuseeko ebyo by'otulagaanyisa bwoba nga oyogera mazima.
عربی تفاسیر:
قَالَ إِنَّمَا يَأۡتِيكُم بِهِ ٱللَّهُ إِن شَآءَ وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ
33. (Nuhu) naagamba nti mazima Katonda ajja kubibatuusaako bwanaaba ayagadde, ate temuyinza kumulemesa.
عربی تفاسیر:
وَلَا يَنفَعُكُمۡ نُصۡحِيٓ إِنۡ أَرَدتُّ أَنۡ أَنصَحَ لَكُمۡ إِن كَانَ ٱللَّهُ يُرِيدُ أَن يُغۡوِيَكُمۡۚ هُوَ رَبُّكُمۡ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
34. Era okubuulirira kwange tekujja kubagasa singa mba njagadde okubabuulirira, ate Katonda n'aba nga ayagadde kubabuza. Yye ye Mukama omulabirizi wa mmwe era gyali gye mulizzibwa.
عربی تفاسیر:
أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰهُۖ قُلۡ إِنِ ٱفۡتَرَيۡتُهُۥ فَعَلَيَّ إِجۡرَامِي وَأَنَا۠ بَرِيٓءٞ مِّمَّا تُجۡرِمُونَ
35. Oba bagamba nti (Muhammad, Kur’ani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona.
عربی تفاسیر:
وَأُوحِيَ إِلَىٰ نُوحٍ أَنَّهُۥ لَن يُؤۡمِنَ مِن قَوۡمِكَ إِلَّا مَن قَدۡ ءَامَنَ فَلَا تَبۡتَئِسۡ بِمَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ
36. Nuhu n'aweebwa obubaka nti mazima tebagenda kukkiriza mu bantubo okugyako abo abakkiriza edda n'olwekyo tonakuwala olw'ebyo bye baali bakola.
عربی تفاسیر:
وَٱصۡنَعِ ٱلۡفُلۡكَ بِأَعۡيُنِنَا وَوَحۡيِنَا وَلَا تُخَٰطِبۡنِي فِي ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِنَّهُم مُّغۡرَقُونَ
37. Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi.
عربی تفاسیر:
 
معانی کا ترجمہ سورت: ھود
سورتوں کی لسٹ صفحہ نمبر
 
قرآن کریم کے معانی کا ترجمہ - لوگندی ترجمہ - افریقی ڈیولپمنٹ آرگنائزیشن - ترجمے کی لسٹ

افریقی ڈیولپمنٹ آرگنائزیشن سے شائع ہوا۔

بند کریں