Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: ሁድ   አንቀጽ:
وَيَٰقَوۡمِ لَا يَجۡرِمَنَّكُمۡ شِقَاقِيٓ أَن يُصِيبَكُم مِّثۡلُ مَآ أَصَابَ قَوۡمَ نُوحٍ أَوۡ قَوۡمَ هُودٍ أَوۡ قَوۡمَ صَٰلِحٖۚ وَمَا قَوۡمُ لُوطٖ مِّنكُم بِبَعِيدٖ
89. Era abange bantu bange okwawukana kwange na mmwe tekubatwaririza nemutuukwako ebyo ebyatuuka ku bantu ba Nuhu oba abantu ba Hudu oba abantu ba Swaleh era abantu ba Luutu tebali wala na mmwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ ثُمَّ تُوبُوٓاْ إِلَيۡهِۚ إِنَّ رَبِّي رَحِيمٞ وَدُودٞ
90. Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gyali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قَالُواْ يَٰشُعَيۡبُ مَا نَفۡقَهُ كَثِيرٗا مِّمَّا تَقُولُ وَإِنَّا لَنَرَىٰكَ فِينَا ضَعِيفٗاۖ وَلَوۡلَا رَهۡطُكَ لَرَجَمۡنَٰكَۖ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡنَا بِعَزِيزٖ
91. Nebagamba nti owange Swaibu bingi mu by'ogamba tetubitegeera ate era tukulaba ng'oli munafu muffe singa si kika kyo twandikukubye amayinja era ggwe tolina kitiibwa kyonna gye tuli.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَهۡطِيٓ أَعَزُّ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱللَّهِ وَٱتَّخَذۡتُمُوهُ وَرَآءَكُمۡ ظِهۡرِيًّاۖ إِنَّ رَبِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ مُحِيطٞ
92. Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَيَٰقَوۡمِ ٱعۡمَلُواْ عَلَىٰ مَكَانَتِكُمۡ إِنِّي عَٰمِلٞۖ سَوۡفَ تَعۡلَمُونَ مَن يَأۡتِيهِ عَذَابٞ يُخۡزِيهِ وَمَنۡ هُوَ كَٰذِبٞۖ وَٱرۡتَقِبُوٓاْ إِنِّي مَعَكُمۡ رَقِيبٞ
93. Era abange bantu bange mukolere ku nkola ya mmwe nange kankole, ddala mujja kumanya ani, anajjirwa ebibonerezo ebimuswaza, era ani mulimba, naye era mulindirire mazima nze nindirira awamu na mmwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَمَّا جَآءَ أَمۡرُنَا نَجَّيۡنَا شُعَيۡبٗا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ بِرَحۡمَةٖ مِّنَّا وَأَخَذَتِ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ ٱلصَّيۡحَةُ فَأَصۡبَحُواْ فِي دِيَٰرِهِمۡ جَٰثِمِينَ
94. Ekiragiro kyaffe bwe kyamala okujja, ku lw'okusaasira kwaffe, twawonya Swaibu n'abo abakkiriza naye. Abo abeeyisa obubi nebatuukwako okubwatuka nebakeesa enkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba ga bwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
كَأَن لَّمۡ يَغۡنَوۡاْ فِيهَآۗ أَلَا بُعۡدٗا لِّمَدۡيَنَ كَمَا بَعِدَتۡ ثَمُودُ
95. Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَا وَسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ
96. Mazima twatuma Musa n'ebyamagero byaffe n'obujulizi obw'olwatu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَٱتَّبَعُوٓاْ أَمۡرَ فِرۡعَوۡنَۖ وَمَآ أَمۡرُ فِرۡعَوۡنَ بِرَشِيدٖ
97. Agende ewa firawo n'eri abakungube, bo abakungu baagoberera ekigambo kya Firawo, naye nga ekigambo kya Firawo si kirungamu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: ሁድ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት