Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: ሁድ   አንቀጽ:
أُوْلَٰٓئِكَ لَمۡ يَكُونُواْ مُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا كَانَ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِنۡ أَوۡلِيَآءَۘ يُضَٰعَفُ لَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ مَا كَانُواْ يَسۡتَطِيعُونَ ٱلسَّمۡعَ وَمَا كَانُواْ يُبۡصِرُونَ
20. Abo tebaali ba kulemera ku nsi, era ng'oggyeko Katonda tebalinaayo ba mukwano balala bayinza kubawonya, ebibonerezo bya bwe bigenda kwongezebwamu anti baali tebasobola kuwulira era nga bwe baali tebalaba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ
21. Abo be baafaafaganirwa emyoyo gya bwe ne bibaggwako bye baayiiyanga.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لَا جَرَمَ أَنَّهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ هُمُ ٱلۡأَخۡسَرُونَ
22. Kikakafu ddala bbo ku lunaku lw'enkomerero be balifaafaganirwa ennyo.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَأَخۡبَتُوٓاْ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
23. Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ne bamenyekera Mukama omulabirizi waabwe abo be ba nannyini jjana, bo mu yo ba kutuulamu bugenderevu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
۞ مَثَلُ ٱلۡفَرِيقَيۡنِ كَٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡأَصَمِّ وَٱلۡبَصِيرِ وَٱلسَّمِيعِۚ هَلۡ يَسۡتَوِيَانِ مَثَلًاۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ
24. Ekifaananyi ky'ebibinja ebibiri (ebyogeddwako waggulu) kiringa ekya muzibe ne kiggala n'oyo alaba era nga awulira abaffe balabika nti bafaanana temwebuulirira!.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٌ
25. Mazima twatuma Nuhu eri abantube (n'abagamba) nti mazima nze ndi mutiisa wa mmwe omweyolefu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
أَن لَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّا ٱللَّهَۖ إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ أَلِيمٖ
26. (Mbategeeza) nti temusinza kintu kyonna okugyako Katonda mazima nze mbatiiriddeko e bibonerezo by'olunaku olw'okuluma obugigi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
فَقَالَ ٱلۡمَلَأُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ مَا نَرَىٰكَ إِلَّا بَشَرٗا مِّثۡلَنَا وَمَا نَرَىٰكَ ٱتَّبَعَكَ إِلَّا ٱلَّذِينَ هُمۡ أَرَاذِلُنَا بَادِيَ ٱلرَّأۡيِ وَمَا نَرَىٰ لَكُمۡ عَلَيۡنَا مِن فَضۡلِۭ بَلۡ نَظُنُّكُمۡ كَٰذِبِينَ
27. Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti tetukulaba ggwe okugyako okuba nti oli muntu nga ffe, era tetulaba abakugoberedde okugyako ab'awansi mu ffe ab'endowooza entono, mwenna tetubalabamu nkizo yonna ku ffe wabula tubalowooza kuba balimba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَءَيۡتُمۡ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَءَاتَىٰنِي رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِهِۦ فَعُمِّيَتۡ عَلَيۡكُمۡ أَنُلۡزِمُكُمُوهَا وَأَنتُمۡ لَهَا كَٰرِهُونَ
28. Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: ሁድ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት