Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አልን ኑር   አንቀጽ:

Al Nuru

سُورَةٌ أَنزَلۡنَٰهَا وَفَرَضۡنَٰهَا وَأَنزَلۡنَا فِيهَآ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖ لَّعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ
1 . (Eno) ssuula twagissa ne tugikakasa (okukozesa amateeka agagirimu) netussa mu yo ebigambo ebinnyonnyofu mube nga mujjukira.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱلزَّانِيَةُ وَٱلزَّانِي فَٱجۡلِدُواْ كُلَّ وَٰحِدٖ مِّنۡهُمَا مِاْئَةَ جَلۡدَةٖۖ وَلَا تَأۡخُذۡكُم بِهِمَا رَأۡفَةٞ فِي دِينِ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ تُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۖ وَلۡيَشۡهَدۡ عَذَابَهُمَا طَآئِفَةٞ مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
2 . Omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja buli omu ku bo mumukube emiggo kikumi, ekisa tekibakwatanga ku lwa bwe bombi, nga muli mu kutuukiriza e ddiini ya Katonda, bwe muba nga mukkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, ekibinja mu bakkiriza kiteekwa okubaawo nga babonerezebwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱلزَّانِي لَا يَنكِحُ إِلَّا زَانِيَةً أَوۡ مُشۡرِكَةٗ وَٱلزَّانِيَةُ لَا يَنكِحُهَآ إِلَّا زَانٍ أَوۡ مُشۡرِكٞۚ وَحُرِّمَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
3 . Omusajja omwenzi tawasa okugyako omukazi omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, n’omukazi omwenzi tawasibwa okugyako omusajja omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, era ekyo kyaziyizibwa ku bakkiriza.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ يَرۡمُونَ ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ ثُمَّ لَمۡ يَأۡتُواْ بِأَرۡبَعَةِ شُهَدَآءَ فَٱجۡلِدُوهُمۡ ثَمَٰنِينَ جَلۡدَةٗ وَلَا تَقۡبَلُواْ لَهُمۡ شَهَٰدَةً أَبَدٗاۚ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ
4 . N’abo abatemerera abakyala ab'ensa obwenzi ate ne bataleeta bajulizi bana mubakube emiggo kinaana era lubeerera temuddangayo okukkiriza obujulizi bwa bwe era abo be boonoonyi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ وَأَصۡلَحُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
5 . Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola e mirimu emirungi. Anti mazima Katonda musonyiyi musaasizi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ يَرۡمُونَ أَزۡوَٰجَهُمۡ وَلَمۡ يَكُن لَّهُمۡ شُهَدَآءُ إِلَّآ أَنفُسُهُمۡ فَشَهَٰدَةُ أَحَدِهِمۡ أَرۡبَعُ شَهَٰدَٰتِۭ بِٱللَّهِ إِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ
6 . Ate abo abawaayiriza be baafumbiriganwa nabo obwenzi ate nga tebalina bajulizi okugyako bo bennyini, kale nno obujulizi bw'omu ku bo kwe kulayira Katonda emirundi ena (naayongerako nti) mazima yye wa mu boogera amazima.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلۡخَٰمِسَةُ أَنَّ لَعۡنَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡهِ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ
7 . Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima ekikolimo kya Katonda kibe ku ye bwaba nga wa mu balimba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَيَدۡرَؤُاْ عَنۡهَا ٱلۡعَذَابَ أَن تَشۡهَدَ أَرۡبَعَ شَهَٰدَٰتِۭ بِٱللَّهِ إِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ
8 . Olwo nno omukyala ne bamuggyako e kibonerezo bwalayira Katonda emirundi ena (naayongerako nti) mazima oli byayogera bimussa mu balimba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلۡخَٰمِسَةَ أَنَّ غَضَبَ ٱللَّهِ عَلَيۡهَآ إِن كَانَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ
9 . Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima obusungu bwa Katonda bube ku ye (bba) bwaba mu boogera amazima.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ وَأَنَّ ٱللَّهَ تَوَّابٌ حَكِيمٌ
10 . Singa si bulungi bwa Katonda bwabawa na kusaasirakwe (mwandisanze) obuzibu mu kusalawo ensonga) era mazima Katonda akkiriza okwenenya mugoba nsonga.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አልን ኑር
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት