Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አልን ኑር   አንቀጽ:
إِنَّ ٱلَّذِينَ جَآءُو بِٱلۡإِفۡكِ عُصۡبَةٞ مِّنكُمۡۚ لَا تَحۡسَبُوهُ شَرّٗا لَّكُمۖ بَلۡ هُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۚ لِكُلِّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُم مَّا ٱكۡتَسَبَ مِنَ ٱلۡإِثۡمِۚ وَٱلَّذِي تَوَلَّىٰ كِبۡرَهُۥ مِنۡهُمۡ لَهُۥ عَذَابٌ عَظِيمٞ
11 . Mazima abo abaaleeta ebigambo eby'obulimba (ne batemerera Aisha obwenzi) bamu ku mmwe, temukitwala nti kibi gye muli wabula kirungi gye muli, buli omu ku bo ateekwa okufuna empeera y'ekibi kye yakola, ate oyo eyakikulembera mu bo waakufuna ebibonerezo e bikakali.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لَّوۡلَآ إِذۡ سَمِعۡتُمُوهُ ظَنَّ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتُ بِأَنفُسِهِمۡ خَيۡرٗا وَقَالُواْ هَٰذَآ إِفۡكٞ مُّبِينٞ
12 . Singa bwe mwakiwulira abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakyala beerowooleza bulungi, era ne bagamba nti kuno kutemerera okw'olwatu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لَّوۡلَا جَآءُو عَلَيۡهِ بِأَرۡبَعَةِ شُهَدَآءَۚ فَإِذۡ لَمۡ يَأۡتُواْ بِٱلشُّهَدَآءِ فَأُوْلَٰٓئِكَ عِندَ ٱللَّهِ هُمُ ٱلۡكَٰذِبُونَ
13 . Singa baakireetako abajulizi bana naye kebataaleeta bajulizi olwo nno abo bbo ewa Katonda be balimba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ لَمَسَّكُمۡ فِي مَآ أَفَضۡتُمۡ فِيهِ عَذَابٌ عَظِيمٌ
14 . Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa ku nsi ne ku nkomerero olw'ebyo bye mweyingizaamu mwalituukiddwako ebibonerezo ebikakali.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِذۡ تَلَقَّوۡنَهُۥ بِأَلۡسِنَتِكُمۡ وَتَقُولُونَ بِأَفۡوَاهِكُم مَّا لَيۡسَ لَكُم بِهِۦ عِلۡمٞ وَتَحۡسَبُونَهُۥ هَيِّنٗا وَهُوَ عِندَ ٱللَّهِ عَظِيمٞ
15 . Mu kiseera wemwabisaasaanyiza ne nnimi za mmwe ne mwogera n'emimwa gya mmwe bye mutaalinako kumanya, mwakitwala nga ekyangu naye nga ewa Katonda kinene.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَوۡلَآ إِذۡ سَمِعۡتُمُوهُ قُلۡتُم مَّا يَكُونُ لَنَآ أَن نَّتَكَلَّمَ بِهَٰذَا سُبۡحَٰنَكَ هَٰذَا بُهۡتَٰنٌ عَظِيمٞ
16 . Singa bwe mwakiwulira mwagamba nti tekitugwanira kwogera ku nsonga eno, wasukkuluma Mukama Katonda, kuno kutemerera okuyitirivu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
يَعِظُكُمُ ٱللَّهُ أَن تَعُودُواْ لِمِثۡلِهِۦٓ أَبَدًا إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ
17 . Katonda ababuulirira bulijjo obutaddayo kukola kintu nga kino bwe muba nga muli bakkiriza.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَيُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِۚ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ
18 . Era Katonda abannyonnyola amateeka. Era bulijjo Katonda amanyi nnyo ate nga mugoba nsonga.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِنَّ ٱلَّذِينَ يُحِبُّونَ أَن تَشِيعَ ٱلۡفَٰحِشَةُ فِي ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ
19 . Mazima abo abaagala ebikolwa eby'obuwemu okusaasaana mu bakkiriza, balina ebibonerezo ebiruma ennyo ku nsi ne ku nkomerero. Era Katonda amanyi ate mmwe temumanyi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ وَأَنَّ ٱللَّهَ رَءُوفٞ رَّحِيمٞ
20 . Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa (mwandituuseeko ebizibu naye nga bulijjo) mazima Katonda wa kisa musaasizi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አልን ኑር
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት