Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Al-Hajj   Ayah:

Al Hajji

يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمۡۚ إِنَّ زَلۡزَلَةَ ٱلسَّاعَةِ شَيۡءٌ عَظِيمٞ
1 . Abange mmwe abantu, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe anti mazima okukankana (kw'ensi) nga enkomerero etuuse kiriba kintu kinene nnyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
يَوۡمَ تَرَوۡنَهَا تَذۡهَلُ كُلُّ مُرۡضِعَةٍ عَمَّآ أَرۡضَعَتۡ وَتَضَعُ كُلُّ ذَاتِ حَمۡلٍ حَمۡلَهَا وَتَرَى ٱلنَّاسَ سُكَٰرَىٰ وَمَا هُم بِسُكَٰرَىٰ وَلَٰكِنَّ عَذَابَ ٱللَّهِ شَدِيدٞ
2 . Olunaku lw'olikulaba (okukankana) buli Mukyala muzadde talissa mwoyo ku mwana (gwe yazaala) n'ayonsa, ate buli aliba alina olubuto lugenda kuvaamu, era oliraba abantu nga balinga abatamidde so nga tebatamidde (ekiribatuusa ku ekyo) lwa kuba nti mazima ebibonerezo bya Katonda biyitirivu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَيَتَّبِعُ كُلَّ شَيۡطَٰنٖ مَّرِيدٖ
3 . Mu ba ntu mulimu awakana ku bikwata ku Katonda nga talina kumanya kwonna, n'aba nga agoberera kyewaggula Sitane.
Arabic explanations of the Qur’an:
كُتِبَ عَلَيۡهِ أَنَّهُۥ مَن تَوَلَّاهُ فَأَنَّهُۥ يُضِلُّهُۥ وَيَهۡدِيهِ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ
4 . (Sitane) kyamuwandiikwako nti ddala buli amwewa mazima yye amubuza era n'aba nga amuzza eri ebibonerezo by'omuliro.
Arabic explanations of the Qur’an:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِن كُنتُمۡ فِي رَيۡبٖ مِّنَ ٱلۡبَعۡثِ فَإِنَّا خَلَقۡنَٰكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ مِنۡ عَلَقَةٖ ثُمَّ مِن مُّضۡغَةٖ مُّخَلَّقَةٖ وَغَيۡرِ مُخَلَّقَةٖ لِّنُبَيِّنَ لَكُمۡۚ وَنُقِرُّ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ مَا نَشَآءُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ نُخۡرِجُكُمۡ طِفۡلٗا ثُمَّ لِتَبۡلُغُوٓاْ أَشُدَّكُمۡۖ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡلَا يَعۡلَمَ مِنۢ بَعۡدِ عِلۡمٖ شَيۡـٔٗاۚ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ هَامِدَةٗ فَإِذَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهَا ٱلۡمَآءَ ٱهۡتَزَّتۡ وَرَبَتۡ وَأَنۢبَتَتۡ مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٖ
5 . Abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa ku kuzuukira (mukimanye) nti mazima ffe twabatonda nga tubajja mu ttaka (okusinziira ku jajja mmwe Adam nga bwe yatondebwa) oluvanyuma (ne tuba nga) tubatonda mu mazzi agazaala nate oluvanyuma netubajja mu kisaayisaayi oluvanyuma ekifuuka ekinyamanyama ekituukiridde mu butonde bwakyo n'ekitatuukiridde olwo nno tube nga tubalaga (obuyinza bwaffe) olwo nno netukuumira mu nnabaana ekyo kye tuba twagadde okumala ebbanga eggere oluvanyuma tubafulumya nga muli bawere ate oluvanyuma mube nga mufuuka abakulu, ne mu mmwe mulimu abafa (nga bakyali) era mu mmwe mulimu abazzibwayo eri obuwangaazi obusinga okuba obunafu (n'akaddiwa nga takyesobola) n'aba nga takyasobola kumanya kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nga yali amanyi (ekirala ekiraga nti okuzuukira kulibaayo) ogenda noolaba ensi ng'ekaze naye ketugitonnyesaako enkuba edda buto n'etinta n'emeza buli mutindo gwa bimera ebirungi.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Al-Hajj
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close