Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Al-Hajj   Ayah:
وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖ وَأَنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يُرِيدُ
16 . (Katonda nga bwe yannyonnyola obuyinzabwe mu kusobola okuzuukiza abafu), mu ngeri y'emu annyonnyola engeri gye yassaamu Kur’ani naagamba nti) era bwe tutyo twagissa (Kur'ani) nga bigambo ebinnyonnyola (obulungi) era mazima Katonda alungamya gwaba ayagadde.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلصَّٰبِـِٔينَ وَٱلنَّصَٰرَىٰ وَٱلۡمَجُوسَ وَٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡصِلُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ
17 . Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abakkiriza eddiini ye Kiyudaaya (ku mulembe gwayo) n'abatasinza masanamu (nga Nabbi Muhammad tannatumwa) n'abakkiriza mu ddiini ye Kikurisitaayo (ku mulembe gwayo) n'abo abasinza omuliro, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala mazima Katonda agenda kusalawo wakati waabwe (ku ebyo bye baali basinza) ku lunaku lw'enkomerero. Anti mazima Katonda ku buli kintu mujulizi.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يَسۡجُدُۤ لَهُۥۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ وَٱلنُّجُومُ وَٱلۡجِبَالُ وَٱلشَّجَرُ وَٱلدَّوَآبُّ وَكَثِيرٞ مِّنَ ٱلنَّاسِۖ وَكَثِيرٌ حَقَّ عَلَيۡهِ ٱلۡعَذَابُۗ وَمَن يُهِنِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِن مُّكۡرِمٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ۩
18 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emunyenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi bakakatwako ebibonerezo (olwo butamuvunnamira) era omuntu Katonda gwaba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ هَٰذَانِ خَصۡمَانِ ٱخۡتَصَمُواْ فِي رَبِّهِمۡۖ فَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ قُطِّعَتۡ لَهُمۡ ثِيَابٞ مِّن نَّارٖ يُصَبُّ مِن فَوۡقِ رُءُوسِهِمُ ٱلۡحَمِيمُ
19 . Bino ebibinja by'abantu ba mirundi ebiri baayawukana mu kutongoza Mukama omulabirizi waabwe, kale nekibeera nga, abakaafuwala batungirwa engoye nga za mu muliro nga bagenda kufukirirwa ku mitwe gya bwe amazzi ag'olwegye.
Arabic explanations of the Qur’an:
يُصۡهَرُ بِهِۦ مَا فِي بُطُونِهِمۡ وَٱلۡجُلُودُ
20 . Nga amazzi ago birisaanusibwa nagwo ebiri mu mbuto zaabwe n'amaliba gaabwe.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَهُم مَّقَٰمِعُ مِنۡ حَدِيدٖ
21 . Era nga bagenda kukubwanga ennyondo ezaakolebwa mu kyuma.
Arabic explanations of the Qur’an:
كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا مِنۡ غَمٍّ أُعِيدُواْ فِيهَا وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ
22 . Buli bwe baliba baagala okufuluma mu muliro ogwo ku olw'obulumi obulibatuukako mu gwo nga bazzibwa mu gwo (nga bagambibwa nti) era mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo by'omuliro ogwokya ennyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَلُؤۡلُؤٗاۖ وَلِبَاسُهُمۡ فِيهَا حَرِيرٞ
23 . Mazima Katonda agenda kuyingiza mu jjana abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu nga emigga gikulukutira wansi waazo. Nga bali mu zo, balyambazibwa ebikomo ebya zaabu ne Luulu nga n'engoye zebagenda okwambala ziriba za Siliki.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Al-Hajj
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close