Firo maanaaji Alqur'aana Teddunde nden - Firo e ɗemngal Lugannda - Fedde Afrik ngam Ɓamtaare.

prev

Nuuh

next

1 : 71

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرۡ قَوۡمَكَ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

Mazima Ffe twatuma Nuuhu eri abantu be. Nti tiisa abantu bo ebibonerezo abiruma ennyo nga tebinnabajjira. info
التفاسير: |

2 : 71

قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٌ

N'abagamba nti abange bantu bange mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu. info
التفاسير: |

3 : 71

أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُ وَأَطِيعُونِ

Nti musinze Allah era mumutye nange muŋŋondere. info
التفاسير: |

4 : 71

يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرۡكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمًّىۚ إِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ إِذَا جَآءَ لَا يُؤَخَّرُۚ لَوۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza Mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Allah bwe ziba zituuse tezirindirizibwa singa mumanyi. info
التفاسير: |

5 : 71

قَالَ رَبِّ إِنِّي دَعَوۡتُ قَوۡمِي لَيۡلٗا وَنَهَارٗا

Awamu n'ekyo tebakkiriza, Nuuhu n'agamba nti: Ayi Omulezi Wange nkoowodde abantu bange ekiro n'emisana. info
التفاسير: |

6 : 71

فَلَمۡ يَزِدۡهُمۡ دُعَآءِيٓ إِلَّا فِرَارٗا

Wabula okukoowoola kwange tekubongedde okuggyako okunneesamba. info
التفاسير: |

7 : 71

وَإِنِّي كُلَّمَا دَعَوۡتُهُمۡ لِتَغۡفِرَ لَهُمۡ جَعَلُوٓاْ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَٱسۡتَغۡشَوۡاْ ثِيَابَهُمۡ وَأَصَرُّواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ ٱسۡتِكۡبَارٗا

Mazima buli lwe mbadde mbakoowoola badde eri okusonyiwa Kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza. info
التفاسير: |

8 : 71

ثُمَّ إِنِّي دَعَوۡتُهُمۡ جِهَارٗا

Ate era mazima mbakoowodde mulwatu. info
التفاسير: |

9 : 71

ثُمَّ إِنِّيٓ أَعۡلَنتُ لَهُمۡ وَأَسۡرَرۡتُ لَهُمۡ إِسۡرَارٗا

Era oluvanyuma njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnoomu. info
التفاسير: |

10 : 71

فَقُلۡتُ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ إِنَّهُۥ كَانَ غَفَّارٗا

Ne mbagamba nti mwegayirire Omulezi Wammwe kubanga mazima Yye bulijjo Musonyiyi. info
التفاسير: |
prev

Nuuh

next
:
0:00 0:00