Firo maanaaji Alqur'aana Teddunde nden - Firo e ɗemngal Lugannda - Fedde Afrik ngam Ɓamtaare.

prev

Al-Jinni

next

1 : 72

قُلۡ أُوحِيَ إِلَيَّ أَنَّهُ ٱسۡتَمَعَ نَفَرٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَقَالُوٓاْ إِنَّا سَمِعۡنَا قُرۡءَانًا عَجَبٗا

Bagambe ggwe Nnabbi Muhammadi nti nnafuna Obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma Kulaani ne gagamba nti mazima Kulaani tugiwulidde nga yeewuunyisa. info
التفاسير: |

2 : 72

يَهۡدِيٓ إِلَى ٱلرُّشۡدِ فَـَٔامَنَّا بِهِۦۖ وَلَن نُّشۡرِكَ بِرَبِّنَآ أَحَدٗا

Eruŋŋamya oyo agiwuliriza okudda eri obuluŋŋamu era naffe tugikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta ku Mulezi Waffe kintu kirala. info
التفاسير: |

3 : 72

وَأَنَّهُۥ تَعَٰلَىٰ جَدُّ رَبِّنَا مَا ٱتَّخَذَ صَٰحِبَةٗ وَلَا وَلَدٗا

Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda Omulezi Waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeeteerawo omukyala wadde omwana. info
التفاسير: |

4 : 72

وَأَنَّهُۥ كَانَ يَقُولُ سَفِيهُنَا عَلَى ٱللَّهِ شَطَطٗا

Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogeranga ku Allah ebigambo ebitemerera. info
التفاسير: |

5 : 72

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن تَقُولَ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا

Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu n'amajinni baali tebayinza kwogera ku Allah bya bulimba. info
التفاسير: |

6 : 72

وَأَنَّهُۥ كَانَ رِجَالٞ مِّنَ ٱلۡإِنسِ يَعُوذُونَ بِرِجَالٖ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَزَادُوهُمۡ رَهَقٗا

Era mazima waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala. info
التفاسير: |

7 : 72

وَأَنَّهُمۡ ظَنُّواْ كَمَا ظَنَنتُمۡ أَن لَّن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ أَحَدٗا

Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwe mwalowooza nti Allah talizuukiza muntu yenna. info
التفاسير: |

8 : 72

وَأَنَّا لَمَسۡنَا ٱلسَّمَآءَ فَوَجَدۡنَٰهَا مُلِئَتۡ حَرَسٗا شَدِيدٗا وَشُهُبٗا

Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu ne tulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe n'ebitawuliro. info
التفاسير: |

9 : 72

وَأَنَّا كُنَّا نَقۡعُدُ مِنۡهَا مَقَٰعِدَ لِلسَّمۡعِۖ فَمَن يَسۡتَمِعِ ٱلۡأٓنَ يَجِدۡ لَهُۥ شِهَابٗا رَّصَدٗا

Era mazima ffe waliwo enfo ze twatuulangamu ne tuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze. info
التفاسير: |

10 : 72

وَأَنَّا لَا نَدۡرِيٓ أَشَرٌّ أُرِيدَ بِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ أَرَادَ بِهِمۡ رَبُّهُمۡ رَشَدٗا

Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda Omulezi Waabyo yabyagaliza buluŋŋamu. info
التفاسير: |

11 : 72

وَأَنَّا مِنَّا ٱلصَّٰلِحُونَ وَمِنَّا دُونَ ذَٰلِكَۖ كُنَّا طَرَآئِقَ قِدَدٗا

Mazima ne muffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo. info
التفاسير: |

12 : 72

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن نُّعۡجِزَ ٱللَّهَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَن نُّعۡجِزَهُۥ هَرَبٗا

Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Allah ku nsi era nga bwe tutayinza kumulemesa ne tumuddukako. info
التفاسير: |

13 : 72

وَأَنَّا لَمَّا سَمِعۡنَا ٱلۡهُدَىٰٓ ءَامَنَّا بِهِۦۖ فَمَن يُؤۡمِنۢ بِرَبِّهِۦ فَلَا يَخَافُ بَخۡسٗا وَلَا رَهَقٗا

Era mazima ddala bwe twawulira obuluŋŋamu twabukkiriza, era oyo yenna akkiriza Mukama Katonda Omulezi We tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa. info
التفاسير: |
prev

Al-Jinni

next
:
0:00 0:00