next

Al-Jinni

prev

external-link copy
1 : 72

قُلۡ أُوحِيَ إِلَيَّ أَنَّهُ ٱسۡتَمَعَ نَفَرٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَقَالُوٓاْ إِنَّا سَمِعۡنَا قُرۡءَانًا عَجَبٗا

Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti nafuna obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma qur'an negagamba nti mazima qur'an tujiwulidde nga yewuunyisa. info
التفاسير: |

external-link copy
2 : 72

يَهۡدِيٓ إِلَى ٱلرُّشۡدِ فَـَٔامَنَّا بِهِۦۖ وَلَن نُّشۡرِكَ بِرَبِّنَآ أَحَدٗا

Elungamya oyo ajiwuliriza okudda eri obulungamu era naffe tujikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta kumulezi wadde kintu kirala. info
التفاسير: |

external-link copy
3 : 72

وَأَنَّهُۥ تَعَٰلَىٰ جَدُّ رَبِّنَا مَا ٱتَّخَذَ صَٰحِبَةٗ وَلَا وَلَدٗا

Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda omulezi waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeteerawo omukyala wadde omwana. info
التفاسير: |

external-link copy
4 : 72

وَأَنَّهُۥ كَانَ يَقُولُ سَفِيهُنَا عَلَى ٱللَّهِ شَطَطٗا

Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogera nga ku Allah ebigambo ebitemerera. info
التفاسير: |

external-link copy
5 : 72

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن تَقُولَ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا

Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu na majjini baali tebayinza kwogera ku Allah byabulimba. info
التفاسير: |

external-link copy
6 : 72

وَأَنَّهُۥ كَانَ رِجَالٞ مِّنَ ٱلۡإِنسِ يَعُوذُونَ بِرِجَالٖ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَزَادُوهُمۡ رَهَقٗا

Era mazima Waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala. info
التفاسير: |

external-link copy
7 : 72

وَأَنَّهُمۡ ظَنُّواْ كَمَا ظَنَنتُمۡ أَن لَّن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ أَحَدٗا

Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwemwalowooza nti Katonda talizuukiza muntu yenna. info
التفاسير: |

external-link copy
8 : 72

وَأَنَّا لَمَسۡنَا ٱلسَّمَآءَ فَوَجَدۡنَٰهَا مُلِئَتۡ حَرَسٗا شَدِيدٗا وَشُهُبٗا

Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro. info
التفاسير: |

external-link copy
9 : 72

وَأَنَّا كُنَّا نَقۡعُدُ مِنۡهَا مَقَٰعِدَ لِلسَّمۡعِۖ فَمَن يَسۡتَمِعِ ٱلۡأٓنَ يَجِدۡ لَهُۥ شِهَابٗا رَّصَدٗا

Era mazima ffe waliwo enfo zetwatulangamu netuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze. info
التفاسير: |

external-link copy
10 : 72

وَأَنَّا لَا نَدۡرِيٓ أَشَرٌّ أُرِيدَ بِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ أَرَادَ بِهِمۡ رَبُّهُمۡ رَشَدٗا

Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda omulezi wabyo yabyagaliza bulungamu. info
التفاسير: |

external-link copy
11 : 72

وَأَنَّا مِنَّا ٱلصَّٰلِحُونَ وَمِنَّا دُونَ ذَٰلِكَۖ كُنَّا طَرَآئِقَ قِدَدٗا

Mazima nemuffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo. info
التفاسير: |

external-link copy
12 : 72

وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن نُّعۡجِزَ ٱللَّهَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَن نُّعۡجِزَهُۥ هَرَبٗا

Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Allah kunsi era nga bwetutayinza kumulemesa ne tumuddukako. info
التفاسير: |

external-link copy
13 : 72

وَأَنَّا لَمَّا سَمِعۡنَا ٱلۡهُدَىٰٓ ءَامَنَّا بِهِۦۖ فَمَن يُؤۡمِنۢ بِرَبِّهِۦ فَلَا يَخَافُ بَخۡسٗا وَلَا رَهَقٗا

Era mazima ddala bwe twawulira obulungamu twabukkiriza, era oyo yenna akkiriza Mukama Katonda omulezi we tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa. info
التفاسير: |
next

Al-Jinni

prev