ترجمه‌ى معانی قرآن کریم - ترجمه‌ى لوگاندا - مؤسسه‌ى توسعه‌ى آفريقا

next

Al–Muzzamil

prev

1 : 73

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُزَّمِّلُ

Owange ggwe eyeebikkirira (olw'okutya okwakutuukako bwebwafuna Obubaka okuva ku Malayika Jibuliiru omulundi ogwasooka). info
التفاسير: |

2 : 73

قُمِ ٱلَّيۡلَ إِلَّا قَلِيلٗا

Yimirira ekiro osaale mpozzi lekayo akaseera katono. info
التفاسير: |

3 : 73

نِّصۡفَهُۥٓ أَوِ ٱنقُصۡ مِنۡهُ قَلِيلًا

Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono. info
التفاسير: |

4 : 73

أَوۡ زِدۡ عَلَيۡهِ وَرَتِّلِ ٱلۡقُرۡءَانَ تَرۡتِيلًا

Oba oyinza okwongerako era soma Kulaani olusoma. info
التفاسير: |

5 : 73

إِنَّا سَنُلۡقِي عَلَيۡكَ قَوۡلٗا ثَقِيلًا

Mazima ffe tujja kukutikka Ekigambo ekizito. info
التفاسير: |

6 : 73

إِنَّ نَاشِئَةَ ٱلَّيۡلِ هِيَ أَشَدُّ وَطۡـٔٗا وَأَقۡوَمُ قِيلًا

Mazima dala esswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga n'ebisomerwamu bye bisinga okusomwa mu nsoma ennambulukufu. info
التفاسير: |

7 : 73

إِنَّ لَكَ فِي ٱلنَّهَارِ سَبۡحٗا طَوِيلٗا

Mazima olina mu biseera by'emisana eby'okukola bingi ebiyinza okukulemesa okusoma Kulaani. info
التفاسير: |

8 : 73

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلۡ إِلَيۡهِ تَبۡتِيلٗا

Era tendereza erinnya lya Mukama Katonda Omulezi Wo, ekiseera kyonna. info
التفاسير: |

9 : 73

رَّبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱتَّخِذۡهُ وَكِيلٗا

Omulezi era Nnannyini buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okuggyako Yye, kale nno gw'oba weesigamako. info
التفاسير: |

10 : 73

وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱهۡجُرۡهُمۡ هَجۡرٗا جَمِيلٗا

Era ogumiikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri ennungi. info
التفاسير: |

11 : 73

وَذَرۡنِي وَٱلۡمُكَذِّبِينَ أُوْلِي ٱلنَّعۡمَةِ وَمَهِّلۡهُمۡ قَلِيلًا

Era ndekera abalimbisa, abagagga ffugge, era obalindirize akaseera katono. info
التفاسير: |

12 : 73

إِنَّ لَدَيۡنَآ أَنكَالٗا وَجَحِيمٗا

Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiimu. info
التفاسير: |

13 : 73

وَطَعَامٗا ذَا غُصَّةٖ وَعَذَابًا أَلِيمٗا

N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma. info
التفاسير: |

14 : 73

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلۡأَرۡضُ وَٱلۡجِبَالُ وَكَانَتِ ٱلۡجِبَالُ كَثِيبٗا مَّهِيلًا

Olunaku ensi n'ensozi lwebirinyeenya era ensozi ne zifuuka entuumu z'omusenyu ogufuumuuka. info
التفاسير: |

15 : 73

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ رَسُولٗا شَٰهِدًا عَلَيۡكُمۡ كَمَآ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ رَسُولٗا

Mazima Ffe ffe twabatumira Omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Falaawo Omubaka. info
التفاسير: |

16 : 73

فَعَصَىٰ فِرۡعَوۡنُ ٱلرَّسُولَ فَأَخَذۡنَٰهُ أَخۡذٗا وَبِيلٗا

Wabula Falaawo yajeemera Omubaka, kye twava tumukwata olukwata olw'amaanyi. info
التفاسير: |

17 : 73

فَكَيۡفَ تَتَّقُونَ إِن كَفَرۡتُمۡ يَوۡمٗا يَجۡعَلُ ٱلۡوِلۡدَٰنَ شِيبًا

Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde. info
التفاسير: |

18 : 73

ٱلسَّمَآءُ مُنفَطِرُۢ بِهِۦۚ كَانَ وَعۡدُهُۥ مَفۡعُولًا

Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Allah ky'alagaanyisa kiteekwa okutuukirira. info
التفاسير: |

19 : 73

إِنَّ هَٰذِهِۦ تَذۡكِرَةٞۖ فَمَن شَآءَ ٱتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلًا

(Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala Kulaani mugitwale nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda Omulezi We. info
التفاسير: |
next

Al–Muzzamil

prev
:
0:00 0:00