prev

Nuuh

next

1 : 71

إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرۡ قَوۡمَكَ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ

Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo ebibonerezo abiruma ennyo nga tebinabajjira. info
التفاسير: |

2 : 71

قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٌ

Naabagamba nti abange bantu nange mazima nze ndi mutiisa owolwatu. info
التفاسير: |

3 : 71

أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُ وَأَطِيعُونِ

Nti musinze Allah era mu mutye nange mungondere. info
التفاسير: |

4 : 71

يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرۡكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمًّىۚ إِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ إِذَا جَآءَ لَا يُؤَخَّرُۚ لَوۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Allah bweziba zituuse tezirindirizibwa singa mumanyi. info
التفاسير: |

5 : 71

قَالَ رَبِّ إِنِّي دَعَوۡتُ قَوۡمِي لَيۡلٗا وَنَهَارٗا

Awamu nekyo tebakkiriza, Nuhu n'agamba nti ayi omulezi wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana. info
التفاسير: |

6 : 71

فَلَمۡ يَزِدۡهُمۡ دُعَآءِيٓ إِلَّا فِرَارٗا

Wabula okukowoola kwange tekubongedde okujjako okunnesamba. info
التفاسير: |

7 : 71

وَإِنِّي كُلَّمَا دَعَوۡتُهُمۡ لِتَغۡفِرَ لَهُمۡ جَعَلُوٓاْ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَٱسۡتَغۡشَوۡاْ ثِيَابَهُمۡ وَأَصَرُّواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ ٱسۡتِكۡبَارٗا

Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza. info
التفاسير: |

8 : 71

ثُمَّ إِنِّي دَعَوۡتُهُمۡ جِهَارٗا

Ate era mazima mbakowodde mulwatu. info
التفاسير: |

9 : 71

ثُمَّ إِنِّيٓ أَعۡلَنتُ لَهُمۡ وَأَسۡرَرۡتُ لَهُمۡ إِسۡرَارٗا

Era oluvanyuma njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu. info
التفاسير: |

10 : 71

فَقُلۡتُ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ إِنَّهُۥ كَانَ غَفَّارٗا

Nembagamba nti mwegayirire omulezi wammwe kubanga mazima yye bulijjo musonyiyi. info
التفاسير: |
prev

Nuuh

next
:
0:00 0:00