prev

Al-Insan

next

1 : 76

هَلۡ أَتَىٰ عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ حِينٞ مِّنَ ٱلدَّهۡرِ لَمۡ يَكُن شَيۡـٔٗا مَّذۡكُورًا

Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa). info
التفاسير: |

2 : 76

إِنَّا خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٍ أَمۡشَاجٖ نَّبۡتَلِيهِ فَجَعَلۡنَٰهُ سَمِيعَۢا بَصِيرًا

Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) ngatumugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba. info
التفاسير: |

3 : 76

إِنَّا هَدَيۡنَٰهُ ٱلسَّبِيلَ إِمَّا شَاكِرٗا وَإِمَّا كَفُورًا

Mazima ddala twamulaga ekkubo, kiri jali yeebaze asiinze Katonda omu oba ajeeme awakanye. info
التفاسير: |

4 : 76

إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ سَلَٰسِلَاْ وَأَغۡلَٰلٗا وَسَعِيرًا

Mazima ddala abatakkiriza Allah n'ababaka be twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka. info
التفاسير: |

5 : 76

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ يَشۡرَبُونَ مِن كَأۡسٖ كَانَ مِزَاجُهَا كَافُورًا

Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kaafuura. info
التفاسير: |
prev

Al-Insan

next
:
0:00 0:00