prev

Al-Kiyamah

next

external-link copy
1 : 75

لَآ أُقۡسِمُ بِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ

Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira. info
التفاسير: |

external-link copy
2 : 75

وَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلنَّفۡسِ ٱللَّوَّامَةِ

Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa. info
التفاسير: |

external-link copy
3 : 75

أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَلَّن نَّجۡمَعَ عِظَامَهُۥ

Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage. info
التفاسير: |

external-link copy
4 : 75

بَلَىٰ قَٰدِرِينَ عَلَىٰٓ أَن نُّسَوِّيَ بَنَانَهُۥ

Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe. info
التفاسير: |

external-link copy
5 : 75

بَلۡ يُرِيدُ ٱلۡإِنسَٰنُ لِيَفۡجُرَ أَمَامَهُۥ

Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona. info
التفاسير: |

external-link copy
6 : 75

يَسۡـَٔلُ أَيَّانَ يَوۡمُ ٱلۡقِيَٰمَةِ

Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi. info
التفاسير: |

external-link copy
7 : 75

فَإِذَا بَرِقَ ٱلۡبَصَرُ

Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya. info
التفاسير: |

external-link copy
8 : 75

وَخَسَفَ ٱلۡقَمَرُ

Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo. info
التفاسير: |

external-link copy
9 : 75

وَجُمِعَ ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ

Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana). info
التفاسير: |

external-link copy
10 : 75

يَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذٍ أَيۡنَ ٱلۡمَفَرُّ

Ku lunaku olwo omuntu agenda kugamba nti nzirukirewa!. info
التفاسير: |

external-link copy
11 : 75

كَلَّا لَا وَزَرَ

Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka. info
التفاسير: |

external-link copy
12 : 75

إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمُسۡتَقَرُّ

Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri mulezi wo. info
التفاسير: |

external-link copy
13 : 75

يُنَبَّؤُاْ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذِۭ بِمَا قَدَّمَ وَأَخَّرَ

Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakulembeza nebyeyasembyaayo. info
التفاسير: |

external-link copy
14 : 75

بَلِ ٱلۡإِنسَٰنُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ بَصِيرَةٞ

Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda). info
التفاسير: |

external-link copy
15 : 75

وَلَوۡ أَلۡقَىٰ مَعَاذِيرَهُۥ

Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda. info
التفاسير: |

external-link copy
16 : 75

لَا تُحَرِّكۡ بِهِۦ لِسَانَكَ لِتَعۡجَلَ بِهِۦٓ

Bwoba osoma qur'an toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okujinyweeza. info
التفاسير: |

external-link copy
17 : 75

إِنَّ عَلَيۡنَا جَمۡعَهُۥ وَقُرۡءَانَهُۥ

Anti okujikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okujinywereza ku lulimi lwo ngojisoma. info
التفاسير: |

external-link copy
18 : 75

فَإِذَا قَرَأۡنَٰهُ فَٱتَّبِعۡ قُرۡءَانَهُۥ

Kale nno bwetumala okujikusomera (nga tujiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo. info
التفاسير: |

external-link copy
19 : 75

ثُمَّ إِنَّ عَلَيۡنَا بَيَانَهُۥ

Oluvanyuma mazima dala okujinnyonnyola kuli kuffe. info
التفاسير: |
prev

Al-Kiyamah

next