prev

Al–Muddathir

next

1 : 74

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُدَّثِّرُ

Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda). info
التفاسير: |

2 : 74

قُمۡ فَأَنذِرۡ

Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda. info
التفاسير: |

3 : 74

وَرَبَّكَ فَكَبِّرۡ

Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza. info
التفاسير: |

4 : 74

وَثِيَابَكَ فَطَهِّرۡ

N'engoyezo zitukuze. info
التفاسير: |

5 : 74

وَٱلرُّجۡزَ فَٱهۡجُرۡ

Amasanamu geewalire ddala. info
التفاسير: |

6 : 74

وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ

Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu kuno kunsi. info
التفاسير: |

7 : 74

وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ

Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kw'omuleziwo. info
التفاسير: |

8 : 74

فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ

Engombe bwerifuuyibwa (kulunaku lwokuzuukira). info
التفاسير: |

9 : 74

فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٖ يَوۡمٌ عَسِيرٌ

Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito. info
التفاسير: |

10 : 74

عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٖ

Terugenda kuba lwangu eri abatakkiriza Allah n'ababaka be. info
التفاسير: |

11 : 74

ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدٗا

Owange ggwe Nabbi Muhammad ndeka nooyo gwe nnetondera. info
التفاسير: |

12 : 74

وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا

Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu. info
التفاسير: |

13 : 74

وَبَنِينَ شُهُودٗا

Nemuwa nabaana abatutumufu. info
التفاسير: |

14 : 74

وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدٗا

Ne mugaziyiriza olugaziya (ebyenfuna obukulembeze n'ekitiibwa). info
التفاسير: |

15 : 74

ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ

Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo. info
التفاسير: |

16 : 74

كَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدٗا

Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (qur'an). info
التفاسير: |

17 : 74

سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا

Nja kumussaako ebibonerezo ebizito. info
التفاسير: |

18 : 74

إِنَّهُۥ فَكَّرَ وَقَدَّرَ

Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola qur'an. info
التفاسير: |
prev

Al–Muddathir

next
:
0:00 0:00