prev

Ashamsu

next

external-link copy
1 : 91

وَٱلشَّمۡسِ وَضُحَىٰهَا

Ndayira enjuba n’okwaka kwayo. info
التفاسير: |

external-link copy
2 : 91

وَٱلۡقَمَرِ إِذَا تَلَىٰهَا

Era ndayira omwezi bweguba nga gugoberedde enjuba (ng’egudde) info
التفاسير: |

external-link copy
3 : 91

وَٱلنَّهَارِ إِذَا جَلَّىٰهَا

Era ndayira obudde obw’emisana ngabweerudde enjuba. info
التفاسير: |

external-link copy
4 : 91

وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰهَا

Era ndayira ekiro bwe kiba nga kibisse ebiri kunsi. info
التفاسير: |

external-link copy
5 : 91

وَٱلسَّمَآءِ وَمَا بَنَىٰهَا

Era ndayira eggulu n’eyalitonda nokutondebwa kwaalyo okunene. info
التفاسير: |

external-link copy
6 : 91

وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا طَحَىٰهَا

Era ndayira ensi n’oyo eyajaalirila info
التفاسير: |

external-link copy
7 : 91

وَنَفۡسٖ وَمَا سَوَّىٰهَا

Era ndayira omuntu n’eyamutonda. info
التفاسير: |

external-link copy
8 : 91

فَأَلۡهَمَهَا فُجُورَهَا وَتَقۡوَىٰهَا

N’aguwa (omwoyo) okwawula wakati w’ekibi n’ekirung. info
التفاسير: |

external-link copy
9 : 91

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن زَكَّىٰهَا

Yesiimye alongoosa omwoyogwe okugujja mu bibi. info
التفاسير: |

external-link copy
10 : 91

وَقَدۡ خَابَ مَن دَسَّىٰهَا

Era aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi. info
التفاسير: |

external-link copy
11 : 91

كَذَّبَتۡ ثَمُودُ بِطَغۡوَىٰهَآ

Abantu ba thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe). info
التفاسير: |

external-link copy
12 : 91

إِذِ ٱنۢبَعَثَ أَشۡقَىٰهَا

Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya). info
التفاسير: |

external-link copy
13 : 91

فَقَالَ لَهُمۡ رَسُولُ ٱللَّهِ نَاقَةَ ٱللَّهِ وَسُقۡيَٰهَا

Omubaka wa Allah n’abagamba “muleke engamiya ya Allah n’okunywa kwayo”. info
التفاسير: |

external-link copy
14 : 91

فَكَذَّبُوهُ فَعَقَرُوهَا فَدَمۡدَمَ عَلَيۡهِمۡ رَبُّهُم بِذَنۢبِهِمۡ فَسَوَّىٰهَا

Kyokka ne bamulimbisa ne bajifumita. Katonda omulezi wabwe (Allah) waabwe kwe kubabuutikira nebibonerezo olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona info
التفاسير: |

external-link copy
15 : 91

وَلَا يَخَافُ عُقۡبَٰهَا

Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza). info
التفاسير: |
prev

Ashamsu

next