Check out the new design

Traduction des sens du Noble Coran - La traduction ougandaise - La Fondation Africaine pour le Développement. * - Lexique des traductions


Traduction des sens Sourate: Ar Ra'd   Verset:
ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ طُوبَىٰ لَهُمۡ وَحُسۡنُ مَـَٔابٖ
29. Be bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirongoofu, bagenda kufuna okwesiima n'obuddo obulungi.
Les exégèses en arabe:
كَذَٰلِكَ أَرۡسَلۡنَٰكَ فِيٓ أُمَّةٖ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهَآ أُمَمٞ لِّتَتۡلُوَاْ عَلَيۡهِمُ ٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ وَهُمۡ يَكۡفُرُونَ بِٱلرَّحۡمَٰنِۚ قُلۡ هُوَ رَبِّي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُ وَإِلَيۡهِ مَتَابِ
30. Nabwekityo twakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) mu bantu nga oluberyeberye lwa bwe waaliyo ebibiina bingi obe nga obasomera ekyo kye twassa gyoli, nga bali ku kuwakanya Katonda ow'ekisa ekingi, bagambe nti yye ye Mukama omulabirizi wange, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, ye gwenneekwasizza era gyali gye njolekeza okwenenya kwange.
Les exégèses en arabe:
وَلَوۡ أَنَّ قُرۡءَانٗا سُيِّرَتۡ بِهِ ٱلۡجِبَالُ أَوۡ قُطِّعَتۡ بِهِ ٱلۡأَرۡضُ أَوۡ كُلِّمَ بِهِ ٱلۡمَوۡتَىٰۗ بَل لِّلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ جَمِيعًاۗ أَفَلَمۡ يَاْيۡـَٔسِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَهَدَى ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۗ وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ تُصِيبُهُم بِمَا صَنَعُواْ قَارِعَةٌ أَوۡ تَحُلُّ قَرِيبٗا مِّن دَارِهِمۡ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ وَعۡدُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ
31. Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano.
Les exégèses en arabe:
وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَأَمۡلَيۡتُ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ ثُمَّ أَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ عِقَابِ
32. Era mazima ababaka bangi abaagyejebwa oluberyeberyelwo, naye nennindiriza abo abaakaafuwala, oluvanyuma nnabakwata (ggwe) olaba okubonereza kwange kwali kutya.
Les exégèses en arabe:
أَفَمَنۡ هُوَ قَآئِمٌ عَلَىٰ كُلِّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡۗ وَجَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ قُلۡ سَمُّوهُمۡۚ أَمۡ تُنَبِّـُٔونَهُۥ بِمَا لَا يَعۡلَمُ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَم بِظَٰهِرٖ مِّنَ ٱلۡقَوۡلِۗ بَلۡ زُيِّنَ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ مَكۡرُهُمۡ وَصُدُّواْ عَنِ ٱلسَّبِيلِۗ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٖ
33. Abaffe oyo alina obuyinza ku buli mwoyo olw'ebyo bye gukola (ayinza okufaanana nga oyo atali bwatyo). Abantu nebatuuka okugatta ku Katonda ebisinzibwa ebirala. Bagambe nti: muboogere (be baani) bwe kitaba ekyo muba nga abamutegeeza ebyo byatamanyi ku nsi, oba mumala gakozesa bigambo ku ngulu kwabyo (nga bwe mulaba), (wabula) ekituufu kiri nti abo abaakaafuwala enkwe zaabwe zaabalabikira okuba nga nnungi olwo nno ne baggyibwa ku kkubo. Oyo yenna Katonda gwaba abuzizza tayinza kubaako alungamya.
Les exégèses en arabe:
لَّهُمۡ عَذَابٞ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَشَقُّۖ وَمَا لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن وَاقٖ
34. Balina ebibonerezo mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali. Tebagenda kufuna mutaasa yenna ku Katonda.
Les exégèses en arabe:
 
Traduction des sens Sourate: Ar Ra'd
Lexique des sourates Numéro de la page
 
Traduction des sens du Noble Coran - La traduction ougandaise - La Fondation Africaine pour le Développement. - Lexique des traductions

Source : La Fondation Africaine pour le Développement.

Fermeture