Check out the new design

क़ुरआन के अर्थों का अनुवाद - लुगांडा अनुवाद - अफ्रीकी विकास फाउंडेशन * - अनुवादों की सूची


अर्थों का अनुवाद सूरा: अल्-कह्फ़   आयत:
مَّا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٖ وَلَا لِأٓبَآئِهِمۡۚ كَبُرَتۡ كَلِمَةٗ تَخۡرُجُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبٗا
5 . Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.
अरबी तफ़सीरें:
فَلَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ إِن لَّمۡ يُؤۡمِنُواْ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَسَفًا
6 . Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino.
अरबी तफ़सीरें:
إِنَّا جَعَلۡنَا مَا عَلَى ٱلۡأَرۡضِ زِينَةٗ لَّهَا لِنَبۡلُوَهُمۡ أَيُّهُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗا
7 . Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi.
अरबी तफ़सीरें:
وَإِنَّا لَجَٰعِلُونَ مَا عَلَيۡهَا صَعِيدٗا جُرُزًا
8 . Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu.
अरबी तफ़सीरें:
أَمۡ حَسِبۡتَ أَنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡكَهۡفِ وَٱلرَّقِيمِ كَانُواْ مِنۡ ءَايَٰتِنَا عَجَبًا
9 . Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala.
अरबी तफ़सीरें:
إِذۡ أَوَى ٱلۡفِتۡيَةُ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ فَقَالُواْ رَبَّنَآ ءَاتِنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةٗ وَهَيِّئۡ لَنَا مِنۡ أَمۡرِنَا رَشَدٗا
10 . Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu.
अरबी तफ़सीरें:
فَضَرَبۡنَا عَلَىٰٓ ءَاذَانِهِمۡ فِي ٱلۡكَهۡفِ سِنِينَ عَدَدٗا
11 . Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi.
अरबी तफ़सीरें:
ثُمَّ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِنَعۡلَمَ أَيُّ ٱلۡحِزۡبَيۡنِ أَحۡصَىٰ لِمَا لَبِثُوٓاْ أَمَدٗا
12 . Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu.
अरबी तफ़सीरें:
نَّحۡنُ نَقُصُّ عَلَيۡكَ نَبَأَهُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّهُمۡ فِتۡيَةٌ ءَامَنُواْ بِرَبِّهِمۡ وَزِدۡنَٰهُمۡ هُدٗى
13 . Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu.
अरबी तफ़सीरें:
وَرَبَطۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ إِذۡ قَامُواْ فَقَالُواْ رَبُّنَا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَن نَّدۡعُوَاْ مِن دُونِهِۦٓ إِلَٰهٗاۖ لَّقَدۡ قُلۡنَآ إِذٗا شَطَطًا
14 . Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi.
अरबी तफ़सीरें:
هَٰٓؤُلَآءِ قَوۡمُنَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ لَّوۡلَا يَأۡتُونَ عَلَيۡهِم بِسُلۡطَٰنِۭ بَيِّنٖۖ فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا
15 . Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba.
अरबी तफ़सीरें:
 
अर्थों का अनुवाद सूरा: अल्-कह्फ़
सूरों की सूची पृष्ठ संख्या
 
क़ुरआन के अर्थों का अनुवाद - लुगांडा अनुवाद - अफ्रीकी विकास फाउंडेशन - अनुवादों की सूची

अफ़्रीकी विकास फ़ाउंडेशन की ओर से निर्गत।

बंद करें