Check out the new design

क़ुरआन के अर्थों का अनुवाद - लुगांडा अनुवाद - अफ्रीकी विकास फाउंडेशन * - अनुवादों की सूची


अर्थों का अनुवाद सूरा: अर्-रूम   आयत:
وَلَئِنۡ أَرۡسَلۡنَا رِيحٗا فَرَأَوۡهُ مُصۡفَرّٗا لَّظَلُّواْ مِنۢ بَعۡدِهِۦ يَكۡفُرُونَ
51 . Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (e birime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda).
अरबी तफ़सीरें:
فَإِنَّكَ لَا تُسۡمِعُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَلَا تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا وَلَّوۡاْ مُدۡبِرِينَ
52 . (N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega.
अरबी तफ़सीरें:
وَمَآ أَنتَ بِهَٰدِ ٱلۡعُمۡيِ عَن ضَلَٰلَتِهِمۡۖ إِن تُسۡمِعُ إِلَّا مَن يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا فَهُم مُّسۡلِمُونَ
53 . Era toli asobola kulungamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe nebaba nga beewadde Katonda.
अरबी तफ़सीरें:
۞ ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن ضَعۡفٖ ثُمَّ جَعَلَ مِنۢ بَعۡدِ ضَعۡفٖ قُوَّةٗ ثُمَّ جَعَلَ مِنۢ بَعۡدِ قُوَّةٖ ضَعۡفٗا وَشَيۡبَةٗۚ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡقَدِيرُ
54 . Katonda yooyo eyatonda mmwe okutandikira mu bunafu, ate oluvanyuma lw'obunafu yabawa amaanyi, ate oluvanyuma lw'amaanyi yassaawo obunafu n'obukadde. Atonda kyaba ayagadde era yye ye mumanyi ennyo omuyinza.
अरबी तफ़सीरें:
وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يُقۡسِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ مَا لَبِثُواْ غَيۡرَ سَاعَةٖۚ كَذَٰلِكَ كَانُواْ يُؤۡفَكُونَ
55 . Olunaku lw'enkomerero lwe lulituuka aboonoonyi balilayira nti (Ku nsi) tebaatuulako okugyako kaseera katono, bwe batyo nno bwe baali bawugulwa.
अरबी तफ़सीरें:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَٱلۡإِيمَٰنَ لَقَدۡ لَبِثۡتُمۡ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡبَعۡثِۖ فَهَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡبَعۡثِ وَلَٰكِنَّكُمۡ كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ
56 . Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi.
अरबी तफ़सीरें:
فَيَوۡمَئِذٖ لَّا يَنفَعُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مَعۡذِرَتُهُمۡ وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ
57 . Ku lunaku olwo abo abeeyisa obubi okwetonda kwa bwe tekulibagasa era tebagenda kukubirizibwa kwenenya.
अरबी तफ़सीरें:
وَلَقَدۡ ضَرَبۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖۚ وَلَئِن جِئۡتَهُم بِـَٔايَةٖ لَّيَقُولَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا مُبۡطِلُونَ
58 . Mazima tukubidde abantu mu Kur’ani eno buli kika kya kifaananyi, naye singa obaleetedde akabonero konna, ddala abo abakaafuwala bajja kugamba nti temuli mmwe okugyako okuba aboonoonyi.
अरबी तफ़सीरें:
كَذَٰلِكَ يَطۡبَعُ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ
59 . Bwatyo Katonda bwazibikira emitima gy'abo abatamanyi.
अरबी तफ़सीरें:
فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۖ وَلَا يَسۡتَخِفَّنَّكَ ٱلَّذِينَ لَا يُوقِنُونَ
60 . Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda.
अरबी तफ़सीरें:
 
अर्थों का अनुवाद सूरा: अर्-रूम
सूरों की सूची पृष्ठ संख्या
 
क़ुरआन के अर्थों का अनुवाद - लुगांडा अनुवाद - अफ्रीकी विकास फाउंडेशन - अनुवादों की सूची

अफ़्रीकी विकास फ़ाउंडेशन की ओर से निर्गत।

बंद करें