クルアーンの対訳 - ルガンダ語対訳 - The African Development Foundation team * - 対訳の目次


対訳 章: ター・ハー章   節:

Twaha

طه
1 . Twa-haa.
アラビア語 クルアーン注釈:
مَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لِتَشۡقَىٰٓ
2 . Tetwakussaako Kur’ani obe nga ozitoowererwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِلَّا تَذۡكِرَةٗ لِّمَن يَخۡشَىٰ
3 . Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Katonda.
アラビア語 クルアーン注釈:
تَنزِيلٗا مِّمَّنۡ خَلَقَ ٱلۡأَرۡضَ وَٱلسَّمَٰوَٰتِ ٱلۡعُلَى
4 . (Kur’ani eno) yassibwa okuva eri oyo eyatonda ensi n'eggulu eryewanise.
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱلرَّحۡمَٰنُ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ ٱسۡتَوَىٰ
5 . Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi, yatebenkera ku Arish.
アラビア語 クルアーン注釈:
لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَمَا تَحۡتَ ٱلثَّرَىٰ
6 . Bibye ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, n'ebyo ebiri wansi w'ettaka.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَإِن تَجۡهَرۡ بِٱلۡقَوۡلِ فَإِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلسِّرَّ وَأَخۡفَى
7 . Singa olina ekigambo kyonna kyoyatudde (k'obe nga tokyatudde) anti mazima yye amanyi ekyekyama n'ekisinga okubeera ekikweke.
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ لَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰ
8 . Katonda y'oyo ewatali kisinzibwa kya mazima okugyako yye. Y'alina amannya agasinga obulungi.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَهَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ
9 . Abaffe kwakujjira okwogera (ku kyafaayo) kya Musa.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِذۡ رَءَا نَارٗا فَقَالَ لِأَهۡلِهِ ٱمۡكُثُوٓاْ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا لَّعَلِّيٓ ءَاتِيكُم مِّنۡهَا بِقَبَسٍ أَوۡ أَجِدُ عَلَى ٱلنَّارِ هُدٗى
10 . Mu kiseera weyalabira omuliro alyoke agambe abantube nti (mutuule) wano, mazima nze nengende omuliro (kangendeyo) sikulwa nga mbaleetera okuva gye guli eryanda si nakindi nensanga awali omuliro obulungamu.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَلَمَّآ أَتَىٰهَا نُودِيَ يَٰمُوسَىٰٓ
11 . Musa bwe yagutuukako yakoowoolwa nti: owange ggwe Musa.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنِّيٓ أَنَا۠ رَبُّكَ فَٱخۡلَعۡ نَعۡلَيۡكَ إِنَّكَ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوٗى
12 . Mazima nze, nze Mukama omulabiriziwo kale ggyamu engattozo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَأَنَا ٱخۡتَرۡتُكَ فَٱسۡتَمِعۡ لِمَا يُوحَىٰٓ
13 . Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّنِيٓ أَنَا ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدۡنِي وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِذِكۡرِيٓ
14 . Mazima nze, nze Katonda nga tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٌ أَكَادُ أُخۡفِيهَا لِتُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا تَسۡعَىٰ
15 . Anti mazima ekiseera (ebitonde lwe birizuukizibwa) kijja kutuuka mbula kukikweka (nange mbe nga sikimanya, ate bo bakimanyira wa), olwo nno (bwe kiriba kituuse) buli mwoyo gulyoke gusasulwe ebyo bye gwatakabanira.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَلَا يَصُدَّنَّكَ عَنۡهَا مَن لَّا يُؤۡمِنُ بِهَا وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ فَتَرۡدَىٰ
16 . Kale nno takulabankanya okukuggya ku kukolerera ekiseera ekyo, oyo yenna atakikkiriza nga agoberera kwagalakwe (nekikuviirako) okuzikirira.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَمَا تِلۡكَ بِيَمِينِكَ يَٰمُوسَىٰ
17 . Owange Musa kiki ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo?.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ هِيَ عَصَايَ أَتَوَكَّؤُاْ عَلَيۡهَا وَأَهُشُّ بِهَا عَلَىٰ غَنَمِي وَلِيَ فِيهَا مَـَٔارِبُ أُخۡرَىٰ
18 . Naagamba nti ogwo muggo gwange, gunyamba nga ntambula, era gwe nneeyambisa okukuba ebikoola embuzi zange (ziryoke zirye) era nina mugwo emigaso emirala.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ أَلۡقِهَا يَٰمُوسَىٰ
19 . Katonda naagamba owange Musa gukasuke wansi.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأَلۡقَىٰهَا فَإِذَا هِيَ حَيَّةٞ تَسۡعَىٰ
20 . Naagukasuka, okugenda okulaba nga gwo musota ogutambula.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ خُذۡهَا وَلَا تَخَفۡۖ سَنُعِيدُهَا سِيرَتَهَا ٱلۡأُولَىٰ
21 . Katonga naagamba gukwate, era totya, tujja kuguzza ku mbeera yaagwo ey'abulijjo.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَٱضۡمُمۡ يَدَكَ إِلَىٰ جَنَاحِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٍ ءَايَةً أُخۡرَىٰ
22 . Yingiza omukono gwo mu nkwawazo, gugenda kuvaayo nga mweru nga ate tegutuukiddwako kabi, nakyo nga ky'amagero kirala.
アラビア語 クルアーン注釈:
لِنُرِيَكَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا ٱلۡكُبۡرَى
23 . Olwo nno tulyoke tukulage obubonero bwaffe obunene.
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱذۡهَبۡ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ
24 . Genda ewa Firaawo mazima yye yabula (naafuuka kiwagi).
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ رَبِّ ٱشۡرَحۡ لِي صَدۡرِي
25 . (Musa) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange, nyanjululiza ekifuba kyange.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَيَسِّرۡ لِيٓ أَمۡرِي
26 . Era onsobozese omulimu gwange.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَٱحۡلُلۡ عُقۡدَةٗ مِّن لِّسَانِي
27 . Era ojje okwesiba mu lulimi lwange.
アラビア語 クルアーン注釈:
يَفۡقَهُواْ قَوۡلِي
28 . Bategeere ebigambo byange.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَٱجۡعَل لِّي وَزِيرٗا مِّنۡ أَهۡلِي
29 . Era onteerewo omuyambi nga ava mu b'oluganda lwange.
アラビア語 クルアーン注釈:
هَٰرُونَ أَخِي
30 . (Nga ye) Haruna muganda wange.
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱشۡدُدۡ بِهِۦٓ أَزۡرِي
31 . Nkusaba oggumize naye obusobozi bwange.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَأَشۡرِكۡهُ فِيٓ أَمۡرِي
32 . Era omugatte (ku nze) mu mulimu gwange.
アラビア語 クルアーン注釈:
كَيۡ نُسَبِّحَكَ كَثِيرٗا
33 . Olwo nno tube nga tukutendereza nnyo.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَنَذۡكُرَكَ كَثِيرًا
34 . Era tukwogereko nnyo.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّكَ كُنتَ بِنَا بَصِيرٗا
35 . Mazima ggwe bulijjo otulabira ddala.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ قَدۡ أُوتِيتَ سُؤۡلَكَ يَٰمُوسَىٰ
36 . (Katonda) naagamba nti owange Musa, oweereddwa ebisabwa byo.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَقَدۡ مَنَنَّا عَلَيۡكَ مَرَّةً أُخۡرَىٰٓ
37 . Era mazima twakugabira ekyengera omulundi omulala (oluberyeberye lwa kino).
アラビア語 クルアーン注釈:
إِذۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّكَ مَا يُوحَىٰٓ
38 . Mu kiseera bwe twatumira eri Maamawo ekyo kye twamutumira.
アラビア語 クルアーン注釈:
أَنِ ٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلتَّابُوتِ فَٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ فَلۡيُلۡقِهِ ٱلۡيَمُّ بِٱلسَّاحِلِ يَأۡخُذۡهُ عَدُوّٞ لِّي وَعَدُوّٞ لَّهُۥۚ وَأَلۡقَيۡتُ عَلَيۡكَ مَحَبَّةٗ مِّنِّي وَلِتُصۡنَعَ عَلَىٰ عَيۡنِيٓ
39 . (Netumugamba) nti musse mu sanduke (bwomala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva gyendi, era olyoke obeere mu kulabirirwa kwange.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِذۡ تَمۡشِيٓ أُخۡتُكَ فَتَقُولُ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ مَن يَكۡفُلُهُۥۖ فَرَجَعۡنَٰكَ إِلَىٰٓ أُمِّكَ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَۚ وَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا فَنَجَّيۡنَٰكَ مِنَ ٱلۡغَمِّ وَفَتَنَّٰكَ فُتُونٗاۚ فَلَبِثۡتَ سِنِينَ فِيٓ أَهۡلِ مَدۡيَنَ ثُمَّ جِئۡتَ عَلَىٰ قَدَرٖ يَٰمُوسَىٰ
40 . Jjukira ekiseera mwannyoko bwe yatambula (naatuuka ku bantu bo mu maka ga Firaawo), naagamba nti abaffe mbalagirire omuntu anaamulabirira, olwo netukuzza ewa Maamawo, eriiso lye liryoke litebenkere (omutima gumubeere wamu), era aleme kunakuwala, (era jjukira nti lumu) watta omuntu wabula netukuwonya okweraliikirira era twakugezesa n'ebigezo bingi, nootuula emyaka egiwera mu bantu be Madiana. Oluvanyuma owange Musa bwomaze nojja wano Katonda nga bwe yakugerera.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَٱصۡطَنَعۡتُكَ لِنَفۡسِي
41 . Era nkwawudde nga oli wange (nkuwadde obubaka).
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱذۡهَبۡ أَنتَ وَأَخُوكَ بِـَٔايَٰتِي وَلَا تَنِيَا فِي ذِكۡرِي
42 . Genda ggwe ne mugandawo, nga mututte obubonero bwange, kyokka temukoowanga okunjogerako.
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱذۡهَبَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ
43 . Mugende mwembiriri ewa Firaawo, mazima yeewaggula.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَقُولَا لَهُۥ قَوۡلٗا لَّيِّنٗا لَّعَلَّهُۥ يَتَذَكَّرُ أَوۡ يَخۡشَىٰ
44 . Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَا رَبَّنَآ إِنَّنَا نَخَافُ أَن يَفۡرُطَ عَلَيۡنَآ أَوۡ أَن يَطۡغَىٰ
45 . (Musa ne Haruna) nebagamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tutya, ayinza okutubonyaabonya ennyo, oba (yye) okweyongera okwewaggula.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ لَا تَخَافَآۖ إِنَّنِي مَعَكُمَآ أَسۡمَعُ وَأَرَىٰ
46 . (Katonda) naagamba nti temutya mazima nze ndi wamu nammwe mpulira era ndaba.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأۡتِيَاهُ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولَا رَبِّكَ فَأَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ وَلَا تُعَذِّبۡهُمۡۖ قَدۡ جِئۡنَٰكَ بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّكَۖ وَٱلسَّلَٰمُ عَلَىٰ مَنِ ٱتَّبَعَ ٱلۡهُدَىٰٓ
47 . Kale nno mugende gyali mwembiriri mumugambe nti mazima ffe fembi tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo, tuleke tugende n'abaana ba Israil era tobabonyaabonya. Mazima tukujjidde n'ekyamagero okuva ewa Mukama omulabiriziwo, era bulijjo emirembe gibeera ku oyo agoberera obulungamu.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّا قَدۡ أُوحِيَ إِلَيۡنَآ أَنَّ ٱلۡعَذَابَ عَلَىٰ مَن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ
48 . Mazima ffe tuweereddwa obubaka nti, mazima ebibonerezo bibeera ku oyo yenna alimbisa naava ku kituufu.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ فَمَن رَّبُّكُمَا يَٰمُوسَىٰ
49 . (Oluvanyuma bombi baatuuka ewa Firaawo), naagamba nti owange Musa olwo ani Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri?.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ رَبُّنَا ٱلَّذِيٓ أَعۡطَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ خَلۡقَهُۥ ثُمَّ هَدَىٰ
50 . (Musa) naagamba nti Mukama omulabirizi waffe y'oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, oluvanyuma naakirungamya (ku ngeri gye kiteekwa okuwangaalamu).
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ فَمَا بَالُ ٱلۡقُرُونِ ٱلۡأُولَىٰ
51 . (Firaawo) naagamba (bwe guba bwe gutyo) emirembe egyakulembera gyo gibalibwa gitya.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ عِلۡمُهَا عِندَ رَبِّي فِي كِتَٰبٖۖ لَّا يَضِلُّ رَبِّي وَلَا يَنسَى
52 . (Musa) naagamba nti ebigifaako biri wa Mukama omulabirizi wange nga biri mu kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama omulabirizi wange takola kikyamu era teyeerabira.
アラビア語 クルアーン注釈:
ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَسَلَكَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّن نَّبَاتٖ شَتَّىٰ
53 . (Omulabirizi wange) oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, naabateera mu yo amakubo, era nassa okuva waggulu amazzi netumeza nago emitendera ebiri mu bimera ebitali bimu.
アラビア語 クルアーン注釈:
كُلُواْ وَٱرۡعَوۡاْ أَنۡعَٰمَكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ
54 . (Netugamba nti) mulye era mulunde ebisolo bya mmwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi.
アラビア語 クルアーン注釈:
۞ مِنۡهَا خَلَقۡنَٰكُمۡ وَفِيهَا نُعِيدُكُمۡ وَمِنۡهَا نُخۡرِجُكُمۡ تَارَةً أُخۡرَىٰ
55 . Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَقَدۡ أَرَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا كُلَّهَا فَكَذَّبَ وَأَبَىٰ
56 . Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ أَجِئۡتَنَا لِتُخۡرِجَنَا مِنۡ أَرۡضِنَا بِسِحۡرِكَ يَٰمُوسَىٰ
57 . (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَلَنَأۡتِيَنَّكَ بِسِحۡرٖ مِّثۡلِهِۦ فَٱجۡعَلۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكَ مَوۡعِدٗا لَّا نُخۡلِفُهُۥ نَحۡنُ وَلَآ أَنتَ مَكَانٗا سُوٗى
58 . Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi).
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ مَوۡعِدُكُمۡ يَوۡمُ ٱلزِّينَةِ وَأَن يُحۡشَرَ ٱلنَّاسُ ضُحٗى
59 . (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَتَوَلَّىٰ فِرۡعَوۡنُ فَجَمَعَ كَيۡدَهُۥ ثُمَّ أَتَىٰ
60 . Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye).
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ وَيۡلَكُمۡ لَا تَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا فَيُسۡحِتَكُم بِعَذَابٖۖ وَقَدۡ خَابَ مَنِ ٱفۡتَرَىٰ
61 . Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَتَنَٰزَعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَىٰ
62 . (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَٰنِ لَسَٰحِرَٰنِ يُرِيدَانِ أَن يُخۡرِجَاكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِمَا وَيَذۡهَبَا بِطَرِيقَتِكُمُ ٱلۡمُثۡلَىٰ
63 . Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأَجۡمِعُواْ كَيۡدَكُمۡ ثُمَّ ٱئۡتُواْ صَفّٗاۚ وَقَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡيَوۡمَ مَنِ ٱسۡتَعۡلَىٰ
64 . Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِمَّآ أَن تُلۡقِيَ وَإِمَّآ أَن نَّكُونَ أَوَّلَ مَنۡ أَلۡقَىٰ
65 . Nebagamba nti owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ بَلۡ أَلۡقُواْۖ فَإِذَا حِبَالُهُمۡ وَعِصِيُّهُمۡ يُخَيَّلُ إِلَيۡهِ مِن سِحۡرِهِمۡ أَنَّهَا تَسۡعَىٰ
66 . (Musa) naagamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nti mazima ddala gitambula.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأَوۡجَسَ فِي نَفۡسِهِۦ خِيفَةٗ مُّوسَىٰ
67 . Musa naafuna okutya mu mutima gwe.
アラビア語 クルアーン注釈:
قُلۡنَا لَا تَخَفۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡأَعۡلَىٰ
68 . Netumugamba nti totya, mazima, ggwe ajja okuwangula.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَأَلۡقِ مَا فِي يَمِينِكَ تَلۡقَفۡ مَا صَنَعُوٓاْۖ إِنَّمَا صَنَعُواْ كَيۡدُ سَٰحِرٖۖ وَلَا يُفۡلِحُ ٱلسَّاحِرُ حَيۡثُ أَتَىٰ
69 . Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سُجَّدٗا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ هَٰرُونَ وَمُوسَىٰ
70 . (Bwe yakola ekyo) abalogo bonna nebagwa nga bavunnama, nebagamba nti tukkirizza Mukama omulabirizi wa Haruna ne Musa.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَۖ فَلَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ فِي جُذُوعِ ٱلنَّخۡلِ وَلَتَعۡلَمُنَّ أَيُّنَآ أَشَدُّ عَذَابٗا وَأَبۡقَىٰ
71 . (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالُواْ لَن نُّؤۡثِرَكَ عَلَىٰ مَا جَآءَنَا مِنَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلَّذِي فَطَرَنَاۖ فَٱقۡضِ مَآ أَنتَ قَاضٍۖ إِنَّمَا تَقۡضِي هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَآ
72 . (Abalogo) nebagamba tetujja kukulembeza ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo kyosalawo, mazima osobola kusalawo ku buno obulamu obw'ensi.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّآ ءَامَنَّا بِرَبِّنَا لِيَغۡفِرَ لَنَا خَطَٰيَٰنَا وَمَآ أَكۡرَهۡتَنَا عَلَيۡهِ مِنَ ٱلسِّحۡرِۗ وَٱللَّهُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ
73 . Mazima ffe tukkirizza Mukama omulabirizi waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe ebyo byotuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Katonda y'asinga obulungi era ow'okusigalawo.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّهُۥ مَن يَأۡتِ رَبَّهُۥ مُجۡرِمٗا فَإِنَّ لَهُۥ جَهَنَّمَ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ
74 . Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَمَن يَأۡتِهِۦ مُؤۡمِنٗا قَدۡ عَمِلَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلدَّرَجَٰتُ ٱلۡعُلَىٰ
75 . Ate oyo alimujjira nga mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala aga waggulu.
アラビア語 クルアーン注釈:
جَنَّٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ جَزَآءُ مَن تَزَكَّىٰ
76 . (Amadaala ago) e jjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakutuula mu zo obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَقَدۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِي فَٱضۡرِبۡ لَهُمۡ طَرِيقٗا فِي ٱلۡبَحۡرِ يَبَسٗا لَّا تَخَٰفُ دَرَكٗا وَلَا تَخۡشَىٰ
77 . Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo).
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ بِجُنُودِهِۦ فَغَشِيَهُم مِّنَ ٱلۡيَمِّ مَا غَشِيَهُمۡ
78 . Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَأَضَلَّ فِرۡعَوۡنُ قَوۡمَهُۥ وَمَا هَدَىٰ
79 . Bwatyo Firawo yabuza abantube era (naye) teyalungama.
アラビア語 クルアーン注釈:
يَٰبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ قَدۡ أَنجَيۡنَٰكُم مِّنۡ عَدُوِّكُمۡ وَوَٰعَدۡنَٰكُمۡ جَانِبَ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنَ وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰ
80 . Abange abaana ba (Israil) mazima twabawonya omulabe wa mmwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (wetwayogerera ne Musa era wetwamuweera Taurat) era twabassiza Manna ne Saliwa (ekisooka mmere ekirala nva).
アラビア語 クルアーン注釈:
كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ وَلَا تَطۡغَوۡاْ فِيهِ فَيَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبِيۖ وَمَن يَحۡلِلۡ عَلَيۡهِ غَضَبِي فَقَدۡ هَوَىٰ
81 . (okwo netwongerako nti), mulye mu buli kirungi mu ebyo bye tubagabira temusukka ekikomo mu kwo (okulya) nemukakatwako obusungu bwange, era bulijjo oyo yenna gwe bukakatako obusungu bwange aba abuze.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَإِنِّي لَغَفَّارٞ لِّمَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا ثُمَّ ٱهۡتَدَىٰ
82 . Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya naakola emirimu emirongoofu, ate bulijjo naabeera ku bulungamu.
アラビア語 クルアーン注釈:
۞ وَمَآ أَعۡجَلَكَ عَن قَوۡمِكَ يَٰمُوسَىٰ
83 . (Musa bwe yatuuka ku lusozi, Katonda naamugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza nooleka abantu bo.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ هُمۡ أُوْلَآءِ عَلَىٰٓ أَثَرِي وَعَجِلۡتُ إِلَيۡكَ رَبِّ لِتَرۡضَىٰ
84 . Naagamba nti bo, baabo bangoberera, nze nyanguye okujja gyoli Mukama omulabirizi wange, obe nga osiima.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ فَإِنَّا قَدۡ فَتَنَّا قَوۡمَكَ مِنۢ بَعۡدِكَ وَأَضَلَّهُمُ ٱلسَّامِرِيُّ
85 . (Katonda) naagamba nti, mazima twakemye abantubo nga ovuddeyo, Saamiriyyu naababuza.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَرَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَمۡ يَعِدۡكُمۡ رَبُّكُمۡ وَعۡدًا حَسَنًاۚ أَفَطَالَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡعَهۡدُ أَمۡ أَرَدتُّمۡ أَن يَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبٞ مِّن رَّبِّكُمۡ فَأَخۡلَفۡتُم مَّوۡعِدِي
86 . Olwo nno Musa nadda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, naagamba nti abange bantu bange. Abaffe Mukama omulabirizi wa mmwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno nemuva ku ndagaano yange.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالُواْ مَآ أَخۡلَفۡنَا مَوۡعِدَكَ بِمَلۡكِنَا وَلَٰكِنَّا حُمِّلۡنَآ أَوۡزَارٗا مِّن زِينَةِ ٱلۡقَوۡمِ فَقَذَفۡنَٰهَا فَكَذَٰلِكَ أَلۡقَى ٱلسَّامِرِيُّ
87 . Nebagamba nti: Endagaanoyo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda bya bantu ba (Firaawo) olwo nno netubikasuka ( mu muliro) bwatyo Saamiriyyu bwe yasudde.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأَخۡرَجَ لَهُمۡ عِجۡلٗا جَسَدٗا لَّهُۥ خُوَارٞ فَقَالُواْ هَٰذَآ إِلَٰهُكُمۡ وَإِلَٰهُ مُوسَىٰ فَنَسِيَ
88 . Olwo (Saamiriyyu) naabakoleramu ennyana erina omubiri, era nga engonga, nebagamba nti ono ye Katonda wa mmwe, era Katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (naagenda so nga Katonda yamulese wano).
アラビア語 クルアーン注釈:
أَفَلَا يَرَوۡنَ أَلَّا يَرۡجِعُ إِلَيۡهِمۡ قَوۡلٗا وَلَا يَمۡلِكُ لَهُمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗا
89 . Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tefuga kubatuusaako kabi wadde omugaso.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَقَدۡ قَالَ لَهُمۡ هَٰرُونُ مِن قَبۡلُ يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا فُتِنتُم بِهِۦۖ وَإِنَّ رَبَّكُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَٱتَّبِعُونِي وَأَطِيعُوٓاْ أَمۡرِي
90 . Ate nga mazima Haruna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olweyo (ennyana), era mazima Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Katonda omusaasizi kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالُواْ لَن نَّبۡرَحَ عَلَيۡهِ عَٰكِفِينَ حَتَّىٰ يَرۡجِعَ إِلَيۡنَا مُوسَىٰ
91 . Nebagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lwanadda gye tuli.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ يَٰهَٰرُونُ مَا مَنَعَكَ إِذۡ رَأَيۡتَهُمۡ ضَلُّوٓاْ
92 . (Musa bwe yakomawo) yagamba nti owange Haruna bwe walabye nga babuze ki ekyakugaanye.
アラビア語 クルアーン注釈:
أَلَّا تَتَّبِعَنِۖ أَفَعَصَيۡتَ أَمۡرِي
93 . Okungoberera (n'obanenya nga bwenkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ يَبۡنَؤُمَّ لَا تَأۡخُذۡ بِلِحۡيَتِي وَلَا بِرَأۡسِيٓۖ إِنِّي خَشِيتُ أَن تَقُولَ فَرَّقۡتَ بَيۡنَ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ وَلَمۡ تَرۡقُبۡ قَوۡلِي
94 . (Haruna) naagamba nti owange mwana wa nnyabo tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze natidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Israil, nootalinda kigambo kyange.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ فَمَا خَطۡبُكَ يَٰسَٰمِرِيُّ
95 . (Musa) naagamba nti ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo?.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ بَصُرۡتُ بِمَا لَمۡ يَبۡصُرُواْ بِهِۦ فَقَبَضۡتُ قَبۡضَةٗ مِّنۡ أَثَرِ ٱلرَّسُولِ فَنَبَذۡتُهَا وَكَذَٰلِكَ سَوَّلَتۡ لِي نَفۡسِي
96 . (Saamiruyyi) naagamba nti nalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jiburilu) weyayise, nenkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ فَٱذۡهَبۡ فَإِنَّ لَكَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ أَن تَقُولَ لَا مِسَاسَۖ وَإِنَّ لَكَ مَوۡعِدٗا لَّن تُخۡلَفَهُۥۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ إِلَٰهِكَ ٱلَّذِي ظَلۡتَ عَلَيۡهِ عَاكِفٗاۖ لَّنُحَرِّقَنَّهُۥ ثُمَّ لَنَنسِفَنَّهُۥ فِي ٱلۡيَمِّ نَسۡفًا
97 . (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّمَآ إِلَٰهُكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ وَسِعَ كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمٗا
98 . Mazima Katonda wa mmwe ye Katonda oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya.
アラビア語 クルアーン注釈:
كَذَٰلِكَ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ مَا قَدۡ سَبَقَۚ وَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ مِن لَّدُنَّا ذِكۡرٗا
99 . Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani).
アラビア語 クルアーン注釈:
مَّنۡ أَعۡرَضَ عَنۡهُ فَإِنَّهُۥ يَحۡمِلُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وِزۡرًا
100 . Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro).
アラビア語 クルアーン注釈:
خَٰلِدِينَ فِيهِۖ وَسَآءَ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ حِمۡلٗا
101 . Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi.
アラビア語 クルアーン注釈:
يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ وَنَحۡشُرُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ زُرۡقٗا
102 . Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde.
アラビア語 クルアーン注釈:
يَتَخَٰفَتُونَ بَيۡنَهُمۡ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا عَشۡرٗا
103 . Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka).
アラビア語 クルアーン注釈:
نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَ إِذۡ يَقُولُ أَمۡثَلُهُمۡ طَرِيقَةً إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا يَوۡمٗا
104 . Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡجِبَالِ فَقُلۡ يَنسِفُهَا رَبِّي نَسۡفٗا
105 . Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu).
アラビア語 クルアーン注釈:
فَيَذَرُهَا قَاعٗا صَفۡصَفٗا
106 . Olwo nno agireke nga museetwe nga nkalu.
アラビア語 クルアーン注釈:
لَّا تَرَىٰ فِيهَا عِوَجٗا وَلَآ أَمۡتٗا
107 . Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba.
アラビア語 クルアーン注釈:
يَوۡمَئِذٖ يَتَّبِعُونَ ٱلدَّاعِيَ لَا عِوَجَ لَهُۥۖ وَخَشَعَتِ ٱلۡأَصۡوَاتُ لِلرَّحۡمَٰنِ فَلَا تَسۡمَعُ إِلَّا هَمۡسٗا
108 . Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna negakkakkanira Katonda, togenda kuwulira mpozzi olukwakwayo (lwokka).
アラビア語 クルアーン注釈:
يَوۡمَئِذٖ لَّا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ إِلَّا مَنۡ أَذِنَ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَرَضِيَ لَهُۥ قَوۡلٗا
109 . Ku lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okugyako oyo Katonda omusaasizi gwaliba akkirizza era naasiima byayogera.
アラビア語 クルアーン注釈:
يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يُحِيطُونَ بِهِۦ عِلۡمٗا
110 . (Katonda) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya nebabimalayo.
アラビア語 クルアーン注釈:
۞ وَعَنَتِ ٱلۡوُجُوهُ لِلۡحَيِّ ٱلۡقَيُّومِۖ وَقَدۡ خَابَ مَنۡ حَمَلَ ظُلۡمٗا
111 . Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَا يَخَافُ ظُلۡمٗا وَلَا هَضۡمٗا
112 . Ate oyo akola emirimu emirongoofu nga naye mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bwatagenda kutya kunyigirizibwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ قُرۡءَانًا عَرَبِيّٗا وَصَرَّفۡنَا فِيهِ مِنَ ٱلۡوَعِيدِ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ أَوۡ يُحۡدِثُ لَهُمۡ ذِكۡرٗا
113 . Mu ngeri bwetyo, twagissa Kur’ani nga eri mu lulimi luwarabu, netunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Katonda, oba bafune okubuulirirwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۗ وَلَا تَعۡجَلۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مِن قَبۡلِ أَن يُقۡضَىٰٓ إِلَيۡكَ وَحۡيُهُۥۖ وَقُل رَّبِّ زِدۡنِي عِلۡمٗا
114 . Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَقَدۡ عَهِدۡنَآ إِلَىٰٓ ءَادَمَ مِن قَبۡلُ فَنَسِيَ وَلَمۡ نَجِدۡ لَهُۥ عَزۡمٗا
115 . Era mazima twakozesa Adam oluberyeberye endagaano, kyokka neyeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa).
アラビア語 クルアーン注釈:
وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ
116 . Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَقُلۡنَا يَٰٓـَٔادَمُ إِنَّ هَٰذَا عَدُوّٞ لَّكَ وَلِزَوۡجِكَ فَلَا يُخۡرِجَنَّكُمَا مِنَ ٱلۡجَنَّةِ فَتَشۡقَىٰٓ
117 . Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka.
アラビア語 クルアーン注釈:
إِنَّ لَكَ أَلَّا تَجُوعَ فِيهَا وَلَا تَعۡرَىٰ
118 . Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَأَنَّكَ لَا تَظۡمَؤُاْ فِيهَا وَلَا تَضۡحَىٰ
119 . Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَوَسۡوَسَ إِلَيۡهِ ٱلشَّيۡطَٰنُ قَالَ يَٰٓـَٔادَمُ هَلۡ أَدُلُّكَ عَلَىٰ شَجَرَةِ ٱلۡخُلۡدِ وَمُلۡكٖ لَّا يَبۡلَىٰ
120 . Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَأَكَلَا مِنۡهَا فَبَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۚ وَعَصَىٰٓ ءَادَمُ رَبَّهُۥ فَغَوَىٰ
121 . Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula.
アラビア語 クルアーン注釈:
ثُمَّ ٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَتَابَ عَلَيۡهِ وَهَدَىٰ
122 . Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ ٱهۡبِطَا مِنۡهَا جَمِيعَۢاۖ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ فَإِمَّا يَأۡتِيَنَّكُم مِّنِّي هُدٗى فَمَنِ ٱتَّبَعَ هُدَايَ فَلَا يَضِلُّ وَلَا يَشۡقَىٰ
123 . (Katonda) naagamba nti mwenna mugiveemu (mwe ababiri ne sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye bwe buliba bubajjidde obulungamu, okuva gyendi oyo yenna aligoberera okulungamya kwange, tagenda kubula, wadde okwonooneka.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَمَنۡ أَعۡرَضَ عَن ذِكۡرِي فَإِنَّ لَهُۥ مَعِيشَةٗ ضَنكٗا وَنَحۡشُرُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَعۡمَىٰ
124 . Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ رَبِّ لِمَ حَشَرۡتَنِيٓ أَعۡمَىٰ وَقَدۡ كُنتُ بَصِيرٗا
125 . Aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nali ndaba.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالَ كَذَٰلِكَ أَتَتۡكَ ءَايَٰتُنَا فَنَسِيتَهَاۖ وَكَذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمَ تُنسَىٰ
126 . (Katonda) naagamba nti bwe kityo, ebigambo byaffe byakujjira noobyerabira, mu ngeri y'emu olwa leero werabiddwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَنۡ أَسۡرَفَ وَلَمۡ يُؤۡمِنۢ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦۚ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَشَدُّ وَأَبۡقَىٰٓ
127 . Bwe kityo bwe tusasula oyo eyayonoona naatakkiriza bigambo bya Mukama omulabiriziwe, ate nga lubeerera ebibonerezo by'o ku lunaku lw'enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera.
アラビア語 クルアーン注釈:
أَفَلَمۡ يَهۡدِ لَهُمۡ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ يَمۡشُونَ فِي مَسَٰكِنِهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ
128 . Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano), nga batambula mu bitundu bya bali (betwazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ لَكَانَ لِزَامٗا وَأَجَلٞ مُّسَمّٗى
129 . Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama omulabiriziwo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza).
アラビア語 クルアーン注釈:
فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ غُرُوبِهَاۖ وَمِنۡ ءَانَآيِٕ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡ وَأَطۡرَافَ ٱلنَّهَارِ لَعَلَّكَ تَرۡضَىٰ
130 . Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama omulabiriziwo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ زَهۡرَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا لِنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَرِزۡقُ رَبِّكَ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰ
131 . Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَأۡمُرۡ أَهۡلَكَ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱصۡطَبِرۡ عَلَيۡهَاۖ لَا نَسۡـَٔلُكَ رِزۡقٗاۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكَۗ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلتَّقۡوَىٰ
132 . Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَقَالُواْ لَوۡلَا يَأۡتِينَا بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّهِۦٓۚ أَوَلَمۡ تَأۡتِهِم بَيِّنَةُ مَا فِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ
133 . Era (abakaafiiri) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, naye abaffe tebwabajjira obunnyonnyofu, bw'ebyo obuli mu bitabo ebyasooka.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَوۡ أَنَّآ أَهۡلَكۡنَٰهُم بِعَذَابٖ مِّن قَبۡلِهِۦ لَقَالُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ مِن قَبۡلِ أَن نَّذِلَّ وَنَخۡزَىٰ
134 . Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo oluberyeberyelwe, (Nabbi Muhammad nga tannatumwa) bandigambye nti ayi Mukama omulabirizi waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno netugoberera ebigambo byo, netutatuuka ku kukkakkanyizibwa netuswaala.
アラビア語 クルアーン注釈:
قُلۡ كُلّٞ مُّتَرَبِّصٞ فَتَرَبَّصُواْۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ أَصۡحَٰبُ ٱلصِّرَٰطِ ٱلسَّوِيِّ وَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ
135 . Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama.
アラビア語 クルアーン注釈:
 
対訳 章: ター・ハー章
章名の目次 ページ番号
 
クルアーンの対訳 - ルガンダ語対訳 - The African Development Foundation team - 対訳の目次

クルアーン・ルガンダ語対訳 - The African Development Foundation team

閉じる